1 Mu biro biri Kerode owessaza n'awulira ettutumu lya Yesu,
2 n'agamba abaddu be nti Oyo ye Yokaana Omubatiza; azuukidde mu bafu; era eby'amaanyi bino kyebiva bikolera mu ye.
3 Kubanga Kerode yali akutte Yokaana, n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa Firipo muganda we.
4 Kubanga Yokaana yamugamba nti Kyamuzizo ggwe okubeera naye.
5 Bwe yali ayagala okumutta, n'atya abantu, kubanga baamulowooza nga ye nnabbi.
6 Bwe lwatuuka olw'okujjukira amazaalibwa ga Kerode, omuwala wa Kerodiya n'azina mu maaso gaabwe, n'asanyusa Kerode.
7 Awo n'alayira n'asuubiza okumuwa kyonna kyonna ky'anaasaba.
8 Naye, bwe yaweererwa nnyina, n'agamba nti Mpeera wano mu lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.
9 Kabaka n'alumwa; naye olw'ebirayiro bye, n'olw'abo abaali batudde nga balya naye, n'alagira okugumuwa;
10 n'atuma, n'atemako Yokaana omutwe mu kkomera.
11 Ne baleeta omutwe gwe mu lutiba, ne baguwa omuwala: n'agutwalira nnyina.
12 Abayigirizwa be ne bajja, ne basitula omulambo, ne bamuziika; ne bagenda ne babuulira Yesu.
13 Awo, Yesu bwe yawulira, n'aviirayo mu lyato, n'agenda awali eddungu kyama: ebibiina bwe byawulira, ne biva mu bibuga ne bimugoberera nga biyita ku lukalu.
14 N'avaayo, n'alaba ekibiina kinene, n'abasaasira, n'awonya abalwadde baabwe.
15 Bwe bwawungeera, abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bagamba nti Wano ddungu, obudde buyise nnyo; siibula aba, bagende mu bibuga, beegulire emmere.
16 Naye Yesu n'abagamba nti Tewali kibazzisaayo; mmwe mubawe ebyokulya.
17 Ne bamugamba nti Tetulina kintu wano wabula emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri.
18 N'agamba nti Mubindeetere wano.
19 N'alagira ebibiina okutuula ku muddo; n'atwala emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, n'atunula waggulu mu ggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati n'agiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina.
20 Ne balya bonna, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ebibbo kkumi na bibiri ebyajjula.
21 N'abo abaalya baali abasajja ng'enkumi ttaano, abakazi n'abaana obutabassaako:
22 Amangu ago n'awaliriza abayigirizwa okusaabala, bamukulembere okugenda emitala w'eri, amale okusiibula ebibiina.
23 Bwe yamala okusiibula ebibiina, n'alinnya ku lusozi yekka okusaba: obudde bwe bwawungeera, yaliyo bw'omu.
24 Naye eryato lyali limaze okutuuka mu buziba, nga lyesunda n'amayengo, kubanga omuyaga gwa bafuluma mu maaso.
25 Awo ekiro mu kisisimuka eky'okuina n'ajja gye bali, ng'atambula ku nnyanja.
26 Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambula ku nnyanja, ne beeraliikirira, ne bagamba nti Dayimooni; ne beekanga nga batya.
27 Amangu ago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti Muddeemu omwoyo: nze nzuuno; temutya.
28 Peetero n'amuddamu n'agamba nti Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, adagira njije gy'oli ku mazzi.
29 N'agamba nti Jjangu. Peetero n'ava mu lyato, n'atambulira ku mazzi, okugenda eri Yesu.
30 Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya: n'atanula okusaanawo, n'akaaba, n'agamba nti Mukama wange, ndokola.
31 Amangu ago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti Ggwe alina okukkiriza okutono, kiki ekikubuusizzabuusizza?
32 Bwe baalinnya mu lyato, omuyaga ne guggwaawo.
33 N'abo abaali mu lyato ne bamusinza, nga bagamba nti Mazima oli Mwana wa Katonda.
34 Bwe baamala okuwunguka, ne batuuka ku lukalu olw'e Genesaleeti.
35 Abantu baayo bwe baamumanya, ne batuma mu nsi eyo yonna eriraanyeewo, ne bamuleetera bonna abalwadde;
36 ae: bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro Iw'ekyambalo kye; bonna abaakomako ne bawonyezebwa ddala.