Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Ezekyeri Ezekiel

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48
1 Awo n'anfulumya mu luggya olw'ebweru, lye kkubo eridda obukiika obwa kkono: n'annyingiza mu nju eyayolekera ekifo ekyayawu libwa era eyayolekera ennyumba ku luuyi olw'obukiika obwa kkono.
2 Mu maaso g'obuwanvu buli obw'e mikono ekikumi we waali olugg olw'obukiika obwa kkono, n'obugazi bwali emikono amakumi ataano.
3 Okwolekera emikono abiri gir egy'oluggya olw'omunda n'okwole kera amayinja amaaliire gali ag'omi luggya olw'ebweru we waali ebbala za ng'eyolekera ebbalaza ginnaayi mu nju eya waggulu ey'okusatu.
4 Ne mu maaso g'amayu gali waaliwo ekkubo obugazi bwalyo emikoni kkumi munda, ekkubo lya mukono gumu; n'enzigi zaago zaayolekera obukiika obwa kkono.
5 Era amayuuga waggulu gaali mampi okusinga ago: kubanga ebbalaza zaasala ku ago okusinga bwe zaasala ku za ansi n'eza wakati mu nnyumba.
6 Kubanga gaali amayu aga waggulu asatu, so tegaalina mpagi ng'empagi ez'omu mpya: eya waggulu kyeyava efunzibwa okusinga eya wansi n'eya wakati okuva ku ttaka.
7 N'ekisenge ekyali ebweru ekyaliraana mayu okwolekera oluggya olw'eweru mu maaso g'amayu obuwavu bwakyo bwali emikono amakumi ataano.
8 Kubanga obuwanvu bw'amayu agaali mu luggya lw'ebweru bwali emikono amakumi ataano: era, laba, mu maaso ga yeekaalu waaliwo emikono kikumi.
9 Era wansi w'amayu ago we baavanga okuyingira ku luuyi olw'ebuvanjuba, ng'oyingira mu go ng'oa mu luggya olw'ebweru.
10 Ku mubiri gw'ekisenge eky'oluggya kwolekera obuvanjuba, mu maaso g’ekifo ekyayawulibwa ne mu maaso n'ennyumba, kwaliko amayu.
11 N'ekkubo eryali mu maaso gaago yali ng'enfaanana ey'ekkubo ery'anayu agayolekera obukiika obwa kono; ng'obuwanvu bwago, n'obugazi bwago bwe bwali bwe butyo: n'awafulumirwa mu go wonna waali ng'engeri zaago bwe zaali era ng'ezigi zaago bwe zaali.
12 Era ng'enzigi ez'amayu agayolekera obuiika obwa ddyo bwe zaali, oluggi bwe lwali bwe lutyo ekkubo we lisibuka eriri ddala mu bwenyi bw'ekisenge ebuvanjuba bw'oyingira mu go.
13 Awo n'aŋŋamba nti Amayu ag'obukiika obwa kkono n'amayu ag'obukiika obwa ddyo goolekedde ekifo ekyayawulibwa go ge mayu amatukuvu, bakabona bali okumpi ne Mukama mwe banaaliiranga ebintu ebitukuvu nnyo: eyo gye banaateekanga ebi.tu ebitukuvu ennyo n'ekiweebwao eky'obutta n'ekiweebwayo olw'eibi n'ekiweebwayo olw'omusango; kubanga ekifo ekyo kitukuvu.
14 Bakabona bwe banaayingirangaiu, kale tebavanga mu kifo ekitukuvu okuyingira mu luggya olw'eweru, naye banaateekanga eyo byambalo byabwe bye baweereezaamu; kubanga bitukuvu; kale anaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ekyo eky'abantu.
15 Awo bwe yamala okugera ennyumba ey'omunda, n'anfulumya mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba, n'agigera enjuyi zonna.
16 N'agera ku luuyi olw'ebuvanjuba n'olumuli olwo olugera, emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli: olugera enjuyi zonna.
17 N'agera ku luuyi olw'obukiika obwa kkono n'olumuli olugera, emmuli ebikumi bitaano enjuyi zonna.
18 N'agera ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli olugera.
19 N'akyukira eri oluuyi olw'ebugwanjuba n'agera emmuli ebikumi bitaano, n'olumuli olugera.
20 Yagigera enjuyi ennya: yalina bbugwe enjuyi zonna, obuwanvu ebikumi bitaano n'obugazi ebikumi bitaano, okwawula ebitukuvu n'ebitali bitukuvu.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]