1 Awo olwatuuka oluvannyuma w'ebyo abaana ba Mowaabu n'abaana ba Amoni era wamu nabo abamu ku Bamoni ne batabaala Yekosafaati okulwana naye.
2 Awo ne wajja abantu abaamugamba Yekosafaati nti Eggye ddene likutabadde eriva emitala w'ennyanja e Busuuli; era, laba, bali mu Kazazonutamali (ye Engedi).
3 Yekosafaati n'atya ne yeeteekateeka okunoonya Mukama; n'alangira okusiiba mu Yuda yonna.
4 Yuda ne bakuinaana okunoonya okubeerwa eri Mukama: baaviira ddala mu bibuga byonna ebya Yuda okunoonya Mukama.
5 Yekosafaati n'ayimirira mu kkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi mu nnyumba ya Mukama mu maaso g'oluggya oluggya;
6 n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa bajjajjaffe, toli Katonda mu ggulu? era si ggwe ofuga obwakabaka bwonna obw'amawanga? ne mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi n'okubaawo ne watabaawo ayinza okukuziyiza.
7 Ai Katonda waffe, si ggwe wagoba abaali mu nsi eno mu maaso g'abantu bo Isiraeri, n'ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo emirembe gyonna?
8 Ne babeera omwo, era bakuzimbidde omwo ekigwa olw'erinnya lyo, nga boogera nti
9 Obubi bwe bunaatutuukangako, ekitala, omusango, oba lumbe oba njala, tunaayimirira.nga mu maaso g'ennyumba eno ne mu maaso go, (kubanga erinnya lyo liri mu nnyumba eno,) ne tukukaabira nga tulabye ennaku, naawe oliwulira n'olokola.
10 Kale nno tunuulira abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri be wagaana Isiraeri okutabaala bwe baava mu nsi y'e Misiri, naye ne bakyama okubavaako ne batabazikiriza;
11 laba, bwe batusasula, okujja okutugoba mu butaka bwo bw'otuwadde okulya.
12 Ai Katonda waffe, tolibasalira musango? kubanga tetulina maanyi n'akatono eri eggye lino eddene eritutabadde: so tetumanyi bwe tuba tukola; naye amaaso gaffe gakutunuulira ggwe.
13 Yuda yenna ne bayimirira mu maaso ga Mukama nga balina abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe.
14 Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Benaya mutabani wa Yeyeri mutabani wa Mattaniya Omuleevi ow'oku batabani ba Asafu wakati mu kibiina;
15 n'ayogera nti Muwulire, mmwe Abayuda mwenna, nammwe ababeera mu Yerusaalemi, naawe, kabaka Yekosafaati: bw'atyo bw'abai gamba Mukama nti Temutya mmwe so temukennentererwa olw'eggye lino eddene; kubanga olutalo si lwammwe naye lwa Katonda.
16 Enkya muserengete mulwane nabo: laba, bambukira awalinnyirwa e Zizi; nammwe mulibasanga ekiwonvu we kisibuka mu maaso g'edduagu Yerweri.
17 Temulyetaaga kulwana mu lutalo luno: mwesimbe muyimirire buyimirizi mulabe obulokozi bwa Mukama obuli nammwe, ggwe Yuda ne Yerusaalemi: temutya so temukeŋŋentererwa: enkya mubatabaale; kubanga Mukama ali nammwe.
18 Awo Yekosafaati n'avuunama amaaso ge ku ttaka: ne Yuda yenna n'ababeera mu Yerusaalemi ne bavuunama mu maaso ga Mukama, nga basinza Mukama.
19 Abaleevi ab'oku baana b'Abakokasi n'ab'oku baana b'Abakola ne bayimirira okutendereza Mukama Katonda wa Isiraeri n'eddoboozi ddene nnyo nnyini.
20 Ne bagolokoka enkya mu makya ne bafuluma mu ddungu ery'e Tekowa: awo bwe baali nga bafuluma Yekosafaati n’ayimirira n'ayogera nti Mumpulire, mmwe Abayuda nammwe ababeera mu Yerusaalemi; mukkirize Mukama Katonda wammwe, bwe mutyo bwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, bwe mutyo bwe munaalaba omukisa.
21 Awo bwe yamala okuteesa n'abantu, n'assaawo abo abanaayimbira Mukama ne batendereza obulungi bw'obutukuvu nga bafuluma nga bakulembedde eggye ne boogera nti Mwebaze Mukama; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Awo bwe baatanula okuyimba n'okutendereza, Mukama n’ateekawo abateezi okuteega abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri, abaali batabadde Yuda; ne bakubibwa.
23 Kubanga abaana ba Amoni ne Mowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, okubatta n'okubazikiririza ddala: awo bwe baamalira ddala ab'oku lusozi Seyiri, buli muntu ne beegatta okuzikiriza munne.
24 Awo Yuda bwe baatuuka ku kigo ekikuumirwako eky'omu ddungu, ne batunuulira eggye, kale, laba, nga mirambo egigudde wansi, so tewaali abaawona.
25 Awo Yekosafaati n'abantu be bwe baatuuka okubaggyako omunyago, ne basanga mu bo obugagga bungi n'emirambo n'ebintu eby'omuwendo omungi, bye beeyambulira bokka, obungi bwabyo ne bibalema okutwala: ne bamala ennaku ssatu nga banyaga omunyago, bwe gwali mungi bwe gutyo.
26 Awo ku lunaku olw'okuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu Beraka; kubanga eyo gye beebaliza Mukama: ekifo ekyo kyekyava kituumibwa erinnya kiwonvu Beraka ne leero.
27 Awo ne baddayo, buli muntu owa Yuda n'ow'e Yerusaalemi, Yekosafaati ng'abakulembedde, okuddayo e Yerusaalemi nga basanyuse; kubanga Mukama abawadde okusanyukira abalabe baabwe.
28 Ne bajja e Yerusaalemi nga balina entongooli n'ennanga n'amakondeere eri ennyumba ya Mukama.
29 Entiisa ya Katonda n'eba ku bwakabaka bwonna obw'ensi bwe baawulira Mukama ng'alwana n'abalabe ba Isiraeri
30 Awo amatwale ga Yekosafaati ne gatereera: kubanga Katonda we yamuwa okuwummula enjuyi zonna.
31 Yekosafaati n'afuga Yuda: yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Azuba muwala wa Siruki.
32 N'atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebitungi.
33 Era naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; so n'abantu nga tebannaba kukakasa mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe.
34 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Yeeku mutabani wa Kanani, ebyayingizibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri.
35 Awo oluvannyuma lw'ebyo Yekosafaati ne yeegatta ne Akaziya kabaka wa Isiraeri; oyo n'akola bubi nnyo:
36 ne yeegatta naye okusiba ebyombo eby'okugenda e Talusiisi: ne basibira ebyombo e Ezyonigeba.
37 Awo Eryeza mutabani wa Dodavaku ow'e Malesa n'alagula ku Yekosafaati ng'ayogera nti Kubanga weegasse ne Akaziya, Mukama azikirizza emirimu gyo. Ebyombo ne bimenyeka n'okuyinza ne bitayinza kugenda e Talusiisi.