1 Ekibiina kyonna ne kigolokoka, ne kiatutwala ewa Piraato.
2 Ne basooka okumuloopa nga bagamba nti Ono twamulaba ng'akyamya eggwanga lyaffe, ng'abagaana okuwa Kayisaali omusolo, ng'ayogera yennyini okuba Kristo, kabaka.
3 Piraato n'amubuuza, ng'agamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? N'amuddamu n'agamba nti Oyogedde.
4 Piraato n'agamba bakabona abakulu n'ebibiina nti Siraba nsonga yonna ku muntu ono.
5 Naye bo ne beeyongera okutayirira nga bagamba nti Asasamaza abantu, ng'ayigiriza mu Buyudaaya bwonna, yasookera Ggaliraaya okutuuka ne wano.
6 Naye Piraato bwe yawulira, n'abuuza oba ng'omuntu oyo Mugaliraaya.
7 Bwe yategeera nga wa mu matwale ga Kerode, n'amuweereza ewa Kerode, kubanga naye yali mu Yerusaalemi mu nnaku ezo.
8 Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n'asanyuka nnyo; kubanga okuva edda yayagalanga okumulaba kubanga yawulira ebigambo bye; n'asuubira okulaba ng'akola akabonero.
9 N'amubuuliriza ebigambo bingi, naye ye n'atamuddamu kigambo.
10 Bakabona abakulu n'abawandiisi ne bayimirira ne banyweza nnyo okumuloopa.
11 Awo Kerode ne basserikale ne bamunyootm, ne bamuduulira, ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka ne bamuzzaayo ewa Piraato.
12 Kerode ne Piraato ne balyoka batabagana ku lunaku olwo; kubanga olubereberye baali bakyawaganye.
13 Piraato n'ayita bakabona abakulu n'abakungu n'abantu,
14 n'abagamba nti Mundeetedde omuntu ono, nti yakyamya abantu; era, laba, nze bwe mmukemererezza mu maaso gammwe, sirabye nsonga ku muntu ono mu ebyo bye mumuloopye;
15 era, newakubadde Kerode, kubanga amuzzizza gye tuli; era, laba, tewali kigambo ky'akoze ekisaanidde okumussisa:
16 kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta.
17 Era kyamugwaniranga okubateeranga omusibe omu ku mbaga.
18 Naye ne bakaayana bottna wamu, nga bagamba nti Twala ono, otuteere Balaba:
19 ye muntu gwe bassa mu kkomera olw'obujeemu obwali mu kibuga, n'olw'obussi.
20 Piraato n'ayogera nabo nate, ng'ayagala okuta Yesu;
21 naye bo ne boogerera waggulu nga bagamba nti Mukomerere, mukomerere.
22 N'abagamba omulundi ogw'okusatu nti Lwaki, ono akoze kibi ki? Sirabye ku ye nsonga emussa: kale bwe nnaamala okumubonereza, n'amuta.
23 Naye bo ne bamuzitoowerera n'amaloboozi amanene, nga beegayirira okumukomerera. Amaloboozi gaabwe ne gasinga okukola.
24 Piraato n'asalawo ebigambo bye beegayiridde.
25 N'ata oyo eyasuulibwa mu kkomera olw'obujeemu n'obussi gwe bamwegayiridde; naye n'awaayo Yesu okumukola nga bwe baagadde.
26 Awo baali nga bamutwala, ne bakwata Omukuleene Simooni, eyali ava mu kyalo, ne bamutikka emusalaba, okugwetikka ng'ava ennyuma Yesu.
27 Ekibiina kinene ne kimugoberera eky'abantu n'eky'abakazi abaamukaabira, ne bamulirira.
28 Nave Yesu n'abakyukira n'agamba nti Abawala ab'e Yerusaalemi, temukaabira nze, naye mwekaabire mwekka, n'abaana bammwe.
29 Kubanga, laba, ennaku zijja, mwe baligambira nti Balina omukisa abagumba, n'embuto ezitazaala n'amabeere agatayonsa.
30 Ne balyoka batanula okugamba ensozi nti Mutugweko; n'obusozi nti Mutuvuunikire.
31 Kubanga bwe bakola bino ku muti omubisi, ku mukalu kiriba kitya?
32 Era yatwalibwa n'abalala babiri, abaakola obubi, okuttirwa awamu naye.
33 Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa kiwanga, ne bamukomererera awo, na bali abaakola obubi, omu ku mukono ogwa ddyo n'omulala ku gwa kkono.
34 Awo Yesu n'agamba nti Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola. Ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu.
35 Abantu ne bayimirira nga batunuulira Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti Yalokolanga balala yeerokole yekka, oba ng'oyo ye Kristo wa Katonda, omulonde we.
36 Basserikale nabo ne bamuduulit nga bajja w'ali, nga bamuwa omwe nge omukaatuufu,
37 nga bagamb nti Oba nga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weerokole wekka.
38 Ne wabaawo n'ebbaluwa waggulu we nti ONO YE KABAKA W’ABAYUDAAYA.
39 Omu ku abo abaakola obubi abaawanikibwa n'amuwa ng’agamba nti Si ggwe Kristo? Weerokole wekka naffe.
40 Naye ow'okubiri n'addamu n'amuneaya, n’agamba nti N'okutya totya Katonda, kubanga oli ku kibonerezo kye kimu naye?
41 Era ffe twalangibwa nsonga; kubanga ebisaanidde bye twakola bye rusasulibbwa: naye ono takolanga kigambo ekitasaana.
42 N'agamba nti Yesu, onjijukiranga bw'olijjira mu bwakabaka bwo.
43 Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.
44 Awo obudde bwali butuuse essaawa nga mukaaga, ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa essaawa mwenda,
45 enjuba obutayaka: n'eggigi ery'omu yeekaalu ne liyulikamu wakati.
46 Awo Yesu n’ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo: bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu.
47 Awo omwami w'ekitongole bwe yalaba ekilladdewo, n'atendereza Katonda, ng'agamba nti Mazima ono abadde muntu mutuukirivu.
48 N'ebibiina byonna ebyali bikunnaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo nga beekuba mu bifuba.
49 Ne mikwano gye gyonna, n'abakazi abaava naye e Ggaliraaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo.
50 Kale laba, omuntu erinnya lye Yusufu, eyali omukungu, omuntu omulungi era omutuukirivu
51 oyo teyassa kimu mu kuteesa kwabwe newakubadde mu kikolwa kyabwe, ow'e Alimasaya, ekibuga ky'Abayudaaya, eyali alindirira obwakabaka bwa Katonda:
52 oyo n'agenda ewa Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu.
53 N'aguwanula n'aguzinga mu lugoye olwa bafuta, n'amussa mu ntaana eyabajjibwa mu jjinja, omutateekebwanga muntu.
54 Kale lwali lunaku lwa Kuteekateeka, essabbiiti ng'eneebaako enkya.
55 N'abakazi be yava nabo e Ggaliraaya, ne bagoberera, ne balaba entaana, n'omulambo gwe bwe gwateekebwa.
56 Ne bakomawo, ne bategeka eby'akaloosa n'amafuta ag'omugavu. Ne ku lunaku olwa ssabbiiti ne bawummula ng'etteeka bwe liri.