1 Awo Sulemaani n'atanula oku zimba ennyumba ya Mukama Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama kwe yalabikirira Dawudi kitaawe, gye yateekateeka mu kiof Dawudi kye yalagira, mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
2 Awo n'atanula okuzimba ku lunaku olw'okubiri olw'omwezi ogw'okubi mu mwaka ogw'okuna kasookedde alya obwakabaka.
3 Era gino gye misingi Sulemaani gye yakuba okizimba ennyumba ya Katonda Obuwanvu bwayo mu mikono ng'ekigero eky'olubereberye bwe kyali bwali emikono nkaaga, n'obugazi emikono amakumi abiri.
4 N'ekisasi ekyali mu maaso g'ennyumba, obuwanvu bwakyo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugulumivu kikumi mu abiri: n'akibikkako munda zaabu ennongoofu.
5 N'ennyumba ennene n'agibikkako embaawo ez'emiberosi gye yabikkako zaabu ennongoofu, n'akolako enkindu n'emikuufu.
6 N'ayonja ennyumba n'amayinja ag'omuwendo omungi olw'obulungi: ne zaabu yali zaabu Eyepaluvayimu.
7 Era n'ennyumba n'agibikkako zaabu, emiti n'emiryango n'ebisenge byayo n'enzigi zaayo; ne bakerubi ababajje ku bisenge.
8 N'akola ennyumba entukuvu ennyo; obuwanvu bwayo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugazi bwayo emikono amakumi abiri: n'agibikkako zaabu ennongoofu, eweza talanta lukaaga.
9 N'obuzito bw'emisumaali bwali sekeri eza zaabu amakumi ataano. N'abikkako zaabu enju eza waggulu. N'azibikkako zaabu.
10 Ne mu nnyumba entukuvu ennyo n'akolamu bakerubi babiri ab'omulimu ogw'ebifaananyi; ne bababikkako zaabu.
11 N'ebiwawaatiro bya bakerubi obuwanvu bwabyo emikono amakumi abiri: n'ekiwawaatiro kya kerubi omu kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba; n'ekiwawaatiro eky'okubiri nakyo bwe kityo kya mikono etaano, nga kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne.
12 N'ekiwawaatiro kya kerubi munne kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba: n'ekiwawaatiro ekirala nakyo kya mikono etaano, nga kyegatta n'ekiwawaatiro kya kerubi munne.
13 Ebiwawaatiro bya bakerubi abo byebamba emikono amakumi abiri: era baayimirira ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ennyumba.
14 N'akola eggigi lya kaniki n'olugoye olw'effulungu n'olutwakaavu ne bafuta ennungi, n'alikolako bakerubi.
15 Era n'akola mu maaso g'ennyumba empagi bbiri, obugulumivu bwazo emikono amakumi asatu mu etaano, n'omutwe ogwali ku zo kinneemu gwali emikono etaano.
16 N'akola emikuufu awayimibwa okwogera, n'agiteeka ku ntikko z'empagi; n'akola amakomamawanga kikumi n'agateeka ku mikuufu.
17 N'asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo n'ey'okubiri ku gwa kkono; n'atuuma ey'oku mukono ogwa ddyo erinnya lyayo Yakini, n'erinnya ly'ey'oku gwa kkono Bowaazi.