1 Awo abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja gye ndi ne batuula mu maaso gange.
2 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
3 Omwana w'omuntu, abasajja bano batutte ebifaananyi byabwe mu mutima gwabwe, era batadde enkonge ey'obutali butuukirivu mu maaso gaabwe: nnyinza ntya abo okumbuuza n'akamu kokka?
4 Kale yogera nabo obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Buli muntu ow'omu anyumba ya Isiraeri atwala ebifaananyi bye mu mutima gwe, n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maaso ge, n'ajja eri nnabbi; nze Mukama ndimuddamu mu ebyo ng'olufulube lw'ebifaananyi bye bwe luli;
5 ndyoke nkwase ennyumba ya Isiraeri omutima gwabwe bo, kubanga bonna banneeyawulako olw'ebifaananyi byabwe.
6 Kale bagambe ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mudde mukyuke okuleka ebifaananyi byammwe; era mukyuse amaaso gammwe okuleka emizizo gyammwe gyonna.
7 Kubanga buli muntu ow'omu nayumba ya Isiraeri oba ow'okubannaggwanga ababeera mu Isiraeri eyeeyawula nange n'atwala ebifaananyi bye mu mutima gwe n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maaso ge n'ajja eri nnabbi okunneebuuzaako; nze Mukama ndimuddamu nze mwene:
8 era ndikakasa amaaso gange okwolekera omuntu oyo, era ndimufuula ekyewuunyo, okuba akabonero n'olugero, era ndimuzikiriza wakati mu bantu bange; kale mulimanya nga nze Mukama.
9 Era oba aga nnabbi alirimbibwa n'ayogera ekigambo, nze Mukama nga nnimbye nnabbi oyo, era ndimugololerako omukono gwange, ne mmuzikiriza wakati mu bantu bange Isiraeri.
10 Era balyetikka obutali butuukirivu bwabwe: obutali butuukiriw bwa nnabbi bulyenkanira ddala obutali butuukirivu bw'oyo amwebuuzaako;
11 ennyumba ya Isiraeri ereme okuwaba nate okunvaako newakubadde okweyonoona nate n'okusobya kwabwe kwonna; naye babeerenga abantu bange, nange mbeerenga Katonda waabwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
12 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
13 Omwana w'omuntu, ensi bwe nnyonoona ng'esobezza, nange ne ngigololerako omukono gwange ne mmenya omuggo ogw'emigaati gyamu, ne ngiweerezaako enjala, ne ngimalamu abantu era n'ensolo;
14 abo bonsatule, Nuuwa ne Danyeri ne Yobu, newakubadde nga baali omwo, bandiwonyezza emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
15 Bwe ndiyisa ensolo embi mu nsi n'okugyonoona ne zigyonoona n'okuzika n'ezika, omuntu yenna n'atayinza kuyitamu olw'ensolo ezo;
16 abasajja abo bonsatule newakubadde nga baali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tebandiwonyezza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe; bo bokka bandiwonyezebbwa, naye ensi erizika.
17 Oba bwe ndireeta ekitala ku nsi ne njogera nti Ekitala, yita mu nsi; n'okumalamu ne ngimalamu abantu n'ensolo;
18 abo bonsatule newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya batabani baabwe newakubadde bawala baabwe, naye bo bennyini baliwonyezebwa bokka.
19 Oba bwe ndiweereza kawumpuli mu nsi eno, ne ngifukako ekiruyi kyange mu musaayi, okugimalamu abantu n'ensolo:
20 Nuuwa ne Danyeri ne Yobu newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebaliwonya mutabani waabwe newakubadde muwala waabwe; baliwonya emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe.
21 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kale tebirisinga nnyo okuba bwe bityo, bwe ndiweereza emisango gyange ena emizibu ku Yerusaalemi, ekitala n'enjala n'ensolo embi ne kawumpuli, okukimalamu abantu n'ensolo?
22 Era naye mulisigalamu ekitundu ekifisseewo ekiriggibwamu ne kitwalibwa, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: laba, balifuluma balijja gye muli, nammwe muliraba ekkubo lyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulisanyusibwa mu bubi bwe ndeese ku Yerusaalemi, olwa byonna bye nkireseeeko.
23 Era balibasanyusa bwe muliraba ekkubo iyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulimanya nga saabalanga bwereere okukola byonna bye nnakolera mu kyo, bw'ayogera Mukama Katonda.