1 Ne tulyoka tukyuka ne twambukira mu kkubo erigenda e Basani: Ogi kabaka We Basani n'asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna, okulwanira Ederei.
2 Mukama n'aŋŋamba nti Tomutya: kubanga mmugabudde ye'n'abantu be bonna n'ensi ye mu mukono gwo; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli abaatuulanga mu Kesuboni.
3 Awo Mukama Katonda waffe n'agabula mu mukono gwaffe ne Ogi kabaka We Basani n'abantu be bonna: ne tumutta okutuusa Iwe watamusigalirawo n'omu:
4 Ne tunyaga ebibuga bye byonna mu biro ebyo; tewali kibuga kye tutaabanyagaako; ebibuga nkaaga, ensi yonna eya Alugobu, obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
5 Ebyo byonna byali bibuga ebyazimbibwako bbugwe omuwanvu n'enzigi n'ebisiba; obutassaako bibuga ebitaalina bbugwe bingi nnyo:
6 Ne tubizikiririza ddala nga bwe twakola Sikoni kabaka We Kesuboni, nga tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato.
7 Naye ente zonna n'ebyo bye twanyaga mu bibuga, ne twetwalira okuba omunyago.
8 Era mu biro ebyo ne tuggya ensi mu mukono gwa bakabaka bombi ab'Abamoli abaali emitala wa Yoludaani, okuva mu kiwonvu kya Alunoni okutuusa ku lusozi Kerumooni;
9 (Kerumooni Abasidoni bamuyita Siriyooni, n'Abamoli bamuyita Seniri;)
10 ebibuga byonna eby'omu lusenyi, ne Gireyaadi yonna, ne Basani yonna, okutuusa ku Saleka ne Ederei, ebibuga by'obwakabaka bwa Ogi mu Basani:
11 (Kubanga Ogi kabaka w'e Basani ye yasigalawo yekka ku abo abaasigalawo ku Balefa; laba, ekitanda kye kyali kya kyuma; tekiri mu Labba eky'abaana ba Amoni? obuwanvu bwakyo emikono mwenda, n'obugazi bwakyo emikono ena, ng'omukono gw'omuntu bwe guli.)
12 N'ensi eyo ne tugitya mu biro ebyo: okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi eya Gireyaadi, n'ebibuga byayo n'abiwa Abalewubeeni n'Abagaadi:
13 n'ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna, obwakabaka bwa Ogi, nabiwa ekitundu ky'ekika kya Manase; ensi yonna eya Alugobu, ye Basani yonna, (Eyo eyitibwa nsi ya Balefa.
14 n'ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna, obwakabaka bwa Ogi, nabiwa ekitundu ky'ekika kya Manase; ensi yonna eya Alugobu, ye Basani yonna, (Eyo eyitibwa nsi ya Balefa.
15 Gireyaadi n'empaayo Makiri,
16 N'Abalewubeeni n'abagaadi ne mbawa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ekiwonvu ekya wakati, n'ensalo yaakyo; okutuusa ku mugga Yaboki, ye nsalo y'abaana ba Amoni;
17 era ne Alaba ne Ybludaani n'ensalo yaagwo; okuva ku Kinneresi okutuusa ku nnyanja ya Alaba, Ennyanja Eyomunnyo, awali entunnumba za Pisuga ku luuyi olw'ebuvanjuba.
18 Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugirya: munaasomoka nga mukutte ebyokuiwanyisa mu maaso ga baganda bammwe abaana ba Isiraeri, abasajja bonna abazira.
19 Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato n'ebisibo byammwe (mmanyi nga mulina ebisibo bingi) binaabeeranga mu bibuga byammwe bye nnabawa;
20 okutuusa Mukama lw'aliwa baganda bammwe okuwummula, nga nammwe, era nabo nga balidde ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa emitala wa Yoludaani: ne mulyoka mudda buli muntu mu butaka bwe bwe nnabawa.
21 Ne ndagira Yoswa mu biro ebyo nga njogera nti Amaaso go galabye byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze bakabaka bano bombi: bw'atyo Mukama bw'alikola obwakabaka bwonna gye musomoka okugenda.
22 Temubatyanga: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo yabalwanirira.
23 Ne nneegayirira Mukama mu biro ebyo nga ajogera nti
24 Ai Mukama Katonda, otanudde okulaga omuddu wo obukulu bwo n'omukono gwo ogw'amaanyi; kubanga katonda ki ali mu ggulu oba mu nsi ayinza okukola ng'emirimu gyo bwe giri era ng'ebikolwa byo eby'amaanyi bwe biri?
25 Nsomoke, nkwegayirira, ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yoludaani, olusozi luli olulungi, ne Lebanooni.
26 Naye Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe n'atampulira: Mukama n'atlrlamba nti Kikumale: toyogera nate nange ku kigambo ekyo.
27 Linnya ku ntikko ya Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba n'obukiika obwa kkono n'obwa ddyo n'ebuvanjuba, olabe n'smaaso go: kubanga tolisomoka Yoludaani guno.
28 Naye kuutira Yoswa omugumye omuwe amaanyi: kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano, era ye alibasisa ensi gy'oliraba.
29 Awo ne tutuula mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli.