1 Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda ne Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwaka! baka Lekobowaamu.
2 Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti
3 Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka lwa Yuda, ne Isiraeri yenna mu Yuda ne Benyamini, ng'oyogera nti
4 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ebigambo bya Mukama ne baddayo ne baleka okutabaala Yerobowaamu.
5 Awo Lekobowaamu n'abeera mu Yerusaalemi n'azimba ebibuga mu Yuda okuba ebigo.
6 N'azimba Besirekemu ne Etamu ne Tekowa
7 ne Besuzuli ne Soko ne Adulamu
8 ne Gaasi ne Malesa ne Zifu,
9 ne Adorayimu ne Lakisi ne Azeka
10 ne Zola ne Ayalooni ne Kebbulooni, ebiri mu Yuda ne mu Benyamini, ebibuga ebiriko enkomera.
11 Ebigo n'abizimbako enkomera, n'abiteekamu abaami n'emmere ey'okuterekebwa n'amafuta n'omwenge.
12 Ne mu buli kibuga kinnakimu n'ateekamu engabo n'amafumu, n'abinyweza nnyo nnyini. Yuda ne Benyamini ne baba babe.
13 Bakabona n'Abaleevi abaali mu Isiraeri yonna ne bagendanga gy'ali okuva mu nsalo zaabwe zonna.
14 Kubanga Abaleevi baaleka ebyalo byabwe eby'oku bibuga n'obutaka bwabwe ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi: kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba baleme okuweererezanga mu bwakabona bwabwe eri Mukama:
15 ne yeetekerawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu n'ab'embuzi ennume n'ab'ennyana ze yakola.
16 Awo ne babagoberera bonna abaateeka emitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri ab'omu bika byonna ebya Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
17 Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, ne bamunywereza emyaka esatu Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani: kubanga baatambulira emyaka esatu mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.
18 Awo Lekobowaamu n'afumbirwa omukazi Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, era owa Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese;
19 n'amuzaalira abaana ab'obulenzi; Yewusi ne Semaliya ne Zakamu.
20 Oluvannyuma lwe n'afumbirwa Maaka muwala wa Abusaalomu; oyo n'amuzaalira Abiya ne Attayi ne Ziza ne Seromisi.
21 Lekobowaamu n'ayagala Maaka muwala wa Abusaalomu okukira bakazi be bonna n'abazaana be bonna; (kubanga yawasa abakazi kkumi na munaana n'abazaana nkaaga, n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu munaana n'ab'o buwala nkaaga).
22 Lekobowaamu n'assaawo Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu, asinga baganda be obukulu: kubanga yayagala okumufuula kabaka.
23 N'akola eby'amagezi, n'asaasaanya batabani be bonna mu nsi zonna eza Yuda ne Benyamini, mu buli kibuga ekiriko olukomera: n'abawa ebyokulya bingi nnyo. N'abanoonyeza abakazi bangi.