Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Ezekyeri Ezekiel

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48
1 Era nate bwe muligabana n'obululu ensi okuba obusika, muwangayo ekitone eri Mukama, omugabo gw'ensi omutukuvu: obuwanvu bwagwo buliba buwanvu obw'emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttano, n'obugazi kakumi: guliba mutukuvu mu nsalo yaagwo yonna okwetooloola.
2 Ku gwo kuliggibwako olw'ekifo ekitukuvu ebikumi bitaano obuwanvu n'ebikumi bitaano obugazi okwenkanankana enjuyi zonna: n'emikono amakumi ataano olw'embuga yaako enjuyi zonna.
3 Era oligeza ekigera kino, obuwanvu obw'obukumi bubiri mu enkumi ttaano n'obugazi obw'akakumi: n'omwo mwe muliba awatukuvu, awatukuvu ennyo.
4 Ogwo gwe mugabo gw'ensi omutukuvu; guliba gwa bakabona, abaweereza ab'omu watukuvu, abasembera okuweereza Mukama; era kiriba kifo kya nnyumba zaabwe, era ekifo ekitukuvu eky'awatukuvu.
5 Kale Abaleevi, abaweereza ab'omu nnyumba, baliba n'obukumi bubiri mu enkumi ttaano obuwanvu n'akakumi obugazi, okuba obutaka bwabwe, ku bwabwe, olw'amayu amakumi abiri.
6 Era muteekangawo obutaka obw'ekibuga, enkumi ttaano obugazi n'obukumi bubiri mu enkumi ttaano obuwanvu, okuliraana ekitone eky'omugabo omutukuvu: buliba bwa nnyumba yonna eya Isiraeri.
7 Era buli ekiriba eky'omulangira kiriba ku mabbali g'omugabo omutukuvu n'obutaka obw'ekibuga eruuyi n'eruuyi, mu maaso g'ekitone ekitukuvu ne mu maaso g'obutaka obw'ekibuga, ku luuyi olw'ebugwanjuba ebugwanjuba, ne ku luuyi olw'ebuvanjuba ebuvanjuba: n'obuwanvu nga kyenkana n'omugabo ogumu ku migabo okuva ku nsalo ey'ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey'ebuvanjuba.
8 Buliba butaka gy'ali mu nsi mu Isiraeri: so n'abalangira tebalijooga nate abantu bange; naye baliwa ennyumba ya Isiraeri ensi ng'ebika byabwe bwe biri.
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kibamale, ai abalangira ba Isiraeri: muggyeewo ekyejo n'okunyaga, mutuukirize omusango n'eby'ensonga; abantu bange mu baggyeeko obukamuzi bwammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.
10 Mubanga ne minzaani ey'amazima ne efa ey'amazima n'ensuwa ey'amazima.
11 Efa n'ensuwa bibenga bya kigera kimu, ensuwa egyemu ekitundu eky'ekkumi eky'ekomeri: ekigera kyayo kiba ng'ekomeri bw'eri.
12 Ne sekeri eribagera amakumi abiri: sekeri amakumi abiri ne sekeri abiri mu ttaano ne sekeri kkumi na ttaano, maane yammwe bw'eriba bw'etyo.
13 Kino kye kitone kye munaawangayo; ekitundu eky'omukaaga ekya efa ekiggibwa ku komero ey'eŋŋaano, era munaawanga ekitundu eky'omukaaga ekya efa ku buli komeri eya sayiri:
14 n'omugabo ogw'amafuta ogulagirwa, ogw'oku nsuwa ey'amafuta, gunaabanga kitundu kya kkumi eky'ensuwa, ekiggibwa ku kooli; ze nsuwa kkumi, ye komeri; kubanga ensuwa kkumi ye komeri:
15 n'omwana gw'endiga ogumu ogw'omu kisibo, oguggibwa ku bikumi bibiri, ku malundiro amagimu aga Isiraeri; olw'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okubatangiriranga, bw'ayogera Mukama Katonda.
16 Abantu bonna ab'omu nsi banaawanga olw'ekitone ekyo olw'omulangira mu Isiraeri.
17 Era omulangira ye anaawanga ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo eby'obutta n'ebiweebwayo ebyokunywa ku mbaga ne ku myezi egyakaboneka ne ku ssabbiiti, ku mbaga zonna ezaalagirwa ez'ennyumba ya Isiraeri: ye anaategekanga ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isiraeri.
18 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye oddiranga ente envubuka eteriiko bulema; n'olongoosa awatukuvu.
19 Ne kabona atoolenga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi n'aguteeka ku mifuubeeto gy'ennyumba ne ku nsonda ennya ez'omugo ogw'ekyoto ne ku mifuubeeto egy'oku mulyango ogw'oluggya olw'omunda.
20 Era okolanga bw'otyo ku lunaku olw'omwezi olw'omusanvu olwa buli muntu asobya n'oyo atalina magezi: bwe mutyo bwe munaatangiriranga ennyumba.
21 Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ennya mubenga n'Okuyitako, embaga ey'ennaku omusanvu; emigaati egitazimbulukuswa gye ginaaliibwanga.
22 Awo ku lunakn olwo omulangira yeetegekerenga yennyini n'abantu bonna ab'omu nsi ente okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
23 Ne mu nnaku omusanvu ez'embaga ategekenga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, ente musanvu n'endiga ennume musanvu ezitaliiko bulema, buli lunaku okumalako ennaku omusanvu; n'embuzi ennume buli lunaku okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
24 Era ategekenga ekiweebwayo eky'obutta, efa ya nte, ne efa ya ndiga ennume, na buli efa yini ey'amafuta.
25 Mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano mu mbaga akolenga bw'atyo okumala ennaku omusanvu; ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta, n'amafuta nga bwe gali.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]