1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omukaaga mu mwezi ogw'omukaaga ku lunaku oIw'okutaano olw'omwezi, bwe nnali nga ntudde mu nnyumba yange n'abakadde ba Yuda nga batudde mu maaso gange, omukono gwa Mukama Katonda ne gugwira eyo ku nze.
2 Awo ne ntunula, era, laba, ekifaananyi ekyali ng'embala ey'omuliro; okuva ku mbala ey'ekiwato kye ne wansi, muliro: n'okuva ku kiwato kye n'okwambuka, ng'embala ey'okumasamasa, ng'ebbala lya zaabu etabuddwamu effeeza.
3 Awo n'agolola ekyali ng'omukono n'ankwata ku muvumbo gw'enviiri ez'oku mutwe gwange; omwoyo ne gunsitula wakati w'ensi n'eggulu ne guntwala e Yerusaalemi mu kwolesebwa kwa Katonda, eri oluggi olw'omulyango ogw'oluggya olw'omunda, ogutunuulira obukiika obwa kkono; awali entebe ey'ekifaananyi eky'obuggya ekireeta obuggya.
4 Awo, laba, ekitiibwa kya Katonda wa Isireaeri kyali eyo ng'embala bwe yali gye nnalabira mu lusenyi.
5 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, yimusa amaaso go kaakano eri ekkubo erigenda obukiika obwa kkono. Awo ne nnyimusa amaaso gange eri ekkubo erigenda obukiika obwa kkono, kale, laba, ekifaananyi kino eky'obuggya nga kiri mu mulyango ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'omulyango ogw'ekyoto.
6 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, olaba kye bakola? olaba emizizo emikulu ennyumba ya Isiraeri gye bakolera wano, ndyoke nneesambe wala awatukuvu wange? naye onoolaba nate n'emizizo emirala emikulu.
7 Awo n'andeeta ku luggi olw'oluggya; awo bwe nnatunula, laba, ekituli nga kiri mu kisenge.
8 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, sima nno mu kisenge awo bwe nnamala okusima mu kisenge, laba, oluggi.
9 N'aŋŋamba nti Yingira olabe emizizo egy'obubi gye bakolera wano.
10 Awo ne nnyingira ne ndaba; era, laba, buli ngeri ey'ebyewalula n'ensolo ez'emizizo n'ebifaananyi byonna eby'ennyumba ya Isiraeri nga bitoneddwa ku kisenge enjuyi zonna.
11 Era nga wayimiridde mu maaso gaabyo abasajja nsanvu ku bakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri, ne wakati mu bo nga muyimiridde Yaazaniya mutabani wa Safani, buli muntu ng'akutte ekyoterezo kye mu mukono gwe; akaloosa ak'ekire eky'obubaane ne kanyooka.
12 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, olabye abakadde ab'omu nnyumba ya Isiraeri kye bakolera mu kizikiza, buli muntu mu bisenge bye ebirimu ebifaananyi? kubanga boogera nti Mukama tatulaba; Mukama yaleka ensi.
13 Era n'aŋŋamba nti Era onoolaba nate n'emizizo emirala emikulu gye bakola.
14 Awo n'andeeta eri oluggi olw'omulyango ogw'ennyumba ya Mukama ogwayolekera obukiika obwa kkono; awo, laba, abakazi nga batudde eyo nga bakaabira Tammuzi.
15 Awo n'arlgamba nti Olabye, omwana w'omuntu? era onoolaba nate emizizo egisinga gino obukulu.
16 Awo n'andeeta mu luggya olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama, kale, laba, ku luggi olwa yeekaalu ya Mukama wakati w'ekisasi n'ekyoto nga waliwo abasajja ng'amakumi abiri mu bataano, abakubye enkoona yeekaalu ya Mukama n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ebuvanjuba; era nga basinza enjuba nga batunuulira ebuvanjuba.
17 Awo n'aŋŋamba nti Olabye, omwana w'omuntu? kigambo kyangu eri ennyumba ya Yuda nga bakola emizizo gye bakolera wano? kubanga bajjuzizza ensi ekyejo, era bakyuse nate okunsunguwaza: era, laba, basembeza ettabi ku nnyindo yaabwe.
18 Era nange kyendiva nkola n'ekiruyi: eriiso lyange teririsonyiwa so sirikwatibwa kisa: era newakubadde nga bakaaba n'eddoboozi ddene mu matu gange, siribawulira.