1 Awo n'a ŋŋamba nti Omwana w'omuntu, lya ekyo ky'osanga; ya omuzingo guno, ogende ogambe ennyumba ya Isiraeri.
2 Awo ne njasama akamwa kange n'andiisa omuzingo.
3 N'aŋŋamba nti omwana w'omuntu, liisa olubuto wo, ojjuze ebyenda byo omuzingo guno gwe nkuwa. Kale ne ngulya, ne guba mu kamwa kange ng'omubisi gw'enjuki okuwoomerera.
4 Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, genda otuuke eri ennyunba ya Isiraeri, oyogere nabo ebigambo byange.
5 Kubanga totumiddwa eri eggwanga ery'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, wabula eri ennyumba ya Isiraeri;
6 si eri amawanga amangi ab'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, b'otoyinza kutegeera bigambo byabwe. Mazima singa nkubatumidde bo, bandikuwulidde.
7 Naye ennyumba ya Isiraeri tebalikuwulira; kubanga tebalimpulira nze: kubanga ennyumba yonna eya Isiraeri ba kyenyi kikalubo era ba mutima mukakanyavu.
8 Laba, nkalubizza amaaso go awali amaaso gaabwe, n'ekyenyi kyo nkikalubizza awali ekyenyi kyabwe.
9 Nfudde ekyenyi kyo ng'alimasi okukaluba okusinga ejjinja ery'embaalebaale: obatyanga, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde iga nnyumba njeemu.
10 Era nate n’aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, ebigambo byange byonna bye ndikubuulira, bikkirize mu mutima gwo, owulire n'amatu go.
11 Era genda otuuke eri abo ab'obusibe, eri abaana ab'abantu bo, oyogere nabo obabuulire nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo.
12 Awo omwoyo ne gunsitula, ne mpulira ennyuma wange eddoboozi ery'okuwulukuka okunene nga lyogera nti Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe okuva mu kifo kye.
13 Awo ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro by'ebiramu nga bikomaganako, n'okuwuuma kwa bannamuziga ku mabbali gaabyo, okuwuuma okuwulukuka okunene.
14 Awo omwoyo negunsitula ne guntwala: ne ŋŋenda nga ndiko obuyinike n'omwoyo gwange nga gubugumye, omukono gw'a Mukama ne guba gw'amaanyi ku nze.
15 Awo ne ndyoka njija eri ab'obusibe e Terabibu, abaabeera ku mugga Kebali, ne mu kifo mwe baabeera; ne ntuula awo mu bo nga nsamaaliridde ne mmala ennaku musannvu.
16 Awo olwatuuka ennaku musanvu bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
17 Omwana w'omuntu nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: kale wulira ekigambo eky’omu kamwa kange, obawe okulaba okuva gye ndi.
18 Bwe ŋŋamba omubi nti Toliirema kufa; naawe n'otomulabula so toyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi okuwonya obulamu bwe: omubi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.
19 Era naye bw'olabula omubi, n’atakyuka okuleka obubi bwe newakubadde okuva mu kkubo lye ebbi, alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo.
20 Nate omuntu omutuukirivu bw'akyuka okuleka obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, nange ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa: kubanga tomulabudde, alifiira mu kibi kye, n'ebikolwa bye ebituukirivu bye yakola tebirijjukirwa; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.
21 Era naye bw'olabula omuntu omutuukirivu, omutuukirivu aleme okukola ekibi n'atakola kibi, mazima aliba mulamu, kubanga alabuse; naawe ng'owonyezza emeeme yo.
22 Awo omukono gw'a Mukama ne guba ku nze eyo; n'aŋŋamba nti Golokoka ofulume ogende mu lusenyi, nange ndyogerera naawe eyo.
23 Awo ne ngolokoka ne nfuluma ne ŋŋenda mu lusenyi kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kiyimiridde eyo, ng'ekitiibwa bwe kyali kye nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali ne nvuunama amaaso gange.
24 Awo omwoyo ne guyingira mu nze ne gunnimiriza ku bigere byange, n'ayogera nange n'aŋŋamba nti Genda weggalire mu nnyumba yo.
25 Naye ggwe, omwana w'omuntu, laba, balikussaako enjegere, ne bazikusibisa, so tolifuluma mu bo:
26 era ndyegassa olulimi lwo n'ekibuno kyo, obeere kasiru era oleme okubeera gye bali anenya: kubanga nnyumba njeemu.
27 Naye bwe njogera naawe, ndyasamya akamwa ko, naawe olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Awulira awulire; n'oyo alekayo alekeyo; kubanga nnyumba njeemu.