1 Awo olwatuuka oluvannyumako katono n'atambula mu bibuga ne mu mbuga ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda, bali ekkumi n'ababiri nga bali naye,
2 n'abakazi abaawonyezebwako dayimooni n'endwadde, Malyamu eyayitibwa Magudaleene, eyavaako dayimooni omusanvu,
3 ne Yowaana, muka Kuza, omuwanika wa Kerode, ne Susaana, n'abalala bangi abaabaweerezanga n'ebintu bye baalina.
4 Awo ekibiina ekinene bwe kyakuŋŋaana n'abaavanga mu buli kibuga bwe bajja w'ali, n'agera olugero nti
5 Omusizi yafuluma okusiga ensigo ze; bwe yali ng'asiga, endala ne zigwa ku mabbali g'ekkubo; ne zirinnyirirwa, ennyonyi ez'o mu bbanga ne zizirya.
6 Endala ne zigwa ku lwazi; bwe zaamala okumera ne ziwotookerera; olw'obutaba na mazzi.
7 Endala ne zigwa wakati mu maggwa; amaggwa ne gamerera wamu aazo ne gazizisa.
8 Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera, ne zibalako emmere buli mpeke kikumi. Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n'ayogerera waggulu nti Alina amatu ag'okuwulira awulire.
9 Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti Olugero olwo kiki?
10 N'agamba nti Mmwe muweereddwa okumanya ebyama eby'obwakabaka bwa Katonda: naye abalala mu ngero; era bwe balaba baleme okulaba, era bwe bawulira baleme okutegeera.
11 Era olugero lwe luno: Ensigo kye kigambo kya Katonda.
12 Bali ab'oku mabbali g'ekkubo be bawulira; awo Setaani n'ajja n'akwakkula ekigambo mu mitima gyabwe baleme okukkiriza n'okulokolebwa.
13 N'ab'oku lwazi be bawulira ekigambo ne bakikkiriza n'essanyu; kyokka tebalina mizzi, bakikkirizaako kaseera, era mu biro eby'okukemebwa baterebuka.
14 N'ezo ezaagwa mu maggwa, abo be bawulira, awo bwe bagenda ne baziyizibwa n'okweraliikirira n'obugagga n'essanyu ery'omu bulamu buno ne batatuukiriza ku kuza mmere.
15 N'ezo ez'omu ttaka eddungi, abo be bawulira ekigambo mu mutima omugolokofu, omulungi, ne bakinyweza, ne babala emmere n'okugumiikiza,
16 Era tewali akoleeza ttabaaza n'agisaanikira mu kibbo, oba kugissa wansi w'ekiriri; naye agissa ku kikondo abayingiramu balabe bw'eyaka.
17 Kubanga tewali kigambo ekyakisibwa ekitalirabisibwa; newakubadde ekyakwekebwa ekitalimanyibwa ne kirabika mu lwatu.
18 Kale mwekuumenga bwe muwulira; kubanga buli alina, aliweebwa; era buli atalina n'ekyo ky'alowooza nti ali nakyo kirimuggibwako.
19 Awo nnyina ne baganda be ne bajja gy'ali, ne batayinza kumutuukako olw'ekibiina.
20 N'abuulirwa nti Nnyoko ne baganda bo bayimiridde ebweru baagala okukulaba.
21 Naye n'addamu n'abagamba nti Mmange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikola.
22 Awo olwatuuka ku lunaku lumu ku ezo n'asaabala mu lyato ye n'abayigirizwa be; n'abagamba nti Tuwunguke tugende emitala w'ennyanja; ne bagenda.
23 Awo bwe baali nga baseeyeeya ne yeebaka otulo. Omuyaga mungi ne gukunta ku nnyanja; amazzi ne gaba nga gaagala okujjula, ne baba mu kabi.
24 Ne bajja w'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti Mukama waffe, Mukama waffe, tufa. N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'okwefuukuula kw'amazzi; ne bikkakkana, n'eba nteefu.
25 N'abagamba nti Okukkiriza kwamme kuli luuyi wa? Ne batya ne beewuunya, ne boogeragana bokka na bokka nti Kale ani ono, kubanga n'empewo n'amazzi abiragira ne bimuwulira?
26 Awo ne bagoba ku nsi y'Abagerasene eyolekera e Ggaliraaya.
27 Awo bwe yavaamu n'atuuka ku ttale, n'asanga omuntu ng'ava mu kibuga eyaliko dayimooni, nga yaakamala ennaku nnyingi nga tayambala lugoye ne mu nnyumba nga tatuulamu, naye ng'abeera mu ntaana.
28 Bwe yalaba Yesu n'ayogerera waggulu n'avuunama mu maaso ge, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda ali waggulu ennyo? Nkwegayiridde, tombonereza.
29 Kubanga yalagira dayimooni okuva ku muntu oyo. Kubanga Yali Yaakamala ebiro bingi nga amukutte: yasibibwanga mu njegere ne mu masamba ng'akuumibwa; n'akutulanga ebyamusiba, dayimooni n'amugoberanga mu ddungu.
30 Yesu n'amubuuza nti Erinnya lyo ggwe ani? N'agamba nti Liigyoni; kubanga dayimooni bangi abaamuyingiramu.
31 Ne bamwegayirira aleme okubalagira okuvaako okugenda mu bunnya.
32 Awo waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nga zirya ku lusozi, ne bamwegayirira abalagire baziyingiremu. N'abalagira.
33 Awo badayimooni ne bava ku muntu ne bayingira mu mbizzi: eggana ne lifubutukira mu bbanga ne zigwa mu nnyanja ne zifa amazzi.
34 Awo abasumba bwe baalaba ebibaddewo ne badduka ne babyogera mu kibuga ne mu byalo.
35 Abantu ne bavaayo okulaba ebibaddewo; ne bajja eri Yesu ne balaba omuntu oyo eyavuddeko badayimooni ng'atudde awali ebigere bya Yesu, ng'ayambadde olugoye, ng'okutegeera kwe kumuzzeemu: ne batya:
36 N'abo abaalaba ne babuulira bwe yakoleddwa oyo eyali akwatiddwa badayimooni.
37 N'abantu bonna ab'ensi y'Abagerasene eriraanyeewo ne bamwegayirira ave gye bali, kubanga obuti bungi bwali bubakutte: awo n'asaabala mu lyato n'addayo.
38 Naye omuntu eyavaako badayimooni n'amwegayirira abeere naye; naye n'amusiibula ng'agamba nti
39 Ddayo mu nnyumba yo, onnyonnyole ebigambo Katonda by'akukoledde bwe biri ebikulu. N'agenda ng'abuulira ek:buga kyonna bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera.
40 Awo Yesu bwe yakomawo, ekibiina ne kimwaniriza n'essanyu; kubanga bonna baali nga bamulindiridde.
41 Kale, laba, omuntu erinnya lye Yayiro omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ajja n'agwa awali ebigere bya Yesu n'amwegayirira okuyingira mu nnyumba ye:
42 kubanga yalina muwala we eyazaalibwa omu nga yaakamala emyaka kkumi n'ebiri, era oyo yali: ng'agenda kufa. Naye bwe yali ng'agenda ebibiina ne bimunyigiriza.
43 N'omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri, eyawanga abasawo ebintu bye byonna n'atayinza kuwonyezebwa muntu yenna,
44 oyo n'amufuluma emabega n'akoma ku lukugiro Iw'olugoye lwe: amangu age ekikulukuto kye ne kikalira.
45 Yesu n'agamba nti Ani ankomyeko? Awo bwe beegaana bonna, Peetero ne banne ne bagamba nti Mukama waffe, ebibiina bikwetoolodde bikunyigiriza.
46 Naye Yesu n'agamba nti Omuntu ankomyeko: kubanga mpulidde ng'amaanyi ganvuddemu.
47 Awo omukazi oyo bwe yalaba nga takwekeddwa, n'ajja ng'akankana n'amufukaamirira n'amubuulira mu maaso g'abantu bonna ensonga bw'eri emukomezzaako, ne bw'awonye amangu ago.
48 N'amugamba nti Mwana wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza; genda mirembe.
49 Awo yali akyayogera, ne wajja omuntu eyava mu nnyumba y'omukulu w'ekkutj0aaniro ng'agamba nti Muwala wo afudde; toteganya Muyigiriza.
50 Naye Yesu bwe yawulira n'amuddamu nti Totya: kkiriza bukkiriza, anaaba mulamu.
51 Awo bwe yatuuka ku nnyumba n'ataganya muntu mulala kuyingira naye wabula Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne kitaawe w'omuwala ne nnyina.
52 Awo baali nga bakaaba bonna, nga bamulirira; ye n'agamba nti Temukaaba, kubanga tafudde, naye yeebase tulo.
53 Ne bamusekerera nnyo, kubanga baama nya ng'afudde.
54 Ye n'amukwata ku mukono n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Omuwala, golokoka.
55 Omwoyo gwe ne gukomawo n'ayimirira amangu ago. N'alagira okumuwa eky'okulya.
56 Abazadde be ne bawuniikira; naye ye n'abakuutira baleme kubuulirako muntu ebibaddewo.