1 Ekiragiro kyonna kye nkulagira leeroragimunaakikwatanga okukikola, mulyoke mubenga abalamu, mwalenga, muyingire mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe.
2 Era onojjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wo Iwe yakutambuliza emyaka gino amakumi ana mu ddungu, akutoowaze, akukeme, okumaaya ebyali mu mutima gwo, oba ng'ogenda okwekuumanga ebiragiro bye oba si weewaawo.
3 N'akutoowaza n'akulumya enjala, n'akuliisa emmaanu, gye wali tomanyi, so ne bajjajja bo tebagimanyanga; akutegeeze ng'omuntu taba mulamu na mmere yokka, aaye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu.
4 Ebyambalo byo tebyakaddiyiranga ku ggwe, so n'ekigere kyo tekyazimbaaga, emyaka gino amakumi ana.
5 Era onoolowoozanga mu mutima gwo ng'omuntu nga bw'akaagavvula omwana we, bw'aryo Mukama Katonda wo bw'akukangavvula ggwe.
6 Era oneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n’okumutyanga.
7 Kubanga Mukama Katonda wo akuyingiza mu nsi ennungi, ensi ey'emigga gy'amazzi, ey'enzizi n'ebidiba, agakulukutira mu biwonvu ne ku nsozi;
8 ensi ey'eŋŋaano ne sayiri; n'emizabbibu n'emitiini n’emikomamawanga;
9 ensi mw'onooliiranga emmere n'etebula, toobengako ky'obulwa omwo; ensi amayinja gaayo kyuma, ne mu nsozi, zaayo oyinza okusima ebikomo.
10 Era onoolyaaga n'okkuta, ne weebaza Mukama Katonda wo olw'ensi ennungi gye yakuwa.
11 Weekuumenga oleme okwerabira Mukama Katonda wo, obuteokuumanga biragiro bye n'emisango gye n'amateeka ge bye nkulagira leero:
12 bw'onoomalanga okulya n'okkuta, era ng'omaze okuzimba enayumba ennungi n'okutuula omwo;
13 era ente zo n’embuzi zo nga zaaze, n'effeeza yo ne zaabu yo nga zaaze, ne byonna by'olina nga byaze;
14 kale omutima gwo gulemenga okugulumizibwa, ne weerabira Mukama Katottda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nayumba y'obuddu;
15 eyakuyisa mu ddungu eddene era ery'entiisa, omwali emisota egy'omuliro n’enjaba ez'obusagwa, n'ettaka erirumwa ennyonta awatali mazzi; eyakuggira amazzi mu lwazi olw'embaalebaale;
16 eyakuliisiza mu ddungu emmaanu, bajjajja bo gye batamanyanga; akutoowaze, akukeme, akukole bulungi ku nkomerero yo:
17 era olemenga okwogera mu mutima gwo nti Obuyinza bwange n’amaanyi g'omukono gwange bye binfunidde obugagga buno.
18 Naye onojjukiraaga Mukama Katonda wo, kubanga oyo yakuwa obuyinza okufuna obugagga; anyweze endagaano ye gye yalayirira bajjajja bo, nga leero.
19 Awo olunaatuukanga, bw'oneerabiranga Mukama Katonda wo n'ogoberera bakatonda abalala n'obaweereza n'obasinza, mbategeeza leero nga temuulemenga kuzikirira.
20 Ng'amawanga Mukama g'azikiriza mu maaso gammwe, bwe munaazikiriranga bwe mutyo; kubanga temwakkiriza kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.