1 Keezeekiya yatanula okufuga nga yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abiya muwala wa Zekkaliya.
2 N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali Dawudi kitaawe bye yakolanga.
3 Mu mwaka ogw'olubereberye ogw'okufuga kwe mu mwezi 'ogw'olubereberye n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama n'aziddaabiriza.
4 N'ayingiza bakabona n'Abaleevi n'abakuŋŋaanyiza mu kifo ekigazi ku luuyi olw'ebuvanjuba,
5 n'abagamba nti Mumpulire, mmwe Abaleevi; kaakano mwetukuze, mutukuze n'ennyumba ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggyeemu eby'obugwagwa mu kifo ekitukuvu.
6 Kubanga bajjajjaffe baasobyanga ne ,bakolanga ebyali mu maaso ga Mukama Katonda waffe ebibi ne bamuleka ne bakyusa amaaso gaabwe okuva eri ekifo Mukama mw'abeera ne bakikuba amabega gaabwe.
7 Era ne baggalawo enzigi z'ekisasi, ne bazikiza ettabaaza, so tebootezanga bubaane newakubadde okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa' mu kifo ekitukuvu eri Katonda wa Isiraeri.
8 Obusungu bwa Mukama kyebwavanga bubeera ku Yuda ne Yerusaalemi, era abawaddeyo okubayuuganya eruuyi n'eruuyi, okusamaalirirwa n'okusoozebwa, nga bwe mulaba n'amaaso gammwe.
9 Kubanga, laba, bakitaffe baagwa n'ekitala ne batabani baffe ne bawala baffe ne bakazi baffe kyebaava babeera mu busibe.
10 Era kiri mu mutima gwange okulagaana endagaano ne Mukama Katonda wa Isiraeri, ekiruyi kye ekikambwe kikyuke kituveeko.
11 Baana bange, temutenguwanga nno: kubanga Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, era mubeerenga abaweereza be, mwotezenga obubaane.
12 Awo Abaleevi ne balyoka bagolokoka, Makasi mutabani wa Amasayi, ne Yoweeri mutabani wa Azaliya, ab'oku baana ba Bakokasi: n'ab'oku baana ba Merali, Kiisi mutabani wa Abudi, ne Azaliya mutabani wa Yekalereri: n'ab'oku Bagerusoni, Yowa mutabani wa Zimma, ne Edeni mutabani wa Yowa:
13 n'ab'oku baana ba Erizafani, Simuli ne Yeweri: n'ab'oku baana ba Asafu, Zekkaliya ne Mattaniya
14 n'ab'oku baana ba Kemani, Yekweri ne Simeeyi: n'ab'oku baana ba Yedusuni, Semaaya ne Wuziyeeri
15 Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe ne beetukuza ne bayingira ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali olw'ekigambo kya Mukama, okulongoosa ennyumba ya Mukama.
16 Bakabona ne bayingira mu luuyi olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama okugirongoosa, ne baggyamu eby'obugwagwa byonna bye baalaba mu yeekaalu ya Mukama, ne babireeta mu luggya olw'ennyumba ya Mukama. Abaleevi ne babiddira okubifulumya ebweru eri akagga Kiduloni.
17 Era ne basookera ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye okutukuza, ne ku unaku olw'omwezi olw'omunaana ne batuuka ku kisasi kya Mukama; ne batukuza ennyumba ya Mukama nu nnaku munaana: ne ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogw'olubereberye ne bamalira ddala.
18 Awo ne balyoka bayiigira eri Keezeekiya kabaka munda v'eriyumba ne boogera nti Tumaze okulongoosa ennyumba ya Mukama yonna n'ekyoto ekiweerwako ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebintu byakyo byonna n'emmeeza ey'emigaati egy'okulaga n'ebintu byayo byonna.
19 Era nate ebintu byoma kabaka Akazi bye yasuula bwe yayonoona nga ye afuga, tubitegese ne tubitukuza; era, laba, biri mu naaso g'ekyoto kya Mukama.
20 Awo Keezeekiya kabaka n'agookoka mu makya, n'akuŋŋaanya ibakulu b'ekibuga, n'ayambuka mu myumba ya Mukama.
21 Ne baleeta ente musanvu n'endiga ennune musanvu n'abaana b'endiga nusanvu n'embuzi ennume musanvu okuba ekiweebwayo olw'ekibi lw'obwakabaka n'olw'ekigwa n'owa Yuda. N'alagira bakabona batabani ba Alooni okubiweerayo M kyoto kya Mukama.
22 Awo ne batta ente, bakabona ne batoola omusaayi, ne bagumansira ku kyoto: ne batta embuzi ennume, ne banansira omusaayi ku kyoto: ne batta n'abaana b'endiga, ne banansira omusaayi ku kyoto.
23 Ne basembeza embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu maaso ga kabaka n'ekibiina; ne baziteekako emikono:
24 bakabona ne bazitta ae bawaayo ekiweebwayo olw'ekibi n'omusaayi gwazo ku kyoto, okutangirira Isiraeri yenna: kubanga zabaka yalagira okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi olwa Isiraeri yenna.
25 N'ateeka Abaleevi mu nnyumba ya Mukama nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Gaadi omulabi wa kabaka n'ekya Nasani nnabbi: kubanga ekiragiro kyava eri Mukama mu bannabbi be.
26 Abaleevi ne bayimirira nga balina ebintu bya Dawudi, ne bakabona nga balina amakondeere.
27 Keezeekiya n'alagira okuweerayo, ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Awo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kyatanula okuweebwayo, era n'oluyimba lwa Mukama ne lutanula, n'amakondeere wamu n'ebintu bya Dawudi kabaka wa Isiraeri.
28 Awo ekibiina kyonna ne basinza abayimbi ne bayimba, n'abafuuwa amakondeere ne bafuuwa; ebyo byonna ne byeyongera okubaawo okutuusa ekiweebwaya ekyokebwa lwe kyaggwaawo.
29 Awo bwe baamalira ddala okuwaayo, kabaka ne bonna abaali bali awo naye ne bavuunama ne basinza.
30 Era nate Keezeekiya kabaka n'abakulu ne balagira Abaleevi okuyimba okutendereza Mukama, mu bigambo bya Dawudi n'ebya Asafu omulabi. Ne bayimba akutendereza n'essanyu ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.
31 Awo Keezeekiya n'addamu n'ayogera nti Kaakano nga mwewonze eri Mukama, musembere muleete ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaliza mu nnyumba ya Mukama. Ekibiina ne bayingiza ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaza; ne bonna abaalina nmutima ogwagala ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.
32 N'omuwendo gw'ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina bye baaleeta gwali ente nsanvu, endiga ennume kikumi, n'abaana b'endiga ebikumi bibiri: ebyo byonna byali bya kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
33 N'ebintu ebyawongebwa byali ente lukaaga n'endiga enkumi ssatu.
34 Naye bakabona ne bayinga obutono ne batayinza kubaaga ebiweebwayo ebyokebwa byonna: baganda baabwe Abaleevi kyebaava babayamba okutuusa omulimu lwe gwaggwaawo era okutuusa bakabona lwe baamala okwetukuza: kubanga Abaleevi baasinga bakabona okuba n'omutima omugolokofu okwetukuza.
35 Era n'ebiweebwayo ebyokebwa byali bingi nnyo n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe n'ebiweebwayo ebyokunywa ebya buli kiweebwayo ekyokebwa. Awo okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama ne kuteekebwateekebwa bwe kutyo.
36 Awo Keezeekiya n'asanyuka n'abantu bonna olw'ekyo Katonda kye yategekera abantu: kubanga ekigambo ekyo baakikolera awo mangu ago.