1 Wulira, ggwe eggulu; nange naayogera; N’ensi ewulire ebigambo by’akamwa kange:
2 Okuyigiriza kwage kunaatonn ne'enkuba, Okwogera kwange gagwa ng.'omusulo; Ng'obukubakuba ku ssubi eggonvu Era ng'oluwandaggirize ku muddo:
3 Kubanga naatendera erinnya lya Mukama: Muwe obukulu, Katonda waffe.
4 Lwazi, omulimu gwe gwatuukirira; Kubanga amakubo ge gonna musango: Katonda ow'obwebubigwa atalina bubi, Wa mazima oyo era wa nsonga.
5 Baakolanga ebitali bya butuukirivu eri ye, si baana be, lye bbala lyabwe: Gye mirembe, emikakanyavu egyakyama.
6 Bwe musasula Mukama, bwe mutyo, Mmwe, abantu abasirusiru abatalina magezi? Si ye kitaawo eyakugula? Ye yakukola, ye yakunyweza ye.
7 Jjukira ennaku ez’edda, Lowooza emyaka gy'emirembe emingi: Buuza kitaawo, anaakiilaga; Abakadde bo, banaakubuulira.
8 Ali waggulu ennyo; bwe yawa amawanga obusika bwabwe, Bwe yayawula abaana. b'abantu: Yassaawo ensalo z'amawanga Ng'omuwendo bwe gwali ogw'abaana ba Isiraeri.
9 Kubanga omugabo gwa Mukama be bantu be; Yakobo: gwe muteeko gw'obusika bwe.
10 Yamusanga mu nsi ey'eddungu, Era mu kigumbo ekyereere ensolo we zikaabira; Yamwetooloolanga, Yamujjanjabanga. Yamukuumanga ng'emmunye y'eriiso lye:
11 Ng'empungu esaasaaaya ekisu kyayo, Epaapaalira ku bwana bwayo, Yayanjuluza ebiwaawaatiro bye, n'abatwala, N'abasitulira ku byoya bye,
12 Mukama yekka Ye Yamukulembera, So tewabanga katonda, mulala wamu naye.
13 Yamulinnyisa ku bifo ebigulumivu eby'ensi, N'alya eky’engera eky’ennimiro N'amunuunyanga omubisi gw'enjuki okuva mu lwazi, N'amafuta okuva mu lwazi olw'embaalebaale;
14 Omuzigo gw'ente n'amata g'endiga, N'amasavu g'abaana b'endiga, N'eadiga ennume ez'engeri ey'e Basani, n'embuzi emmandwa; N'eŋŋaano eya ssava ng'amasavu g'ensigo; N'onywanga omwenge oguva mu musaayi. gw'omuzabbib
15 Naye Yesuluuni n'asavuwala, n'asamba: Wasavuwala, wanenewala, wafuuka munyirivu: N'alyoka aleka Katonda kola, N'anyooma Olwazi olw'obulokozi bwe.
16 Baamukwasanga obuggya ne bakatonda abalala, Baamusunguwazanga n'eby'emizizo.
17 Baawanga ssaddaaka balubaale abatali Katonda, Bakatonda be bataamanyanga, Bakatonda abaggya abaakajja bayimuke, Bajjajja bammwe be bataaryanga.
18 Lwazi eyakuzaala tomujjukira, Era weerahidde Katonda eyakuzaala.
19 Mukama n'akiraba n'abatamwa Olw'okusunguwaza kwa batabani be ne bawala be.
20 N'ayogera nti Naabakisa amaaso gange, Ndiraba enkomerero yaabwe bw'eriba: Kubanga gye mirembe egy'ekyeja ekingi, Abaana omutali kukkiriza.
21 Bankwasanga obuggya n'ekyo ekitali Katonda; Bansunguwazanga n'ebigambo byabwe ebitaliimu: Nange ndibakwasa obuggya eri abo abatali ggwanga; Ndibasunguwaza n'eggwanga essirusiru.
22 Kubanga omuliro gukoledde mu busungu bwange; Era gwase okutuuka mu magombe aga wansi ennyo, Era gwokya ensi n'ekyengera, kyayo, Era gukoleeza ensozi we zisibuka.
23 Ndibatuumako obubi; Ndimalira obusaale bwange ku bo:
24 Balikoozimba n'enjala, n'okwokya okungi kulibamalawo, N'okuzikirira okukambwe; N'amannyo g'ensolo ndibasindikira, N'obusagwa bw'ebyewalula eby'omu nfuufu.
25 Ebweru ekitala kinaabafuulaaga bamulekwa, Ne mu bisenge entiisa; Kinaazikirizanga omulenzi era n'omuwala, Ayonka era n'omusajja ameze envi.
26 Nayogera nti Nandibasaasaanyizza wala, Nandimazeeyo okujjukirwa kwabwe mu bantu:
27 Singa saatya kusunguwaza kwa mulabe, Abaabakyawa baleme okwerimba, Baleme okwogera nti Omukono gwaffe gugulumizibwa, Era Mukama si y'akoze bino byonna:
28 Kubanga lye ggwanga eritamanyi kuteesa bigambo, So temuli kutegeera mu bo.
29 Singa ba magezi ne bategeera Ne balowooza enkomerero yaabwe ey'oluvannyuma!
30 Omu yandigobye arya olukumi; N'ababiri bandiddusizza batya Lwazi waabwe singa teyabatunda, Era Mukama singa teyabagabula?
31 Kubanga olwazi lwabwe teruliŋŋnga olwazi lwaffe, Newakubadde abalabe baffe bennyini nga be basala omusango.
32 Kubanga omuzabbibu gwabwe gwava ku muzabbiliu ogw'e Sodoma, Ne mu nnimiro ez'e Ggomola: Ezabbibu zaabwe zabliibu za mususa, Ebirimba byazo bikaawa:
33 Omwenge gwabwe busagwa bwa misota, Era busagwa bukambwe bwa mbalasaasa.
34 Kino tekyaterekwa gye ndi, Nga kiteekeddwako akabonero mu bugagga bwange?
35 Okuwalana kviwange, n'okusasula, Obudde bwe bulituuka ekigere kyabwe ne kiseerera: Kubangaolunaku lwabwe olw'okulaba ennaku luli kumpi: N'ebigenda okubajjira biryanguwa:
36 Kubanga Mukama alisalira abantu be omusango; Era alyejjusa olw'abaddu be; Bw'aliraba ng'obuyinza bwabwe buweddewo, So tewali asigadtlewo, oba musibe oba atali musibe.
37 Era ayogera nti Bakatonda baabwe bali ludda wa, Olwazi lwe beesiganga;
38 Abaalyangaamasavuag'essaddaaka zaabwe, Abaanywanga omwenge ogw'ekyo kye baawangayo ekyokunywa. Bagolokoke bababeere, Babe ekigo kyammwe,
39 Mulabe kaakano nga nze, nze wuuyo, So tewali katonda wamu nange: Nze nzita; era nze mpa obulamu; Nfumise, era mponya: So tewali ayinza okulokola okuggya mu mukono gwange:
40 Kubanga ngolola omukono gwange eri eggulu, Ne njogera nti Nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna,
41 Bwe ndiwagala ekitala kyange ekimasamasa, Omukono gwange ne gukwata ku musango; Ndiwalana eggwanga ku balabe bange, Ndisasula abo abankyawa.
42 Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi, N'ekitala kyange kirirya ennya; N'omusaayi gw'abo abattibwa n'abawambe, Okuva ku mutwe gw'abo abakulembera abalabe,
43 Musanyuke, mmwe amawanga, wamu n’abantu be. Kubanga aliwalana eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be, Era alisasula abalabe be okubonerezebwa; Era alitangirira elisi ye, abantu be.
44 Musa n'ajja n'ayogerera ebigambo byonna eby'oluyimba luno mu matu g'abantu, ye ne Koseya omwana wa Nuni:
45 Musa n'amalira ddala okwogera ebigambo ebyo byonna eri Isiraeri yenna:
46 n'abagamba nti Muteeke omutima gwammwe ku bigambo byonna bye mbategeeza leero; bye muliragira abaana bauimwe, okukwata ebigambo byonna eby'amateeka ago okubikolanga.
47 Kubanga si kigembo ekitaliimu gye muli kubanga bwe bulamu bwammwe, era olw'ekigambo ekyo kyemunaavanga muwaagaala 'ennaku zammwe ku nsi gye musomokera. Yoludaani okugirya.
48 Mukama n'agamba Musa ku lunaku olwo nti
49 Linnya ku lusozi luno Abalimu, ku lusozi Nebo, oluli mu nsi ya Mowaabu, olwolekera Yeriko; olengere ensi ya Kanani gye mpa abaana ba Isiraeri okuba obutaka:
50 ofiire ku lusozi lw'olinnyako, okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo; nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku lusozi Koola, n'akuŋŋaanyizibwa eri abantu be:
51 kubanga mwansobyako wakati mu baana ba Isiraeri ku mazzi ag'e Meriba mu Kadesi, mu ddungu Zini; kubanga temwantukuza wakati mu baana ba Isiraeri.
52 Kubanga olirengera ensi mu maaso go; naye toligendayo mu nsi gye mpa abaana ba Isiraeri.