1 Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo, yali ng'ayigiriza abantu mu yeekaalu, ng'abuulira enjiri, bakabona abakulu n'abawandiisi wamu n'abakadde ne bamujjira;
2 ne boogera nga bamugamba nti Tubuulire; buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza obwo?
3 N'addamu n'abagamba nti Nange ka mbabuuze ekigambo kimu; mumbulire:
4 okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu nantiki mu bantu?
5 Ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Bwe tunaagamba Kwava mu ggulu; anaagamba nti Kiki ekyabalobera okumukkiriza?
6 Naye bwe tunaagamba ati Kwava mu bantu; abantu bonna banaatukuba amayinja: kubanga bakkiririza ddala Yokaana okuba nnabbi.
7 Ne baddamu nti tebamanyi gye kwava.
8 Yesu n'abagamba nti Kale nange siibabuulire mmwe buyinza obunkoza bino gye bwava.
9 N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti Omuntu omu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'agenda mu nsi endala n'alwayo.
10 Awo mu biro by'omwaka abalimi n'abatumira omuddu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukuba, ne bamusindika nga talina kintu.
11 N'ayongera okutuma omuddu omulala; n'oyo ne bamukuba, ne bamuswaza ne bamusindika nga talina kintu.
12 N'ayongera okutuma ow'okusatu: n'oyo naye ne bamufumita ne bamugoba.
13 Oyo mukama w'olusuku lw'emizabbibu n'agamba nti Nnaakola ntya? Ka ntume omwana wange omwagalwa: mpozzi oyo balimussaamu ekitiibwa.
14 Naye abalimi bwe baamulaba, ne bateesa bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ye musika: tumutte, obusika bube bwaffe.
15 Ne bamugoba mu lusuku lw'emizabbibu, ne bamutta. Kale alibakola atya mukama w'olusuku lw'emizabbibu?
16 Alijja n'azikiriza abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abalala. Bwe baawulira ebyo, ne bagamba nti Bireme okubaawo.
17 Naye ye n'abatunuulira n'agamba nti Kale kiki kino ekyawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda?
18 Buli agwa ku jjinja eryo alimenyekamenyeka; naye oyo gwe lirigwako, lirimufuumuula ng'enfuufu.
19 Awo abawandiisi ne bakabona abakulu ne basala amagezi okumussaako emikono mu kiseera ekyo; ne batya abantu; kubanga baategeera nti ku bo kw'ageredde olugero olwo.
20 Ne bamulabirira, ne batuma abakessi nga beefuula abatuukirivu, balandukire ku bigambo bye, balyoke bamuweeyo eri okufuga okw'owessaza n'eri obuyinza bwe.
21 Ne bamubuuza, nga bagamba nti Omuyigiriza, tumanyi ng'oyogera era ng'oyigiriza eby'amazima, so tososola mu bantu, naye oyigiriza mazima ekkubo lya Katonda:
22 kirungi ffe okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo?
23 Naye n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti Mundage eddinaali.
24 Ekifaananyi ekiriko n'obuwandiikeko by'ani? Bo ne bagamba nti Bya Kayisaali.
25 N'abagamba nti Kale ebya kayisaali mumusasulenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumusasulenga Katonda.
26 Ne batayinza kuggya nsonga mu kigambo ekyo mu maaso g'abantu, ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika.
27 Abasaddukaayo abamu ne bajja gy'ali, abagamba nti tewali kuzuukira; ne bamubuuza,
28 nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga ng'alina omukazi, nga talina mwana, muganda we awase omukazi oyo addizeewo muganda we ezzadde.
29 Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa nga talina mwana;
30 n'ow'okubiri;
31 n'ow'okusatu n'amuwasa; era bwe batyo bali omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana.
32 Oluvannyuma n'omukazi n'afa.
33 Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo? kubanga bonna omusanvu baamuwasa.
34 Yesu n'abagamba nti Abaana b'ensi eno bawasa, bafumbizibwa:
35 naye bali abasaanyizibwa okutuuka mu nsi eyo ne mu kuzuukira okw'omu bafu, tebawasa, so tebafumbizibwa:
36 kubanga n'okufa tebayinza kufa nate: kubanga bali nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira.
37 Okumanya ng'abafu bazuukira, ne Musa yakiraga ku Kisaka bwe yamuyita Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda.wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.
38 Naye ye si Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonna baba balamu ku bubweKubanga tebaaarŋŋanga kumubuuza kigambo kyonna nate.
39 Abawandiisi abamu ne baddamu, nga bagamba nti Omuyigiriza, oyogedde bulungi.
40 Kubanga tebaaŋŋanga kumubuuza kigambo kyonna nate.
41 N'abagamba nti Boogera batya nga Kristo ye mwana wa Dawudi?
42 Kubanga Dawudi yennyini ayogera mu kitabo kya Zabbuli nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
43 Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebbe y'ebigere byo.
44 Dawudi amuyita Mukama we, kale mwana we atya?
45 Awo abantu bonna bwe baali nga bamuwulira, n'agamba abayigirizwa be nti
46 Mwekuumenga abawandiisi; abaagala okutambuliranga mu ngoye empanvu, abaagala okulamusibwanga mu butale, n'entebe ez'oku manjo mu makuŋŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga;
47 abanyaga ennyumba sa bannamwandu, abasaba ennyo mu bunnanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene.