1 Awo ebyo byonna bwe byaggwa, Isiraeri yenna abaali bali awo ne bavaayo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne bamenyaamenya empagi, ne batemaatema Baasera, ne bamenyera ddala ebifo ebigulumivu n'ebyoto mu Yuda yonna ne Benyamini, era ne mu Efulayimu ne Manase, okutuusa lwe baabizikiriza byonna. Awo abaana ba Isiraeri bonna ne baddayo buli muntu mu butaka bwe, mu bibuga byabwe bo.
2 Awo Keezeekiya n'assaawo empalo za bakabona n'Abaleevi ng'empalo zaabwe bwe zaali, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kwali, bakabona era n'Abaleevi, olw'ebiweebwayo ebyokebwa n'olw'ebiweebwayo olw'emirembe, okuweerezanga n'okwebazanga n'okutendererezanga mu nzigi ez'olusiisira lwa Mukama.
3 Era n'assaawo omugabo gwa kabaka ogw'oku bintu bye olw'ebiweebwayo ebyokebwa, olw'ebiweebwayo ebyokebwa eby'enkya n'eby'akawungeezi, n'ebiweebwayo ebya ssabbiiti n'eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama.
4 Era nate n'alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo gwa bakabona n'Abaleevi, beeweeyo eri amateeka ga Mukama.
5 Awo etteeka bwe lyalangirwa, amangu ago abaana ba Isiraeri ne baleeta bingi nnyo ebibereberye eby'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta n'omubisi gw'enjuki n'ebibala byonna eby'omu nnimiro, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ebintu byonna ne bakireeta, bingi nnyo.
6 Abaana ba Isiraeri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, era nabo ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'ente n'endiga, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ebintu ebyawongebwa ebyayawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo.
7 Mu mwezi ogw'okusatu mwe baatanulira okutandika entuumo ne bazimalira mu mwezi ogw'omusanvu.
8 Awo Keezeekiya n'abakulu bwe bajja ne balaba entuumo, ne beebaza Mukama n'abantu be Isiraeri.
9 Awo Keezeekiya n'abuuzagana ne bakabona n'Abaleevi eby'entuumo.
10 Azaliya kabona asinga obukulu ow'omu nnyumba ya Zadoki n'amuddamu n'ayogera nti Abantu kasookedde batanula okuleeta ebitone mu nnyumba ya Mukama, nga tulya nga tukkuta nga tulemerwa ddala: kubanga Mukama awadde abantu be omukisa; n'ebyo ebifisseewo bye bintu bino ebyenkanidde awo.
11 Awo Keezeekiya n'alyoka alagira okutegeka enju mu nnyumba ya Mukama; ne bazitegeka.
12 Ne bayingiza ebitone n'ebitundu eby'ekkumi n'ebintu ebyawongebwa, n'obwesigwa: era Konaniya Omuleevi ye yali omukulu waabwe, ne Simeeyi muganda we ye yamuddirira.
13 Ne Yekyeri, ne Azaziya, ne lakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, ne (ozabadi, ne Eryezi, ne Isumakiya, ne Makasi, ne Benaya be baali balabirizi wansi w'omukono gwa Zonaniya ne Simeeyi muganda we lw'ekiragiro kya Keezeekiya kabaka ne Azaliya omukulu w'ennyumba ya Katonda.
14 Ne Kole mutabani va Imuna Omuleevi, omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba, ye mli omukulu w'ebyo bye baawaayo eri Katonda ku bwabwe, okugaba birabo bya Mukama n'ebintu ebitukuvu ennyo.
15 Era wansi w'oyo Edene ne Miniyamini ne Yesuwa ae Semaaya, Amaliya ne Sekaniya, nu bibuga bya bakabona, mu mulimu gwabwe ogwalagirwa, okuwanga baganda baabwe mu mpalo, abakulu era n'abato:
16 obutassaako abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kw'abasajja bwe kwali, abaakamaze emyaka esatu n'okukirawo, buli eyayingira mu nnyumba ya Mukama, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali, dw'okuweereza kwabwe mu ebyo bye baalagirwa, ng'empalo zaabwe bwe zaali;
17 n'abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali ku bakabona ng'ennyumba za bakiaabwe bwe zaali, n'Abaleevi abakamaze emyaka amakumi abiri okukirawo, mu ebyo bye baalagirwa ng'empalo zaabwe bwe zaali;
18 n'abo abaabalibwa ng'okuzaabwa kwabwe bwe kwali ku baana aabwe bonna abato, abakazi baawe ne batabani baabwe ne bawala aabwe, okubuna ekibiina kyonna: ubanga beetukuza mu butukuvu m mulimu gwabwe ogwalagirwa:
19 era olwa batabani ba Alooni akabona abaali mu nnimiro ez'omu byalo eby'ebibuga byabwe, mu buli kibuga kinnakimu, mwalimu abasajja abaayatulwa amannya gaawe okuwa emigabo abasajja bonna ab'omu bakabona n'abo bonna abaabalibwa ng'okuzaalibwa bwe kwali mu Baleevi.
20 Era bw'atyo Keezekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna; n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era eby'ensonga era eby'owesigwa.
21 N'omulimu gwonna gwe yatandika mu kuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda ne mu mateeka ne mu biragiro okunoonya Katonda we n'agukola n'omutima gwe gwonna, n'alaba omukisa.