1 Bwe yalaba ebibiina, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja gy'ali.
2 n'ayasamya akamwa ke, n'abayigiriza ng'agamba nti
3 Balina omukisa abaavu mu mwoyo: kubanga abo obwakabaka abw'omu ggulu bwe bwabwe.
4 Balina omukisa abali mu nnaku: kubanga abo balisanyusibwa.
5 Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.
6 Balina omukisa abalumwa enjala n'ennyonta olw'obutuukirivu: kubanga abo balikkusibwa.
7 Balina omukisa ab'ekisa: kubanga abo balikwatirwa ekisa.
8 Balina omukisa abalina omutima omulongoofu: kubanga abo baliraba Katonda.
9 Balina omukisa abatabaganya: kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.
10 Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu: kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.
11 Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze.
12 Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe.
13 Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Tegukyasaana nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu okugulinnyirira.
14 Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga bwe kikubibwa ku lusozi, tekiyinzika kukisibwa.
15 So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo; wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo; nayo ebaakira bonna abali mu nju.
16 Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g'abantu balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.
17 Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi: sajja kudibya, wabula okutuukiriza.
18 Kubanga mbagamba mazima nti Eggulu n’ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakudde akatonnyeze akamu ak’omu Mateeka tekaliggwaawo, Okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira.
19 Kale buli anaadibyanga erimu ku mateeka ago wadde erisinga obutono era anaayigirizanga abantu bw'atyo, aliyitibwa mutono mu bwakabaka obw'omu ggulu: naye buli anaagakwatanga era anaagayigirizanga, oyo aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.
20 Kubanga mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butaasingenga butuukiruvu bwa bawandiisi n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.
21 Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti Tottanga naye omuntu bw'anattanga, anazzanga omusango:
22 naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we, alizza omusango; naye anaagambanga muganda we nti Laka, asaanidde okutwalibwamu lukiiko, naye anaagambanga nti Musirusiru, asaanidde okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro.
23 Kale, bw'obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw'oyima eyo n'omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo,
24 leka awo ssaddaaka yo mu maaso g'ekyoto, oddeyo, osooke omale okutagabana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.
25 Yagalananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga oku kutwala eri katikkiro, so ne katikkiri alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera.
26 Mazima nkugamba nti Tolivaamu, okutuusa lw'olimala okukome kkereza n'eppeesa erimu.
27 Mwawulira bwe baagambibwa nti Toyendanga:
28 naye nange mbagamba nti buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng'amaze okumwendako mu mutima gwe.
29 Oba ng'eriiso lyo eryaddyo likwesittaza liggyeemu lisuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okusuulibwa mu Ggeyeena.
30 Era oba ng’omukono gwo ogwa ddyo gu kwesittaza, gutemeko, gusuule wala kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okugenda mu Ggeyeena.
31 Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'o kumugoba:
32 naye nange mbagamba nti buli muntu agobanga mukazi we, wabula ogw'obwenzi ng'amwenzezza: n'oyo awasanga gwe baagoba, ng'ayenze.
33 Mwawulira ate ab'edda bwe baagambibwa nti Tolayiranga bya bulimba, naye otuukiririzanga Mukama by'olayira:
34 naye nange mbagamba nti Tolayiranga n'akatono, newakubadde eggulu, kubang ye ntebe ya Katonda;
35 newakubadde ensi, kubanga ye gy'ateekaki ebigere bye; newakubadde Yerusaalemi, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu.
36 So tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza kufuula luviiri lumu oba lweru oba oluddugavo.
37 Naye ebigambo bya mmwe bibeerenga nti Weewaawa weewaawo; si weewaawo, si weewaawo: naye ebisinga ebyo bivamu mubi.
38 Mwawulira bwe baagambibwa nti Eriiso ligattwenga eriiso, n’erinnyo ligattwenga erinnyo:
39 naye nange mbagamba nti Temuziyiza nga mubi: naye omuntu bw'akukubanga oluba olwa ddyo, omukyukiranga n'olwa kkono.
40 Omuntu bw'ayagalanga okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekizibawo kyo.
41 Omuntu bw’akuwalirizanga okutambula naye mairo emu, tambulanga naye n'ey'okubiri
42 Akusabanga omuwanga omuntu bw’ayagalanga okumuwola, tomukubanga mabega.
43 Mwawulira bwe baagambibwa nti Oyagalanga munno okyawanga omulabe wo:
44 naye nange mbayamba nti Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya;
45 mulyoke mubeerenga abaana Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu.
46 Kubanga bwe munaayagalanga ababaagala, mulina mpeera ki? n'abawooza tebakola bwe batyo?
47 Bwe naalamusanga baganda bammwe bokka, munaabasinzangawo ki? N’ab'amawanga tebakola bwe batyo?
48 Kale mmwe mubeerenga abatuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu.