1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, balagulireko abasumba ba Isiraeri, olagule obagambe, ogambe abasumba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze abasumba ba Isiraeri abeeriisa bokka! abasumba tebandiriisizza ndiga?
3 Mulya masavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ebya ssava; naye ne mutaliisa ndiga.
4 Eteyinza temugissangamu maanyi; so temuwonyanga erwadde, so temusibanga emenyese, so temukomyangawo egobeddwa, so temunoonyanga ebuze; naye mwazifuganga n'amaanyi n'amawaggali.
5 Ne zisaasaana olw'obutabaawo musumba: ne ziba kya kulya era ensolo zonna ez'omu nsiko ne zisaasaana.
6 Endiga zange zaabulubuutira ku nsozi zonna ne ku buli kasozi akawanvu: weewaawo, endiga zange zaasaasaanira ku maaso g'ensi yonna; so tewali eyazinoonya newakubadde okuzibuuliriza.
7 Kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama:
8 Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima kubanga endiga zange zaafuuka muyiggo, era endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo zonna ez'omu nsiko olw'obutabaawo musumba, so n'abasumba bange tebanoonya ndiga zange, naye abasumba ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange;
9 kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama;
10 bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wa basumba; era ndivunaana endiga zange mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo okuliisa endiga; so n'abasumba tebalyeriisa bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe zireme okuba ekyokulya eri bo.
11 Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne nzibuu liriza.
12 Ng'omusumba bw'abuuliriza ekisibo kye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, bwe ntyo bwe ndibuuliriza endiga zange; era ndiziwonya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire olw'ekizikiza.
13 Era ndiziggya mu mawanga, ne nzikuŋŋaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi yaazo zo; era ndiziriisiza ku nsozi za Isiraeri ku lubalama lw'ensalosalo z'amazzi ne mu bifo byonna ebibeerwamu eby'ensi.
14 Ndiziriisa omuddo omulungi, era ku nsozi ez'entikko ya Isiraeri kwe kuliba ekisibo kyabwe: eyo gye zirigalamira mu kisibo ekirungi, ne ziriira omuddo omugimu ku nsozi za Isiraeri.
15 Nze mwene ndiriisa endiga zange ne nzigalamiza, bw'ayogera Mukama Katonda.
16 Ndinoonya ekyo ekibuze ne nkomyawo ekyo ekigobeddwa ne nsiba ekimenyese ne nzisaamu amaanyi mu ekyo ekirwadde: n'ebya ssava n'eby'amaanyi ndibizikiriza; ndibiriisa n'omusango.
17 Nammwe, ekisibo kyange, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, nsala omusango ogw'ensolo n'ensolo, ogw'endiga ennume era n'embuzi ennume.
18 Mukiyita kigambo kitono nga mwalya omuddo omulungi, naye ne kibagwanira okulinnyirira n'ebigere byammwe omuddo gwammwe ogwafikkawo? era nga mwanywa amazzi amateefu, naye ne kibagwanira okutabangula n'ebigere byammwe agafisseewo?
19 N'endiga zange zirya ebyo bye mulinnyiridde n'ebigere byammwe, ne zinywa ago ge mutabangudde n'ebigere byammwe.
20 Mukama Katonda kyava abagamba bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndisala omusango ogw'ensolo eza ssava n'ogw'ensolo enkovvu.
21 Kubanga musindisa embiriizi n'ebibegabega, ne mutomeza ezirwadde zonna amayembe gammwe okutuusa lwe muzisaasaanyiza ddala;
22 kyendiva mponya ekisibo kyange, so teziriba nate muyiggo; nange ndisala omusango ogw'ensolo n'ensolo.
23 Era ndissaawo ku zo omusumba omu, naye alizirunda, omuddu wange Dawudi; ye alizirunda, era ye aliba omusumba waazo.
24 Nange Mukama ndiba Katonda waabwe, n'omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo; nze Mukama nkyogedde.
25 Era ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, era ndikomya mu nsi ensolo embi: kale balituula mu ddungu nga tebaliiko kye batya, ne beebakira mu bibira.
26 Era ndibafuula omukisa n'ebifo ebyetoolodde olusozi lwange; era nditonnyesa oluwandaggirize mu ntuuko zaalwo; walibaawo empandaggirize ez'omukisa.
27 N'omuti ogw'omu ttale gulibala ebibala byagwo, n'ettaka lirireeta ekyengera kyalyo, nabo baliba mu nsi yaabwe nga tabaliiko kye batya; kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga mmaze okumenya ebisiba eby'ekikoligo kyabwe, era nga mbawonnyezza mu mukono gw'abo abaabafuula abaddu.
28 So tebaliba muyiggo nate eri ab'amawanga, so n'ensolo ey'omu nsi teribalya; naye balituula nga tebaliiko kye batya so tewaliba alibatiisa.
29 Era ndibayimusiza olusuku olw'okwatiikirira, so tebalimalibwawo nate n'enjala mu nsi, so tebalibaako nsonyi za b'amawanga nate.
30 Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe ndi wamu nabo, era nga bo, ennyumba ya Isiraeri, be bantu bange, bw'ayogera Mukama Katonda.
31 Nammwe, endiga zange, endiga ez'omu ddundiro lyange, muli bantu, nange ndi Katonda wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.