1 Yesu n'addamu n'ayogera nabo nate mu ngero, ng'agamba nti
2 Obwakabaka obw'omu ggulu bufaananyizibwa omuntu eyali kabaka, eyamufumbira omwana we embaga ey'obugole,
3 n'atuma abaddu be okuyita abaayitirwa embaga ey'obugole: ne batayagala kujja.
4 N'atuma nate abaddu abalala, ng'agamba nti Mubuulire abantu abaayitibwa nti Laba, nfumbye embaga yange; ente zange n'eza ssava zittiddwa, ne byonna byeteeseteese: mujje ku mbaga ey'obugole.
5 Naye bo ne batassaayo mwoyo ne bagenda, omulala mu kyalo kye, omulala mu buguzi bwe:
6 abaasigalawo ne bakwata abaddu be, ne babagirira ekyejo, ne babatta.
7 Kabaka n'akwatibwa obusungu; n'agaba eggye lye, n'azikiriza abassi abo, n'ayokya ekibuga kyabwe.
8 Awo n'agamba abaddu be nti Obugole bweteeseteese, naye abo abaayitibwa tebasaanira.
9 Kale mugende mu masannanzira g'enguudo, bonna be munaalabayo mubayite ku mbaga ey'obugole:
10 Abaddu bali ne bagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya bonna be baalaba, ababi n'abalungi: obugole ne bujjula abagenyi.
11 Naye kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'alabamu omuntu atayambadde kyambalo kya bugole:
12 n'amugamba nti Munnange, oyingidde otya wano nga tolina kyambalo kya bugole? n'abunira.
13 Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule mu kizikiza eky'ebweru; mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji.
14 Kubanga bangi abayitibwa, naye abalondemu batono.
15 Awo Abafalisaayo ne bagenda, ne bateesa wamu bwe banaamutega mu bigambo.
16 Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'Abakerodiyaani, ne bagamba nti Omuyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, era ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu.
17 Kale tubuulire, olowooza otya? Kirungi okuwa Kayisaali omusolo, oba si weewaawo?
18 Naye Yesu n'ategeera obubi bwabwe, n'agamba nti Munkemera ki, mmwe bannanfuusi?
19 Mundage effeeza ey'omusolo. Ne bamuleetera eddinaali.
20 N'abagamba nti Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko by'ani?
21 Ne bamugamba nti Bya Kayisaali. Awo n'abagamba nti Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.
22 Bwe baawulira, ne beewuunya, ne bamuleka, ne bagenda.
23 Ku lunaku olwo ne bajja gy'ali Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira: ne bamubuuza,
24 nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yagamba nti Omuntu bw'afanga, nga talina baana, muganda we addengawo awase mukazi we, azaalire muganda we ezzadde.
25 Awo ewaffe yaliyo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa n'afa, naye nga bw'ataalina zzadde n'alekera muganda we mukazi we;
26 bw'atyo n'ow'okubiri, n'ow'okusatu, okutuusa bonna omusanvu.
27 Oluvannyuma, bonna nga baweddewo, omukazi n'afa.
28 Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo omusanvu? kubanga bonna baabuna okumufumbirwa.
29 Naye Yesu n'addamu n'abagamba nti Mukyama olw'obutamanya ebyawandiikibwa, newakubadde amaanyi ga Katonda.
30 Kubanga mu kuzuukira tebawasa, so tebafumbirwa, naye bali nga bamalayika mu ggulu.
31 Naye eby'okuzuukira kw'abafu, temwasoma Katonda kye yabagamba nti
32 Nze ndi Katonda wa Ibulaimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo? Si Katonda wa bafu, naye wa balamu.
33 Ebibiina bwe byawulira ne byewuunya okuyigiriza kwe.
34 Naye Abafalisaayo bwe baawulira nti abunizza Abasaddukaayo, ne bakuŋŋaanira wamu.
35 Omu ku bo, ow'amateeka, n'amubuuza ng'amukema nti
36 Omuyigiriza ekiragiro ekikulu mu mateeka kiruwa?
37 Naye n'amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'amutima gwo gwonna, n'obulamt bwo bwonna, n'amagezi go gonna.
38 Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye.
39 N'eky'okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.
40 Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi.
41 Abafalisaayo bwe baakutlnaana, Yesu n'ababuuza,
42 ng'agamba nti Kristo mumulowooza mutya? ye mwana w'ani? Ne bamugamba nti Wa Dawudi.
43 N'abagamba nti Kale, Dawudi mu Mwoyo kiki ekimuyisa Mukama we, ng'agamba nti
44 Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndissa abalabe bo wansi w'ebigere byo?
45 Kale oba nga Dawudi amuyita Mukama we, ali atya omwana we?
46 Ne wataba muntu eyayinza okumuddamu ekigambo, era okuva ku lunaku olwo tewali muntu eyayaŋŋanga okumubuuza ekigambo nate.