1 Ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n'abalinnyisa ku lusozi oluwanvu bokka:
2 n'afuusibwa mu maaso gaabwe: amaaso ge ne gamasamasa ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omusana.
3 Laba, Musa ne Eriya ne babalabikira nga boogera naye.
4 Peetero n'addamu n'agamba Yesu nti Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano: bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu; emu yiyo, n'endala ya Musa, n'endala ya Eriya.
5 Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza: laba, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.
6 Abayigirizwa bwe baaliwulira, ne bagwa nga beevuunise, ne batya nnyo.
7 Yesu n'ajja n'abakomako n'agamba nti Muyimuke, temutya.
8 Ne bayimusa amaaso gaabwe, ne batalaba muntu, wabula Yesu yekka.
9 Bwe baali nga bakka ku lusozi, Yesu n'abalagira ng'agamba nti Temubuulirako muntu bye mwolesebbwa, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alimala okuzuukira mu bafu.
10 Abayigirizwa be ne bamubuuza, ne bagamba nti Kale kiki ekigambya abawandiisi nti Eriya kimugwanidde okusooka okujja?
11 N'addamu n'agamba nti Eriya ajja ddala, alirongoosa byonna:
12 naye mbagamba nti Eriya amaze okujja, nabo tebaamumanya, naye baamukola bwe baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'omuntu alibonyaabonyezebwa bo.
13 Awo abayigirizwa ne bategeera nti yayogera nabo ku Yokaana Omubatiza.
14 Bwe baatuuka eri ekibiina, omuntu n'ajja gy'ali, n'amufukaamirira, ng'agamba nti
15 Mukama wange, musaasire omwana wange: kubanga agwa ensimbu, zimubonyaabonya nnyo: kubanga emirundi mingi ng'agwa mu muliro, era emirundi mingi mu mazzi.
16 Ne mmuleetera abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya.
17 Yesu n'addamu n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza emikyamu, ndituusa wa okubeera nammwe? ndituusa wa okubagumiikiriza? mumundeetere wano.
18 Yesu n'amuboggolera; dayimooni n'amuvaako: omulenzi n'awona okuva mu kiseera ekyo.
19 Awo abayigirizwa ne bajja eri Yesu kyama, ne bagamba nti Kiki ekitulobedde ffe okuyima okumugoba?
20 N'abagamba nti Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono: kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; so singa tewali kigambo kye mutayinza.
21 Naye kyokka eky'engeri eno tekiyinza kuvaawo awatali kusaba na kusiiba.
22 Bwe baali nga bakyatudde e Ggaliraaya, Yesu n'abagamba nti Omwana w'omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu;
23 balimutta, ne ku lunaku olw'okusatu alizuukizibwa. Ne banakuwala nnyo.
24 Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abantu abasolooza ediderakima ne bajja eri Peetero, ne bagamba nti Mukama wammwe tawa diderakima?
25 N'agamba nti Awa. Bwe yayingira mu nju, Yesu n'amwesooka ng'agamba nti Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi bawooza oba basolooza bantu ki? baana baabwe nantiki bannaggwanga?
26 N'agamba nti Bannaggwanga. Yesu n'amugamba nti Kale abaana ba ddembe.
27 Naye, tuleme okubasittaza, genda ku nnyanja, osuule eddobo, onnyulule ekyennyanja ekinaasooka okubbulukuka; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoolabamu esutateri: otwale eyo, ogibawe ku bwange ne ku bubwo.