1 Omusajja bw'atwalanga omukazi n'amuwasa, kale olunaatuukanga, bw'ataaganjenga n'akatoao mu maaso ge, kubaaga alabye ku ye ekitali kirungi, anaamuwandiikiranga ebb8luwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze; n'amugoba mu nnyumba ye:
2 Awo bw'abanga avudde mu nnyumba ye, ayinza okugenda okuba omukazi w'omusajja omulala.
3 Era bba ow'okubiri bw'amukyawanga, n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze, n'amugoba mu nnyumba ye; oba bba ow'okubiri bw'afanga, eyamuwasa;
4 bba ow'olubereberye, eyamugoba, tamutwalanga nate okumuwasa, bwe yamala okwonoonebwa; kubanga ekyo kya muzizb mu maaso ga Mukama: so tokozanga nsi bibi, Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika.
5 Omusaja bw'awasanga omukazi omuggya, tatabaalanga na ggye, so tasalirwanga mirimu gyonna: anaamalanga omwaka gumu eka nga yessa, anaasanyusanga omukazi gw'awasizza:
6 Omuntu yenna tasingirwanga lubengo newakubadde enso: kubanga asingirwa obulamu bw'omuntu.
7 Bwe basanganga omuntu ng'abba omuntu yenna ku baganda be abaana ba Isiraeri, n'amukola ng'omuddu, oba n'amutunda; kale omu bbi oyo anattibwanga: bw'otyo bw'onoggyaaga obubi wakati mu ggwe.
8 Weekuumenga mu kibonobono eky'ebigenge, okwatirenga ddala okolenga byonna bakabona Abaleevi bye banaabayigirizanga: nga bwe nnabalagira bo, bwe mutyo bwe munaakwatanga okukola:
9 Jjukira Mukama Katonda wo bwe yakola Miryamu, mu kkubo bwe mwali muva mu Misiri.
10 Bw'oyazikanga munno ekintu kyonna ekyazikibwa, toyingiranga mu nnyumba ye okukima omusingo gwe.
11 Onooyimiriranga ebweru, n'omuntu gw'oyazika anaafulumyanga omusingo ebweru gy'oli.
12 Era bw'abanga omwavu, tosulanga ng'olina omusingo gwe:
13 tolemanga kumuddiza misingo obudde bwe bunaawungeeranga, alyoke asule mu kyambalo kye, era akusabire omukisa: era kinaabanga butuukirivu eri ggwe mu maaso ga Mukama Katonda wo.
14 Tojooganga musenze akolera empeera omwavu eyeetaaga, bw'aba ku muwendo gwa baganda bo oba ku muweado gwa bannaggwanga bo abali mu nsi yammwe munda w'enzigi zo:
15 ku lunaku lwe onoomuwanga empeera ye, so n’enjuba tegwanga ng'ekyaliyo; kubanga mwavu era agiteckako omwoyo gwe: alemenga okukaabiriranga Mukama okukuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli.
16 Bakitaabwe tebattibwanga okubalanga abaana baabwe, so n'abaana tebattibwanga okualanga bakitaabwe: buli muntu bamulangenga ekibi kye ye okumutta.
17 Tokyamyanga musango gwa munnaggwanga, newakubadde ogw'atalina kitaawe; so tosingirwanga kyambalo kya nnamwandu:
18 naye onojjukiranga nga wali muddu mu Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula n'akuggyayo: kyenva nkulagira okukolanga ekigambo ekyo.
19 Bw'okungulanga ebikungulwa byo mu nnimiro yo ne weerabira ekinywa mu nnimiro, toddangayo nate okukikima; kinaabanga kya muanaggwanga, ky'atalina kitaawe, era kya nnamwaadu: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu mulimu gwonna ogw'engalo zo.
20 Bw'okubanga omuzeyituuni gwo, toddanga mu matabi lwa kubiri: gunaabanga gwa munnaggwanga, gw'atalina kitaawe, era gwa nnamwandu.
21 Bw'okungulanga ezabbibu ez'omu lusuku lwo, toddangamu ng'omaze omulundi gumu: lunaabanga lwa munnaggwanga, lw'atalina kitaawe, era lwa nnamwandu.
22 Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri: kyeava nkulagira okukolanga ekigambo ekyo.