1 Awo Sulemaani n'ayagala okuzimbira erinnya lya Mukama ennyumba, n'ennyumba y'obwakabaka bwe
2 Sulemaani n'ayawula abasajja obukumi musanvu, okwetikkanga emigugu, n'abasajja obukumi munaana abaatemanga ku nsozi, n'enkumi ssatu mu lukaaga okubalabiriranga.
3 Sulemaani n'atuma eri Kulamu kabaka w'e Ttuulo ng'ayogera nti Nga bwe wakolanga Dawudi kitange n'omuweereza emivule okuzimba ennyumba okubeera omwo, bw'oryo bw'oba okola nange.
4 Laba, nzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba okugiwonga eri ye, n'okwotereza mu maaso ge obubaane obw'eby'akaloosa ebiwoomerevu, n'olw'emigaati egitaggwaawo, n'olw'ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe. Kino kye kiragiro eky'emirembe gyonna eri Isiraeri.
5 N'ennytunba gye nzimba nnene: kubanga Katonda waffe mukulu okusinga bakatonda bonna.
6 Naye ani ayinza okumuzimbira ennyumba, kubanga eggulu n'eggulu erya waggulu taligyamu? nze nno nze ani mmuzimbire ennyumba, wabula okwoterezanga obubaane mu maaso ge?
7 Kale nno, mpeereza omusajja alina amagezi okukola omulimu ogwa zaabu, ne ffeeza n'ebikomo n'ebyuma, n'olugoye olw'effulungu n'olutwakaavu ne kaniki, era omutegeevu okukola enjola ez'engeri zonna, okuba awamu n'abasajja ab'amagezi abali nange mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.
8 Era mpeereza n'emivule n'emiberosi n'emitoogo ng'ogiggya ku Lebanooni: kubanga mmanyi ng'abaddu bo bategeevu okutema emiti ku Lebanooni; era, laba, abaddu bange banaabanga wamu n'abaddu bo,
9 okunteekerateekera emiti mingi: kubanga ennyumba gy'eŋŋenda okuzimba eriba nnene kitalo.
10 Era, laba, ndiwa abaddu bo, ababazzi abatema emiti, ebigero eby'eŋŋaano empuule obukumi bubiri, n'ebigero ebya sayiri obukumi bubiri, n'ebita eby'omwenge obukumi bubiri, n'ebita eby'amafuta obukumi bubiri.
11 Awo Kulamu kabaka w’e Ttuulo n'addamu ng'awandiika ebbaluwa n'agiweereza Sulemaani, nti Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyeyava akufuula kabaka waabwe.
12 Era Kulamu n'ayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe eyatonda eggulu n'ensi, awadde Dawudi kabaka omwana omutegeevu, eyaweebwa amagezi n'okumanya, agenda okuzimbira Mukama ennyumba n'okuzimbira obwakabaka bwe ennyumba.
13 Kaakano nno mpeerezza omusajja ow'amagezi eyaweebwa okutegeera, owa Kulamu kitange,
14 Omwana w'omukazi ow'oku bawala ba Ddaani, ne kitaawe yali musajja wa Ttuulo, ow'amagezi okukola omulimu ogwa zaabu n'ogwa ffeeza n'ogw'ebikomo n'ogw'ebyuma n'ogw'amayinja n'ogw'emiti n'ogw'engoye ez'effulungu ne kaniki ne bafuta ennungi n'engoye entwakaavu; era n'okwola enjola ez'engeri zonna, n'okugunja engeri yonna egunjibwa: alagirwe ekifo wamu n'abasajja bo ab'amagezi n'abasajja ab'amagezi aba mukama wange Dawudi kitaawo.
15 Kale nno, eŋŋaano ne sayiri, amafuta n'omwenge, mukama wange bye yayogerako; atume eri abaddu be:
16 naffe tulitema emiti ku Lebanooni, nga bw'olyagala obungi: era tuligireeti gy'oli nga tugikulula ku nnyanja ne tugituusa e Yopa; naawe oligirinnyisa e Yerusaalemi.
17 Awo Sulemaani n'abala bannaggwanga bonna abali mu nsi ya Isiraeri ng'okubala bwe kwali Dawudi kitaawe kwe yababala: ne walabika kasiriivu mu obukumi butaano mu enkumi ssatu mu lukaaga.
18 N'assaawo obukumi musanvu ku bo okwetikkanga emigugu, n'obukumi munaana abaatemanga ku nsozi n'abalabirizi enkumi ssatu mu lukaaga okukozanga abantu.