Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Matayo Matthew

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28
1 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu?
2 N'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe,
3 n'agamba nti Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka okufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.
4 Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.
5 Na buli alisembeza omwana omuto ng'ono mu linya lyange ng'asembezezza nze:
6 naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiiza waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja.
7 Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza!
8 Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko okusuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi.
9 Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu okusinga okusuulibwa mu Ggeyeem ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi.
10 Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubangi mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu.
11 Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula.
12 Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n’agenda ku nsozi, n’anoonya eyo ebuzeeko?
13 Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitabuze.
14 Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.
15 Muganda wo bw'akukola obubi genda omubuulirire ggwe naye mwekka: bw'akuwulirara ng'ofunye muganda wo.
16 Naye bw'atawulira, twala omulala naawe oba babiri era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kikakate.
17 Era bw'agaana okuwulira abo buulira ekkanisa: era bw'agaan, okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.
18 Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mi ggulu: era byonna bye mulisumu lula ku nsi birisumululibwa mi ggulu.
19 Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabang ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu.
20 Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.
21 Awo Peetero n'ajja, n'amu gamba nti Mukama wange, mugand wange bw'annyonoonanga, nnaa musonyiwanga emirundi emeka kutuusa emirundi musanvu?
22 Yesu n'amugamba nti Sikugamba nti Okutuusa emirundi mumvu; naye nti Okutuusa emirundi ensanvu emirundi omusanvu.
23 Obwakabaka obw'omu ggulu yebuva bufaananyizibwa n'omu.tu eyali kabaka, eyayagala okubala muwendo n'abaddu be.
24 Bwe asooka okubala, ne bamuleetera mu, gw'abanja ettalanta akakumi.
25 Naye kubanga teyalina kya kusaula, mukama we n'alagira okumuunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja liggwe.
26 Awo omuddu n'a;wa wansi n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mmanja npola, nange ndikusasula byonna.
27 Mukama w'omuddu oyo n'amuaasira, n'amuta, n'amusonyiwa ebbanja.
28 Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, we yali abanja eddinaali ekikumi: n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti Sasula ebbanja lyange.
29 Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'a;amba, nti Mmanja mpola, nange idikusasula.
30 N'atakkiriza: naye n'agenda n'amuteeka mu kkomera, male okusasula ebbanja.
31 Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaideyo.
32 Awo mukama we n'amuyita n'amugamba nti Ggwe omuddu omubi, nakusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira:
33 naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe?
34 Mukama we n'asunguwala, n'amuwa mu bambowa, amale okusasula ebbanja lyonna.
35 Bw'atyo Kitange ali mu ggulu bw'alibakola, bwe muta, onyiwa mu mitima.gyammwe buli nuntu muganda we. Obufumbo n'okwawukana

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]