Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Lukka Luke

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24
1 Awo abawooza bonna n'abalina ebibi baali nga bamusemberera okumuwulira.
2 Abafalisaayo era n'abawandusi ne beemulugunya, nga bagamba nti Ono asembeza abalina ebibi, era alya nabo.
3 N'abagerera olugero luno, ng'agamba nti
4 Muntu ki ku mmwe alina endiga ekikumi, bw'abulwako emu, ataleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale, n'agoberera eri eyabuze, okutuusa lw'aligiraba?
5 Kale bw'agiraba, agissa ku kibegabega kye ag'asanyuka.
6 Bw'atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n'abagamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde eadiga yange eyabadde ebuze.
7 Mbagamba nti Bwe kityo linaabanga ssanyu mu ggulu olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya, okusinga abatuukirivu ekyenda mu omwenda, abateetaaga kwenenya.
8 Oba mukazi ki alina erupiya ekkumi, bw'abulwako erupiya emu, atakoleeza ttabaaza n'ayera ennyumba, n'anyiikira okunoonya okutuusa lw'agizuula?
9 Bw'agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be nagamba nti Munsanpukireko, kubanga nzudde erupiya eyabadde embuze.
10 Mbagamba nti Bwe kityo liba ssanyu mu maaso ga bamalayika ba Katonda olw'oyo alina ebibi omu eyeenenya.
11 N'agamba nti Waaliwo omuntu eyalina batabani be babiri:
12 omuto n'agamba kitaawe nti Kitange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋŋwanidde. Kale n'abagabira eby'obulamu bwe.
13 Awo oluvannyuma lw'ennaku si nnyingi, oyo omwana omuto n'akuŋŋaanya ebibye byonna, n'atambula n'agenda mu nsi ey'ewala; n'asaasaanyiza eyo ebintu bye mu mpisa embi.
14 Awo bwe yamala okubirya byonna, enjala nnyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atanula okudaagana.
15 N'agenda ne yeegatta n'omwami ow'omu nsi eyo; oyo n'amusindika mu kyalo kye okulundanga embizzi.
16 Ne yeegombanga okukkuta ebikuta embizzi bye zaalyanga: ne watabaawo muntu amuwa.
17 Naye bwe yeddamu, n'agamba nti Abaweereza bameka ab'empeera aba kitange abakkuta emmere ne balemwa, nange nfiira wano enjala!
18 Nnaagoloka ne ŋŋenda eri kitange, ne mmugamba nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu manso go;
19 sikyasaana kuyitibwa mwana wo; nfuula ag'omu ku baweereza bo ab'empeera.
20 N'agolokoka n'ajja eri kitaawe. Naye yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'amusaasira, n'adiiukana mbiro, n'amugwa mu kifuba, n'amuaywegera nnyo.
21 Oyo omwana n'amugamba nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana kuyitibwa mwana wo.
22 Naye kitaawe n'agamba abaddu be nti Mugende muleete mangu olugoye olusinga zonna, mulumwa mbaze: mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere bye:
23 muleete n'ennyana eya ssava, mugitte, tulye, tusanyuke;
24 kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse. Ne batandika okusanyuka.
25 Naye omwana we omukulu yali mu kyalo; bwe yajja ng'anaatera okutuuka ku nnyumba, n'awulira eŋŋoma n'amazina.
26 Ku baddu n'ayitako omu, n'amubuuza ebyo bwe bibadde.
27 N'amugamba nti Muganda wo azze: ne kitaawo amuttidde ennyana eya ssava kubanga amuzaawudde nga mulamu:
28 Naye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira: kitaawe n'afuluma n'amwegayirira.
29 Naye ye n'addamu n'agamba kitaawe nti Laba, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so sikusobyanga n'akatono ky'ondagidde; nange ennaku zonna tompanga na kabuzi ka kusanyuka ne mikwano gyange;
30 naye omwana wo oyo, eyalya eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'azze, ng'omuttira ennyana eya ssava.
31 Ye n'amugamba nti Mwana wange, ggwe bulijjo ng'oli wamu nange, era byonna ebyange bye bibyo.
32 Naye okujaguza n'okusanyuka kwa nsonga: kubanga muganda wo oyo yali afudde, azuukidde; era yali azaaye, azaawuse.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]