1 Ebyo bye bigambo eby'endagaano Mukama gye yalagira Musa okulagaana n'abaana ba Isiraeri mu nsi ya Mowaabu, obutassaako ndagaano gye yalagaana nabo ku Kolebu.
2 Era Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti Mwalaba byonna Mukama bye yakolera mu maaso gammwe mu asi y'e Misiri eri Falaawo n'eri abaddu be bonna n'eri easi ye yonna;
3 okukema okukulu amaaso go kwe gaalaba, n'obubonero, n'eby'amagero biri ebikulu:
4 naye Mukama tabawadde mutima gwa kutegeera n'amaaso ag'okulaba n'amatu ag'okuwulira ne leero.
5 Nange naakamaze emyaka ana nga mbakulembera mu ddungu: ebyambalo byammwe tebikaddiye ku mmwe, n'engatto yo tekaddiye ku kigere kyo.
6 Temwalyanga ku mmere so temwanywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza: mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe:
7 Era bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w'e Kesuboni ne Ogi kabaka We Basani ne basitula okulwana naffe, ne kubatta:
8 ne tulya ensi yaabwe, ne tugiwa Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu: ky'eluka ky'Abamanase, okuba obutaka.
9 Kale mwekuumenga ebigautbo eby'endagaano eno, mubikolenga; mulyoke mulabenga omukisa mu byonna bye mukola.
10 Muyimiridde leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; abakulu bammwe, ebika byammwe, abakadde bammwe, n'abaami bammwe, be basajja bonna aba Isiraeri,
11 abaana bammwe abato abakazi bammwe, ne munnaggwanga wo ali wakati mu nsiisira zo; okuva ku mutyabi w'enku zo okutuuka ku musenyi w'amazzi go:
12 olagaane endagaano ya Mukama Katonda wo ne mu kirayiro lye, by'alagaana naawe leero:
13 akunyweze leero gy'ali ye okubanga eggwanga, era abeerenga Katonda gy'oli, nga bwe yakugamba, era nga bwe yalayirira bajjajja bo Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
14 So siragaana ndagaano eno ne ndayira ekirayiro kino eri mmwe mwekka;
15 naye eri oyo ayimiridde wano awamu naffe leero mu maaso ga Mukama Katonda waffe, era n'eri oyo atali wano wamu naffe leero:
16 (kubanga mumaayi bwe twatuulanga mu nsi y'e Misiri; era bwe twaggukira wakati mu mawanga ge mwayitamu;
17 era mwalabanga eby'emizizo byabwe, n'ebifaanaayi byabwe, emiti n'amayinja, effeeza n'ezaabu, ebyali mu bo;)
18 walemenga okuba mu mmwe omusajja oba mukazi oba nnyumba oba kika, akyamya omutima gwe leero okuva ku Mukama Katonda waffe, okugenda okuweereza bakatonda ab'amawanga gali; walemenga okuba mu mmwe ekikolo ekibala akalulwe ne abusino;
19 era olunaatuukanga ng'awulira ebigambo eby'ekikolimo kino, ne yeenyumiriza mu mutima gwe, ng'ayogera nti Naabanga n'emirembe ne; we nnaatambuliranga mu bukakanyavu bw'omutima gwange, okuzikiriza oyo atobye wamu n'omukalu:
20 Mukama taamusonyiwenga; naye obusuagu bwa Mukama n'obuggya bwe ne biryoka binyookera omusajja oyo, n'ekikoIimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino kinaamubangako, era Mukama anaasangulatiga erinnya lye okuliggya wansi w'eggulu.
21 Era Mukama anaamwawuliranga obubi okumuggya mu bika byonna ebya Isiraeri, ng'ebikolimo byonna bwe biri eby'endagaano ewandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka.
22 Era ezzadde eririddawo abaana bammwe abaliyimuka okubaddirira, ne munnaggwanga aliva mu nsi y'ewala, balyogera, bwe baliraba ebibonyoobonyo by'easi eyo n'endwadde Mukama z'agirwazizza;
23 era ng'ensi yaayo yonna kibiriiti na munnyo na kusiriira, nga si nsige, so tebala, so n'omuddo gwonna tegumera omwo, ag'okusuulibwa kw'e Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu, Mukama bye yasuula mu busungu bwe ne mu kiruyi kye:
24 amawanga gonna galyogera nti Mukama ekimukozezza ensi eao bwe. kityo kiki? okwokya kw'obusungu buno obungi makulu ki?
25 Abantu ne balyoka boogera ati Kubanga baaleka endagaano ya Mukama, Katonda wa bajjajja baabwe, gye yalagaana nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri;
26 ne bagenda ne baweereza bakatonda abalala, ne babasinza, bakatonda be baali tebamanyi, era be yali tabawadde
27 obusungu bwa Mukama kye bwava bubuubuuka ku nsi eno, okugireetako ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino;
28 kale Mukama n'abasimbula mu nsi yaabwe, mu busungu ne mu kiruyi ne mu kunyiiga okungi, n'abasuula mu nsi endala, nga leero.
29 Eby'ekyama biba bya Mukama Katobda waffe: naye ebibikkulibwa biba byaffe era bya baana baffe, emirembe gyonna; tulyoke tukolenga ebigambo byonna eby'omu mateeka gano.