1 Era guno gwe mukisa Musa omusajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isiraeri nga tannaba kufa.
2 N'ayogera nti Mukama yava ku Sinaayi, Era yabagolokokera ng'ava ku Seyiri; Yamasamasa okuva ku lusozi Palani, N'ava eri obukumi bw'abatukuvu: Ku mukono gwe ogwa ddyo kwaliko amateeka ag'omuliro gye bali:
3 Weewaawo, ayagala amawanga; Abatukuvu be bonna bali mu mukono gwo. Ne batuula ku bigere byo; Buli muntu aliweebwa ku bigambo byo.
4 Musa yatulagira amateeka, Obusika obw'ekibiina kya Yakobo.
5 Era yali kabaka mu Yesuluni. Emitwe gy'abantu bwe baakuŋŋaanyizibwa, Ebika byonna ebya Isiraeri wamu:
6 Lewubeeni abenga omulamu, alemenga okufa; Naye abasajja be babenga batono:
7 Era guno gwe mukisa gwa Yuda: n'ayogera nti Wulira Mukama, eddoboozi lya Yuda, Omuyingize eri abantu be: N'emikono gye yeerwanirira; Era onoobanga mubeezi eri abalabe be.
8 Ne ku Leevi n'ayogera nti Sumimu wo ne Ulimu wo biri n'omusajja wo atya Katonda, Gwe wakemera e Masa, Gwe wawakana naye ku mazzi ag'e Meriba;
9 Eyayogera ku kitaawe ne ku nnyina nti Simulabye; So teyakkiriza baganda be, So teyamanya baana be ye: Kubanga bakutte ekigambo kyo, Era beekuuma endagaano yo.
10 Banaayigirizanga Yakobo emisango gyo, Ne Isiraeri banaamuyigirizanga amateeka go: Banaateekanga eby'okwoteza: mu maaso go, N'ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba ku kyoto kyo.
11 Ebintu bye, Mukama, biwenga omukisa, Okkirize omulimu gw'emikono gye: Ofumitire ddala ebiwato byabwe abanaamugolokokerangako, N'abo abamukyawa balemenga okugolokoka nate.
12 Ku Benyamini n'ayogera nti Omwagalwa wa Mukama anaatuulanga mirembe awali ye; Amubikkako okuzibya obudde, Era atuula wakati w'ebibegabega bye
13 Ne ku Yusufu n'ayogera nti Ensi ye eweebwe Mukama omukisa; Olw'eby'omuwendo omungi eby'omu ggulu, olw'omusulo, N'olw'ennyanja egalamira wansi,
14 N'olw'eby'omuwendo omungi eby'ebibala by'enjuba. N'olw'eby'omuwendo omungi ebiva mu kukula kw'emyezi,
15 N'olw'ebikulu. eby'ensozi ez'edda, N'olw'eby'omuwendo omungi eby'ensozi ezitaggwaawo.
16 N'olw'eby'omuweado omungi eby'ensi n'okujjula kwayo, N'ekisa ky'oyo eyatuula mu kisaka: Omukisa gujje ku mutwe gwa Yusufu, Ne ku bwezinge bw'omutwe gw'oyo eyayawulibwa ne baganda be.
17 Ye nte ye embereberye, obukulu bwe bubwe; N'amayembe ge, mayembe ga mbogo: Aligasindisa amawanga gonna, enkomerero z'ensi: Era bwe bukumi bwa Efulayimu, Era ze nkumi za Manase.
18 Ne ku Zebbulooni n'ayogera nti Sanyuka, Zebbuiooni; mu kufuluma kwo, Naawe, Isakaali, mu weema zo.
19 Baliyita amawanga eri olusozi; Banaaweeranga eyo ssaddaaka ez'obutuukirivu: Kubanga balinuuna okujjula kw'ennyanja, N'obugagga obukweke obw'omu musenyu.
20 Ne ku Gaadi n'ayogera nti Aweebwe omukisa oyo agaziya Gaadi; Atuula ng'empologoma enkazi, N'ataagula omukono; era obwezinge bw'omutwe.
21 Ne yeeterekera omugabo ogw'olubereberye, Kubanga, eyo ekirundu eky'omugabi w'amateeka, kyaterekwa; N'ajja awamu n'emitwe gy'abantu, Yakola eby'obutuukirivu, ebya Mukama, N'emisango gye eri Isiraeri
22 Ne ku Ddaani n'ayogera nti Ddaani mwana wa mpologoma, Abuuka okuva mu Basani.
23 Ne ku Nafutaali n'ayogera nti Ggwe Nafutaali, akkuse obuganzi, Anyiye omukisa gwa Mukama: Ggwe lya obugwanjuba n'obukiika obwa ddyo.
24 Ne ku Aseri n'ayogera nti Aseri aweebwe omukisa gw'abaana; Asiimibwenga baganda be. Era annyikenga ekigere kye mu mafuta
25 Ebisiba byo binaabanga kyuma na lukomo; Era ng'ennaku zo, amaanyi go bwe,ganaabanga bwe gatyo.
26 Tewali afaanana Katonda, ggwe yesuluni, Eyeebagala ku ggulu olw'okukubeera, Era ku bbanga mu bukulu bwe obusinga:
27 Katonda ataggwaawo kye kifo ky'otuulamu, Era emikono egitaggwaawo gikuwanirira: Naasimbulamu abalabe mu maaso go, Naayogera nti Zikiriza.
28 Era Isiraeri atuula mirembe, Oluzzi lwa Yakobo luli lwokka, Mu nsi ey'einaano n'omwenge; Weewaawo, eggulu lye litonnya omusulo.
29 Olina omukisa; ggwe Isiraeri: Ani akufaanana ggwe, eggwanga eryalokolwa Mukama, Engabo ey'okubeerwa kwo, Era kye kitala eky'obukulu bwo obusinga! Era abalabe bo balikujeemulukukira; Naawe olirinnya ku bifo byabwe ebya waggulu.