Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Ebyomumirembe 2 Chronicles

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36
1 Awo olwatuuka obwakabaka bwa Lekobowaamu bwe bwanywezebwa n'aba n'amaanyi, kale n'aleka amateeka ga Mukama, ne Isiraeri yenna wamu naye.
2 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa kabaka Lekobowaamu Sisaki kabaka w'e Misiri n'atabaala Yerusaalemi, kubanga basobezza Mukama,
3 ng'alina amagaali lukumi mu ebikumi bibiri n'abasajja abeebagala embalaasi obukumi mukaaga: n'abantu abajja naye abaava mu Misiri nga tebabalika; Abalubimu n'Abasukkiyimu n'Abaesiyopya.
4 N'amenya ebibuga ebiriko enkomera ebya Yuda, n'ajja e Yerusaalemi.
5 Awo Semaaya nabbi n'ajja eri Lekobowaamu n'eri abakulu ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde e Yerusaalemi olwa Sisaki, n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Munvuddeko, nange kyenvudde mbaleka mu mukono gwa Sisaki.
6 Awo abakulu ba Isiraeri ne kabaka ne beetoowaza; ne boogera nti Mukama mutuukirivu
7 Awo Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Semaaya nga kyogera nti Beetoowazizza; siribazikiriza: naye naabawaako okuwonyezebwa, n'obuIsungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi mu mukono gwa Sisaki.
8 Era naye baliba baddu be; bamanye okuweereza kwange n'okuweereza kw'obwakabaka bw'ensi bwe kufaanana.
9 Awo Sisaki kabaka w'e Misiri n'atabaala Yerusaalemi n'aggyayo obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama n'obugagga obw'omu nnyumba ya kabaka; byonna n'abitwalira ddala: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yakola.
10 Kabaka Lekobowaamu n'akola engabo ez'ebikomo okudda mu bifo byazo, n'aziteresa mu mikono gy'abaami b'abambowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka.
11 Awo oiwatuuka kabaka buli lwe yayingi_ ranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bajja ne bazisitula, ne bazizza mu nju ey'abakuumi.
12 Awo bwe yeetoowaza, obusungu bwa Mukama ne bukyuka okumuvaako, aleme okumuzikiririza ddala: era nate mu Yuda mwalabika ebirungi.
13 Awo kabaka Lekobowaamu ne yeenywereza mu Yerusaalemi n'afuga, kubaaga Lekobowaamu yali Yaakamaze emyaka amakumi ana mu gumu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n’erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni.
14 N'akola ebyali ebibi, kubanga teyakakasa mutima gwe okunoonya Mukama.
15 Era ebikolwa bya Lekobowaamu, ebyasooka n'ebyamalirwako, tebyawandiikibwa mu bigambo bya Semaaya nnabbi n'ebya Iddo omulabi ng'engeri bw'eri ey'ebitabo eby'okuzaalibwa? Ne wabanga entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu obutayosa.
16 Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi: Abiya mutabani we n'afuga mu kifo kye.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]