1 N'aŋŋamba nti Omwana w'o muntu, yimirira ku bigere bye nange naayogera naawe.
2 Kale omwoyo ne guyingira mu nze bwe yayogera nange, ne gunnyimiriza ki bigere byange; ne mpulira oyo eya yogera nange.
3 N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri eri amawanga amajeemu, abanjeemedde: bo ne bajjajjaabwe bansobyanga oku tuukira ddala ku lunaku olwa leero.
4 N'abaana ba kyejo, era ba mitima mikakanyavu; nkutuma eri abo: era olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda.
5 Nabo, oba nga banaawulira, oba nga banaale kayo, (kubanga nnyumba njeemu era naye balimanya nga mu bo mubaddemu nnabbi.
6 Naawe omwana w'omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, newakubadde emyeramannyo n'amaggwa nga biri naawe, era ng'obeera mu njaba ez'obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu.
7 Era olibagamba ebigambo byange oba nga banaawulira) oba nga banaalekayo: kubanga bajeemu nnyo nnyini.
8 Naye ggwe, omwana w'omuntu, wulira kye nkugamba tobanga ggwe mujeemu ng'ennyumba eyo enjeemu: yasama akamwa ko olye ekyo kye nkuwa:
9 Awo bwe nnatunula, laba, omukono gugololwa eri nze; era, laba, omuzingo gw'ekitabo nga guli omwo;
10 n'egwanjululiza mu maaso gange; era gwawandiikibwa munda ne kungulu: era mwawandiikibwamu okuwuubaala n'okukungubaga n'obuyinike.