1 Bakabona Abaleevi, kye kika kyonna ekya Leevi, tebabanga na mugabo newakubadde obusika awamu ne Isiraeri: banaalyanga ebiweebwapo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, n'obusika bwe.
2 So tebabanga na busika mubaganda baabwe: Mukama bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba:
3 Era lino lye linaabanga ebbanja lya bakabona lye banaabanjanga abantu, abo abanaawaagayo ssaddaaka, bw'eba ente oba ndiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, ne ssebusa.
4 Ebibereberye by'eŋŋaano yo, eby'envinnyo yo n'eby'amafuta go, n'ebibereberye by'ebyoya by'endiga zo, onoobimuwanga,
5 Kubanga Mukama Katonda wo yamweroboza mu bika byo byonna, okuyimiriranga okuweerezanga n'erinnya lya Mukama, ye ne batabani be emirembe gyonna.
6 Era Omuleevi bw'anaavanga mu luggi lwonna ku nzigi zo mu Isiraeri yenna, mw'atuula, n'ajja mu kifo Mukama ky'alyeroboza, emmeeme ye nga yeegombera ddala okujja;
7 anaaweerezanga n'erinnya lya Mukama Katonda we, nga baganda be bonna tibaleevi bwe bakola, abayimirira eyo mu maaso ga Mukama,
8 Banaabanga n'emigabo egyenkanankana okulya, obutassaako ebyo ebivudde mu kutunda obutaka bwe.
9 Bw'olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, toyiganga kukola ng'eby'emizizo eby'amawanga gali bwe biri.
10 Tewalabikanga gy'oli muntu yenna ayisa mu muliro mutabani we oba muwala we, newakubadde akola eby'obufumu, newakubadde alaguza ebire; newakubadde omulogo, newakubadde omuganga,
11 newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emma ndwa, newakubadde abuuza abafu.
12 Kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama: era olw'emizizo egyo Mukama Katonda wo kyava abagoba mu maaso go.
13 Onoobanga eyatuukirira eri Katonda wo,
14 Kubanga amawanga gano g'olirya, bawulira abo abalaguza ebire n'abafumu: naye ggwe Mukama Katonda wo takuganyizza kukolanga bw'otyo.
15 Makama Katonda wo alikuyimusiza nabbi wakati wo, ku baganda bo, afaanana nga nze; oyo gwe muliwulira;
16 nga byonna bwe byali bye wasaba Mukama Katonda wo ku Kolebu ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako, ng'oyogere nti Nneme okuwulira nate eddoboozi lya Mukama Katonda vvange, era nneme okulaba nate omuliro guno omungi, nneme okufa.
17 Mukama n'aŋŋamba nti Boogedde bulungi ebyo bye bagambye.
18 Ndibayimusiza aabbi ku baganda baabwe, afaanana nga ggwe; era nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke, era alibabuulira byonna bye ndimulagira.
19 Kale olulituuka buli ataliwulira bigambo byange by'alyogera mu linnya lyange, ndimulanga ekyo.
20 Naye nabbi anaayogeranga ekigambo mu linnya lyange nga yeetulinkiridde, bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, nabbi oyo anaafaaga.
21 Era bw'onooyogeranga mu mutima gwo nti Tunaategeeranga tutya ekigambo Mukama ky'atayogedde?
22 Nabbi bw'anaayogeranga mu linnya lya Mukama, ekigambo ekyo bwe kitajja so tekiruukirira, ekyo kye lugambo Mukama ky'atayogedde: nabbi ng'akyogedde nga yeetulinkiridde, tomutyanga.