1 Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, waaliwo abakazi babiri, nnyaabwe omu:
3 ne bayenda mu Misiri; baayenda mu buto bwabwe: eyo amabeere gaabwe gye gaanyigirizibwa, era eyo gye baabetentera ennywanto ez'obutannaba kumanya musajja.
4 N'amannya gaabwe Okola, omukulu, ne Okoliba, muganda we: ne baba bange ne bazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. N'amannya gaabwe, Samaliya ye Okola, ne Yerusaalemi ye Okoliba.
5 Okola n'ayenda bwe yali owange; n'asuusuuta baganzi be, Abaasuli baliraanwa be,
6 abaayambalanga kaniki, abakulu n'abaamasaza, bonna balenzi abeegombebwa, abasajja ab'embalaasi abeebagadde embalaasi.
7 N'abagabira obwenzi bwe, bonna basajja ab'e Bwasuli abalonde: era buli gwe yasuusuuta, ne yeyonoonyesa n'ebifaananyi byabwe byonna.
8 So talekangayo bwenzi bwe okuva mu nnaku ez'e Misiri; kubanga mu buto bwe baasula naye, ne babetenta ennywanto ez'obutannaba kumanya musajja: ne bamufukako obwenzi bwabwe.
9 Kyennava mmuwaayo mu mukono gwa baganzi be, mu mukono gw'Abaasuli be yasuusuuta,
10 Abo baabikkula ku bwereere bwe: ne batwala abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala; naye ne bamutta n'ekitala: n'afuuka ekigambo eky'obuwemu mu bakazi; kubanga baamukomekkerezaako emisango.
11 Ne muganda we Okoliba n'alaba ekyo, naye n'amusinga okukyama mu kusuusuuta kwe ne mu bwenzi bwe obwabanga obungi okusinga obwenzi bwa muganda we.
12 Yasuusuuta Abaasuli, abaamasaza n'abakulu, baliraanwa be, abaayambalanga engoye ezinekaaneka ennyo, ab'embalaasi abeebagadde embalaasi, bonna balenzi abeegombebwa.
13 Ne ndaba ng'agwagwawazibwa; bombi baakwata ekkubo limu.
14 Ye n'ayongera ku bwenzi bwe; kubanga yalaba abasajja abatonebwa ku kisenge, ebifaananyi eby'Abakaludaaya ebyatonebwa n'eggerenge;
15 nga beesibye enkoba mu biwato, nga bagaziyizza ebiremba ng'ekifaananyi bwe kiri eky'Ababulooni mu Bukaludaaya, ensi mwe baazaalirwa.
16 Awo mangu ago nga kyajje abalabe n'abasuusuuta n'abatumira ababaka mu Bukaludaaya.
17 Abababulooni ne bajja gy'ali mu kitanda eky'okwagala, ne bamwonoona n'obwenzi bwabwe, ye n'agwagwawazibwa nabo, omwoyo gwe ne gubatamwa.
18 Kale bw'atyo n'abikkula ku bwenzi bwe n'abikkula ku bwereere bwe: kale omwoyo gwange ne gumutamwa, ng'omwoyo gwange bwe gwatamwa muganda we.
19 Era naye n'ayongera ku bwenzi bwe, ng'ajjukira ennaku ez'obuto bwe, mwe yayendera mu nsi ey'e Misiri.
20 Awo n'asuusuuta baganzi baabwe, omubiri gwabwe ng'ennyama y'endogoyi, n'ebibavaamu biri ng'ebiva mu mbalaasi.
21 Bw'otyo n'ojjukira obukaba obw'omu buto bwo, ennywanto zo bwe zaabetentebwa Abamisiri olw'amabeere ag'omu buwala bwe.
22 Kale, ggwe Okoliba, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndigolokosa ku ggwe baganzi bo omwoyo gwo be gutamiddwa, ne mbaleeta okukulumba enjuyi zonna:
23 Abababulooni n'Abakaludaaya bonna, Pekodi ne Sowa ne Kowa, n'Abaasuli bonna wamu nabo: abalenzi abeegombebwa, bonna baamasaza n'abakulu, abalangira n'abasajja abaatiikirira, bonna nga beebagadde embalaasi.
24
24 Era balikutabaala nga; bakutte eby'okulwanyisa, amagaali ne bannamuziga, era nga balina ekibiina eky'amawanga; balyesimba okulwana naawe, nga balina obugabo n'engabo n'enkuffiira enjuyi zonna: era ndibatikkira okusala emisango, ne bakusalira omusango ng'emisango gya bwe bwe giri.
25 Era ndikusimbako obuggya bwange, nabo balikubonereza n'ekiruyi; balikuggyako ennyindo yo n'amatu go; n'ekitundu kyo ekirifikkawo kirigwa n'ekitala: balitwala abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala; n'ekitundu kyo ekirifikkawo kiryokebwa omuliro.
26 Era balikwambuza ebyambalo byo; ne bakuggyako eby'obuyonjo byo ebirungi.
27 Bwe ntyo bwe ndimazaawo gy'oli obukaba bwo n'obwenzi bwo obwava mu nsi y'e Misiri: n'okuyimusa n'otobayimusiza nate amaaso go newakubadde okujjukira Misiri nate.
28 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuwaayo mu mukono gw'abo b'okyawa, mu mukono gw'abo omwoyo gwo be gutamiddwa:
29 nabo balikukola olw'obukyawe, balikuggyako omulimu gwo gwonna, ne bakuleka ng'oli bwereere nga tobikkiddwako: obwereere obw'obwenzi bwo ne bubikkulibwa, obukaba bwo era n'obwenzi bwo.
30 Ebyo birikukolebwa, kubanga wayenda okugoberera ab'amawanga era kubanga ogwagwawazibbwa n'ebifaananyi byabwe.
31 Watambulira mu kkubo lya muganda wo; kyendiva mpa ekikompe kyo mu mukono gwo.
32 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olinywa ku kikompe kya muganda wo, ekiwanvu era ekinene: olisekererwa ddala n'oduulirwa: kirimu bingi.
33 Olijjula obutamiivu n'obuyinike, ekikompe eky'okusamaalirira n'okulekebwawo, ekikompe kya muganda wo Samaliya.
34 Olikinywa n'okutankira, n'omeketa engyo zaakyo, n'oyuza amabeere go: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.
35 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga onneerabidde, n'onsuula ennyuma w'amabega go, kale naawe beerako obukaba bwo n'obwenzi bwo.
36 Era Mukama n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, onoosala omusango gwa Okola ne Okoliba? kale babuulire emizizo gyabwe.
37 Kubanga baayenda, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe, era baayenda ku bifaananyi byabwe; era ne batabani baabwe be banzaalira baabayisiza mu muliro eri byo okuliibwa.
38 Era nate bankoze kino: boonoonye ekifo kyange ekitukuvu ku lunaku olumu, era boonoonye essabbiiti zange.
39 Kubanga bwe baamala okuttira abaana baabwe ebifaananyi byabwe, kale ne bajja ku lunaku olwo mu kifo kyange ekitukuvu okukyonoona; era, laba, bwe batyo bwe bakoze wakati mu nnyumba yange.
40 Era nate mwatumya abantu abava ewala: abaatumirwa omubaka, kale, laba, ne bajja; n'onaabira abo n'oziga amaaso go ne weeyonja n'eby'obuyonjo;
41 n'otuula ku kitanda eky'ekitiibwa, emmeeza ng'etegekeddwa mu maaso gaakyo, kwe wateeka obubaane bwange n'amafuta gange.
42 N'eddoboozi ery'ekibiina ekyegolola iyali naye: abatamiivu ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n'abasajja abakopi; ne bateeka ebikomo ku mikono gy'abo bombi, n'engule ennungi ku mitwe gyabwe.
43 Awo ne njogera ku oyo eyali akaddiye mu bwenzi nti Kaakano banaayenda ku ye, naye nabo.
44 Ne bayingira gy'ali, nga bwe bayingira eri omukazi omwenzi: bwe batyo bwe baayingira eri Okola n'eri Okoliba, abakazi abakaba.
45 N'abatuukirivu, abo be balibasalira omusango ng'abakazi abenzi bwe basalirwa omusango era ng'abakazi abayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; kubanga benzi, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe.
46 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndibalinnyisiza ekibiina ne mbawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi n'okunyagibwa.
47 Kale ekibiina kiribakuba amayinja, ne babafumita n'ebitala byabwe; balitta abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala ne bookya ennyumba zaabwe omuliro.
48 Bwe ntyo bwe ndikomya obukaba mu nsi, abakazi bonna bayigirizibwe obutakola ng'obukaba bwammwe bwe buli.
49 Era balibasasula obukaba bwammwe, nammwe mulibaako ebibi eby'ebifaananyi byaaunwe: kale mulimanya nga nze Mukama Katonda.