1 Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'avaayo n'agenda okuyigiriza n'okubuulira mu bibuga byabwe.
2 Naye Yokaana bwe yawulirira mu kkomera ebikolwa bya Kristo; n'atuma abayigirizwa be,
3 okumugamba nti Ggwe wuuyo ajja oba tulindirire mulala?
4 Yesu n'addamu n'abagamba nti Muddeeyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mulaba:
5 abazibye amaaso balaba, n'abalema batambula, n'abagenge balongoosebwa, n'abaggavu b’amatu bawulira, n'abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri.
6 Naye yenna alina omukisa talinneesittalako.
7 Nabo bwe baagenda, Yesu n'asooka okwogera n’ebibiina ku Yokaana nti Kiki kye nwagenderera mu ddungu okutuiuulira? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?
8 Naye kiki kye mwagenderera okulaba? omuntu ayanbadde ezinekaaneka? Laba, abanbala ezinekaaneka baba mu nnyunba za bakabaka.
9 Naye kiki ye mwagenderera? okulaba nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi.
10 Oyo ye yawatdiikwako nti Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo.
11 Ddala mbagamba nti Tevanga nu abo abazaalibwa abakazi omuntu singa Yokaana Omubatiza: naye omuto mu bwakabaka obw'omu ggulu amusinga ye.
12 Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okuuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'abawaguza abunyaga lwa maanyi.
13 Kubanga bannabbi bonna n'amateeka baalagula okutuusa ku Yokaana.
14 Era oba mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja.
15 Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
16 Naye nnaafaananya ki emirembe gino? Gifaanana n'abaana abato batuula mu butale abayita bannaawe,
17 nga bagamba nti Twabafuuyira emirere, so nammwe temwazina; twabakubira ebiwoobe, so temwakaaba.
18 Kubanga Yo:aana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti Aliko dayimooni.
19 Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti Laba, muluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina bibi! Era amagezi gaweebwa obuuukirivu olw'ebikolwa byago.
20 N'asookera awo okubuulirira bibuga mwe yakolera eby'amaanyi bye ebingi, kubanga tebyenenya.
21 Zirikusanga ggwe Kolaziini! ziriusanga ggwe Besusayida! kubanga by'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo e Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu.
22 Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe.
23 Naawe, Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? olikka e Magombe: kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodoma, singa weekiri ne kaakano.
24 Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango ensi y'e Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga ggwe.
25 Mu biro ebyo Yesu yaddamu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab'amagezi n'abakabakaba n'obibikkulira abaana abato:
26 weewaawo, Kitange, kubanga bwe kityo bwe kyasiimibwa mu maaso go.
27 Ebintu byonna byankwasibwa Kitange: so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumu bikkulira.
28 Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa nange nnaabawummuza.
29 Mwetikke ekikoligo nange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe.
30 Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu.