1 Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Azaliya mutabani wa Odedi:
2 n'afuluma okusisinkana Asa n'amugamba nti Mumpulire, mmwe Asa ne Yuda yenna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munsamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe.
3 Era ebiro bingi Isiraeri nga talina Katonda ow'amazima era nga talina kabona ayigiriza era nga talina mateeka:
4 naye bwe baakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri nga balabye ennaku ne bamunoonya, ne balyoka bamulaba.
5 Ne mu biro ebyo nga tewali mirembe eri oyo eyafulumanga newakubadde eri oyo eyayingiranga, naye okweraliikirira kungi ne kuba ku bonna abaatuula mu nsi ezo.
6 Ne bamenyekamenyeka, eggwanga nga lirumba ggwanga linnaalyo, n'ekibuga nga kirumba kibuga kinnaakyo: kubanga Katonda yabeeraliikiriza ng'abalabya ennaku zonna.
7 Naye mubenga n'amaanyi, so n'emikono gyammwe tegiddiriranga: kubanga omulimu awammwe guliweebwa empeera.
8 Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ebyo Odedi nnabbi bye yalagula, n'aguma omwoyo n'aggyawo eby'emizizo byonna mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini ne mu bibuga bye yaggya ku nsi ey'ensozi eya Efulayimu; n'azza obuggya ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g'ekisasi kya Mukama.
9 N'akuŋŋaanya Yuda yenna ne Benyamini n'abo abaabeeranga nabo abaava mu Efulayimu ne Manase ne mu Simyoni: kubanga baamusenga bangi nnyo nga bava mu Isiraeri, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye.
10 Awo ne bakutltlaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogw'okusatu mu mwaka, ogw'ekkumi n'etaano ogw'okufuga kwa Asa.
11 Ne baweerayo ku lunaku olwo eri Mukama nga baggya ku munyago gwe baaleeta ente lusanvu n'endiga kasanvu.
12 Ne bayingira mu ndagaano okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna;
13 era buli atakkirizenga kunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri attibwenga, oba muto oba mukulu, oba musajja oba mukazi.
14 Ne balayirira Mukama n'eddoboozi ddene n'okwogerera waggulu n'amakondeere n'eŋŋombe.
15 Yuda yenna ne basanyukira ekirayiro ekyo: kubanga baali balayidde n'omutima gwabwe gwonna ne bamunoonya okwagala kwabwe kwonna; ne vamulaba: Mukama n'abawa okuwummula enjuyi zonna.
16 Era ne Maaka nnyina Asa kabaka n'amugoba mu bwannamaole kubanga yali akoze ekifaananyi ky'omuzizo okuba Asera; Asa i'atema ekifaananyi kye n'akifuula nfuufu n'akyokera ku kagga Kiduooni.
17 Naye ebifo ebigulumivu ebyaggibwawo mu Isiraeri: naye mutima gwa Asa gwatuukirira ennaku ze zonna.
18 N'ayingiza mu nnyumba ya Katonda ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu bye yawonga ye yennyini, effeeza n'ezaabu n'ebintu.
19 Ne watabanga ntalo nate okutuusa omwaka ogw'asatu mu etaano ogwa Asa.