Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Ezekyeri Ezekiel

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48
1 Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Naawe, omwana w'omuntu, onoosala omusango, onoosala omusango ogw'ekibuga eky'omusaayi? kale kimanyise emizizo gyakyo gyonna.
3 Era yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekiyiwa omusaayi wakati mu kyo so, ekiseera kyakyo kituuke, ekikola ebifaananyi okweyonoona okwegwagwawaza!
4 Ozzizza omusango ogw'omusaayi gwo gw'oyiye, era ogwagwawazibwa n'ebifaananyi byo bye wakola; era osembezezza ennaku zo, era otuuse ne mu myaka gyo: kyenvudde nkufuula ekivume eri amawanga, n'eky'okukudaalira eri ensi zonna.
5 Abo abakuli okumpi, n'abo abakuli ewala balikukudaalira, ggwe alina erinnya ery'obugwagwa era ajjudde okusasamala.
6 Laba, abakungu ba Isiraeri, buli muntu ng'obuyinza bwe bwe buli, baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi.
7 Mu ggwe mwe baanyoomeranga kitaabwe ne nnyaabwe; wakati mu ggwe mw baakoleranga omugenyi eby'okujooga: mu ggwe mwe baalyazaamaanya nga atalina kitaawe ne nnamwandu.
8 Wanyoomanga ebintu byange ebitukuvu, n'oyonoonanga ssabbiiti zange.
9 Abasajja abawaayiriz baabanga mu ggwe okuyiwa omu saayi: ne mu ggwe mwe baaliirang ku nsozi: wakati mu ggwe mw baakoleranga eby'obukaba.
10 Mu ggwe mwe babikkulidde ku bwereere bwa kitaabwe: mu ggwe mwe bakwatira n'amaanyi omukazi eyali nga si mulongoofu olw'okweyawul kwe.
11 Era waliwo akoze eky'o muzizo ne mukazi wa munne; era waliwo n'omulala ayonoonye n'obu kaba muka mwana we; era waliwo n'omulala mu ggwe eyakwata mwa nnyina muwala wa kitaawe.
12 Mu ggwe mwe baliiridde enguzi okuyiwa omusaayi; wasolooza amagoba ne bisukkirira, era baliraanwa bo wabaviisaamu amagoba ng'okwatiddwa omululu ng'ojooga, era onneerabidde nze, bw'ayogera Mukama Katonda.
13 Laba nno, amagoba go agata ga mazima ge wagoba kyennava ngakubira mu ngalo n'omusaayi gwo ogwabanga wakati mu ggwe.
14 Omutima gwo guliyinza okugumiikiriza, oba emikono gyo giriyinza okuba n'amaanyi, mu nnaku mm nditeeseza ebibyo? nze Mukama nkyogedde n'okukola ndikikola.
15 Era ndikusaasaanyiza mu mawanga, ne nkutaataaganyiza mu nsi nnyingi; era ndikumalamu empitambi yo.
16 Awo oligwagwawazibwa ku bubwo wekka mu maaso g'amawanga; kale olimanya nga nze Mukama.
17 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
18 Omwana w'omuntu, ennyumba Isiraeri efuuse amasengere gye ne bonna bikomo na masasi na byun na bbaati wakati mu kikoomi; masengere ga ffeeza.
19 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwenna mufuuse mas ngere, laba, kyendiva mbakuŋŋnaana mu Yerusaalemi wakati.
20 Nga bwe bakuŋŋaanya effeeza n'ebikomo n'ebyuma n'amabaati n'amasasi mu kyoto wakati okubifukutako omulikubisaanuusa; bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya mmwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era ndibateekawo ne mbasaanuusa.
21 Weewaawo, ndibakuŋŋaanya ne mbafukutako omuliro ogw'obusungu bwange, nammwe mulisaanuuka wakati mu kyo.
22 Ng'effeeza bw'esaanuukira wakati mu kyoto, nammwe bwe mulisaanuukira bwe mutyo wakati nu kyo; kale mulimanya nga nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.
23 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
24 omwana w'omuntu, kigambe nti ggwe oli nsi eterongoosebwa, so tetonnyebwako nkuba ku lunaku olw'okunyiigirako.
25 Waliwo okwekobaana kwa bannabbi baakyo wakati mu kyo ng'empologoma ewuuguma etaagulataagula omuyiggo:) alidde emmeeme z'abantu; banyaga eby'obugagga n'eby'omuwendo omungi; bafudde bannamwandu baakyo okuba abangi wakati mu kyo.
26 Bakabona baakyo bagiridde ekyejo amateeka gange, era bagwagwawazizza ebintu byange ebinkuvu: tebaawuddeemu bitukuvu n’ebitali bitukuvu, so tebayigiriza bantu okwawulamu ebitali birongoou n'ebirongoofu, era bakwese amaaso gaabwe essabbiiti zange, nange tvumisibwa mu bo.
27 Abakungu baakyo wakati mu kyo bali ng'enisege egitaagulataagula omuyiggo; okuyiwa omusaayi n'okuzikiriza emmeeme balyoke bafune amagoba igatali ga mazima.
28 Era bannabbi baakyo babasiigiddeko ebbumba eritasekuddwa bulungi, nga balaba ebyayanga era nga babalagula eby'obulimba, nga boogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Mu zama nga so tayogedde.
29 Abantu ab'omu nsi bajooze, ne bagoberera okunyaga; weewaawo, beeraliikirizza omwavu n'eyeetaaga, era bajooze nunnaggwanga nga bamulanga bwereere.
30 Ne nnoonya omusajja mu bo eyandiddaabirizza olukomera z'ayimirira mu kituli ekiwaguddwa mu maaso gange ku lw'ensi, nneme okugizikiriza: naye ne ssiraba n'omu.
31 Kyenvudde mbafukako okunyiiga kwange; mbamazeewo n'omuliro ogw'obusungu bwange: ndese ku mutwe gwabwe ekkubo lyabwe bo, bw'ayogera Mukama Katonda.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]