Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Matayo Matthew

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28
1 Ku lunaku olwo Yesu n'afuluma mu nju, n'atuula ku mabbali g'ennyanja.
2 Ebibiina bingi ne bimukuŋŋaanirako, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula; ekibiina kyonna ne kiyimirira ku ttale.
3 N'ayogera nabo bingi mu ngero, ng'agamba nti Laba, omusizi yafuluma okusiga;
4 bwe yali ng'asiga, ensigo endala ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya:
5 endala ne zigwa awali enjazi, awatali ttaka lingi amangu ago ne zimera, kubanga tezaalina ttaka ggwanvu:
6 enjuba bwe yavaayo, ne ziwotookerera kubanga tezaalina mmizi, ne zikala.
7 Endala ne zigwa kumaggwa; amaggwa ne gamera, ne gazizisa
8 endala ne zigwa ku ttaka eddungi ne zibala emmere endala kikumi endala nkaaga, endala makumi asatu
9 Alina amatu, awulire.
10 Abayigirizwa ne bajja ne bamugamba nti Kiki ekikwogeza nabo mu ngero?
11 N'addamu n'abagamba nti Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby'ekyama eby'obwakabaka obw'omu ggulu naye bo tebaweereddwa.
12 Kubanga buli alina, aliweebwa, era alisukkirirawo: naye buli atalina aliggibwako ne ky'ali nakyo.
13 Kyenva njogera nabo mu ngero kubanga bwe balaba tebalaba, bwe bawulira, tebawulira, so tebategeera.
14 Naye Isaaya bye yalagula bibatuukiriridde, ebyayogera nti Muliwulira buwulizi, naye temu litegeera; Muliraba bulabi, naye temu lyetegereza:
15 Kuba omutima gw'abantu bano gusavuwadde, N'amatu gaabwe gawulira bubi, N'amaaso gaabwe bagazibye; Baleme okulaba n'amaaso, n'okuwulira n'amatu, N'okutegeera n'omutima, N'okukyuka, Ne mbawonya.
16 Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n'amatu gammwe, kubanga gawulira.
17 Kubanga mazima mbagamba nti Bannabbi bangi n'aba abatuukirivu abeegombanga okulaba bye mutunuulira, so tebaabiraba; n'okuwulira bye muwulira, so tebaabiwulira.
18 Kale mmwe muwulire olugero lw'omusizi.
19 Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegedde, omubi oyo ajja, n'akwakula ekisigiddwa mu nutima gwe. Oyo ye yasigibwa ku mabbali g'ekkubo.
20 N’oyo eyasigibwa awali enjazi, ye oyo awulira kigambo, amangu ago n'akikkiriza n'essanyu;
21 naye talina mmizi munda mu ye, naye, alwawo katono; bwe wabaawo ennaku n’okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesittala.
22 N'oyo eyasigibwa mu maggwa, ye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira kw'ensi, n'obulimba bw'obugagga bizisa ekigambo, era tabala.
23 N'oyo eyasigibwa ku ttaka eddungi, ye oyo awulira ekigambo, n'akitegeera; oyo ddala abala ddala ebibala, omulala aleeta kikumi, omulala nkaaga, omulala makumi asatu.
24 Awo n'abaleetera ohugero olulala n'ayogera nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufanaanyizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye:
25 naye aba bwe baali beebase omulabe we n'ajja n'asigamu eŋŋaano ey'omu nsiko mu ŋŋaano ennungi, n'agenda.
26 Naye bwe yameruka, bwe yayanya, n'erabika n'eŋŋaano ey'omu nsiko.
27 Abaddu be ne bajja ne bagamba omwami nti Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? kale yali etya okubaamu ŋŋaano ey'omu nsiko?
28 N'abagamba nti Omulabe ye yakola atyo. Abaddu ne bamugamba nti Kale oyagala tugende tugikoolemu?
29 Naye n'agamba nti Nedda; mpozzi bwe munaaba mukoolamu eŋŋaano ey'omu nsiko, munaggiramu n'eŋŋaano yennyini.
30 Muleke bikule byombi bituuse amakungula: mu biro eby'amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe: naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.
31 N'abaleetera olugero olulala, ng'agamba nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'akaweke ka kaladaali, omuntu ke yaddira, n'akasiga mu nnimiro ye:
32 nako nga ke katono okusinga ensigo zonna; naye bwe kaakula, ne kaba kanene okusinga omuddo gwonna, ne kaba omuti, n'ennyonyi ez'omu bbanga nga zijja, nga zibeera ku matabi gaagwo.
33 N'abagerera olugero olulala nti Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akissa mu bubbo busatu obw'obutta, n'okuzimbulukuka ne buzimbulukuka bwonna.
34 Ebigambo ebyo byonna Yesu yabigamba ebibiina mu ngero; naye awatali lugero teyabagamba kigambo:
35 kituukirire ekyayogererwa mu nnabbi, ng'agamba nti Ndyasamya akamwa kange mu ngero; Ndireeta ebigambo ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.
36 Awo n'asiibula ebibiina, n'ayingira mu nju: abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti Tutegeeze olugero olw'eŋŋaano ey'omu nsiko eyali mu nnimiro.
37 N'addamu n'agamba nti Asiga ensigo ennungi ye Mwana w'omuntu;
38 ennimiro ye nsi; ensigo ennungi, abo be baana b'obwakabaka; n'eŋŋaano ey'omu nsiko be baana b'omubi;
39 omulabe eyagisiga ye Setaani: amakungula ye nkomerero y'ensi; n'abakunguzi be bamalayika.
40 Kale ng'eŋŋaano ey'omu nsiko bw'ekujgnaanyizibwa n'eyokebwa mu muliro; bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi.
41 Omwana w'omuntu alituma bamalayika be, nabo baliggyamu mu bwakabaka bwe ebintu byonna ebisittaza, n'abo abakola obubi,
42 balibasuula mu kikoomi eky'omuliro: mwe muliba okukaaba amaziga n'okuluma obujiji.
43 Kale abantu abatuukirivu balimasamasa ng'enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu, awulire.
44 Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'eky'obugagga ekyakisibwa mu lusuku; omuntu n'akiraba, n'akikweka; n'olw'essanyu lye n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agula olusuku olwo.
45 Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu omutunzi anoonya eruulu ennungi:
46 bwe yalaba eruulu emu ey'omuwendo omungi, n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agigula.
47 Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ekiragala, kye basuula mu nnyanja, ne kikuŋŋaanya ebya buli ngeri:
48 bwe kyajjula, ne bakiwalulira ku ttale; ne batuula, ne bakuŋŋaanyiza ebirungi mu nkanga, ebibi ne babisuula.
49 Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi: bamalayika balijja, balyawulamu abantu ababi mu batuukirivu,
50 balibasuula mu kikoomi eky'omuliro: mwe muliba okukaaba amaziga n'okuluma obujiji.
51 Mubitegedde ebigambo bino byonna? Ne bamugamba nti Weewaawo.
52 N'abagamba nti Buli muwandiisi eyayigirizibwa eby'obwakabaka obw'omu ggulu, kyava afaanana n'omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebiggya n'ebikadde.
53 Awo olwatuuka Yesu bwe yamala engero zino, n'avaayo.
54 Bwe yatuuka mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'okuwuniikirira ne bawuniikirira, ne bagamba nti Ono yaggya wa amagezi gano, n'eby'amaanyi bino?
55 Ono si ye mwana w'omubazzi? nnyina si gwe bayita Malyamu? ne baganda be Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni, ne Yuda?
56 Ne bannyina bonna tebali waffe? Kale ono yaggya wa ebigambo bino byonna?
57 Ne bamunyiigira. Naye Yesu n'abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe.
58 So teyakolayo bya magero bingi olw'obutakkiriza bwabwe.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]