1 Mu nnaku ezo, Yokaana Omubatiza n'ajja ng'abuulirira mu ddungu ery'e Buyudaaya,
2 ng'agamba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.
3 Kubanga oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako, ng'agamba nti Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge.
4 Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez'ebyoya by'eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato; n'emmere ye yaIi nzige na mubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.
5 Awo ne bava e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya wonna, n'ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy'ali;
6 n'ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7 Naye Lwe yalaba Abafalisaayo abangi n'Abasaddukaayo abangi nga bajjirira okubatiza kwe n'abagamba nti Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?
8 Mubale ebibala ebisaanidde okwenenya;
9 temulowooza kwogera mu mitima nti Tulina Ibulayimu ye jjajjaffe: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza mu mayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana.
10 Naye kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti: buli muti ogutabala bibala birungi gunaatemebwa, gunaasuulibwa mu muliro.
11 Nze mbabatiza na mazzi olw'okwenenya: naye oyo ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze: oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.
12 Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika, naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.
13 Awo Yesu n'ava e Ggaliraaya, n'atuuka ku Yoludaani eri Yokaana, amubatize.
14 Naye Yokaana yali ayagala okumugaana, ng'agamba nti Nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naawe ojja gye ndi?
15 Naye Yesu n'addamu n'amugamba nti Kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okntuukiriza obutuukirivu bwonna. N'alyoka amukkiriza.
16 Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira, n'alaba Omwoyo gwa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye;
17 aba, eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.