1 Awo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu matu gange ng'ayogera nti Sembeza abo abakulira ekibuga, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye ekizikiriza mu mukono gwe.
2 Kale, laba, abasajja mukaaga ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'engulu ogwolekera obukiika obwa kkono, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye ekitta mu mukono gwe; n'omusajja omu wakati mu bo ayambadde bafuta ng'alina ekikompe kya bwino eky'omuwandiisi mu kiwato. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g'ekyoto eky'ekikomo.
3 Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali kirinnye okuva ku kerubi kwe kyali okutuuka ku mulyango ogw'ennyumba: n'ayita omusajja ayambadde bafuta eyalina ekikompe kya bwino eky'omuwandiisi mu kiwato.
4 Awo Mukama n'amugamba nti Genda oyite wakati mu kibuga, wakati mu Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by'a bantu abassa ebikkowe era abakaabira emizizo gyonna egikolerwa wakati mu kyo.
5 N'abalala n'abagamba nze nga mpulira nti Mmw muyite mu kibuga nga mumuvaako ennyuma mufumite: eriiso lyammwe lireme okusonyiwa so temubanga na kisa:
6 muttire ddala omukadde n'omulenzi n'omuwala n'abaana abato n'abakazi: naye temusembereranga muntu yenna aliko akabonero era musookere ku watukuvu wange. Awo ne basookera ku bakadde abaali mu maaso g'ennyumba
7 N'abagamba nti Ennyumba mugyonoone, mujjuze empya abattibwa: mufulume. Awo ne bafuluma ne bafumitira mu kibuga.
8 Awo olwatuuka bwe baali nga bafumita nange nga nsigaddewo, ne nvuunama amaaso gange ne nkaaba ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! onoozikiriza Isiraeri yenna afisseewo, ng'ofukira ddala ekiruyi kye ku Yerusaalemi?
9 Awo n'aŋŋamba nti Obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri ne Yuda bungi nnyo nnyini, n'ensi ejjudde omusaayi, n'ekibuga kijjudde okulya ensonga: kubanga boogera nti Mukama yaleka ensi, so Mukama talaba.
10 Era nange eriiso lyange teririsonyiwa so sirisaasira, naye ndireeta ekkubo lyabwe ku mutwe gwabwe.
11 Kale, laba, omusajja ayambadde bafuta eyalina ekikompe ekya bwino mu kiwato n'azza ebigambo ng'ayogera nti Nkoze nga bw'ondagidde.