1 Awo Keezeekiya n'atumira Isiraeri yenna ne Yuda, era n'awandiikira ebbaluwa Efulayimu ne Manase, bajje mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, okukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wa Isiraeri.
2 Kubanga kabaka yali ateesezza ne bakulu be n'ekibiina kyonna ekyali mu Yerusaalemi okukwatira Okuyitako mu mwezi ogw'okubiri.
3 Kubanga tebaayinza kukukwatira mu biro ebyo, kubanga bakabona baali tebannaba kwetukuza abangi ab'okumala, so n'abantu nga tebannakuŋŋaanira e Yerusaalemi.
4 Ekigambo ekyo ne kiba kirungi mu maaso ga kabaka n'ekibiina kyonna.
5 Awo ne bassaawo etteeka okulangira okubuna Isiraeri yenna okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, bajje okukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wa Isiraeri e Yerusaalemi: kubanga tebaakukwatanga abangi ennyo bwe batyo nga bwe kyawandiikibwa:
6 Awo ababaka ne bagenda nga balina ebbaluwa ezaava eri kabaka n'abakulu be okubuna Isiraeri yonna ne Yuda, era ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali, nti Mmwe abaana ba Isiraeri, mukyukire nate Mukama Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, akomewo eri ekitundu kyammwe ekifisseewo ekiwonye mu mukono gwa bakabaka We Bwasuli.
7 So temufaanana bajjajjammwe ne baganda bammwe abaasobyanga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'okuwaayo n'abawaayo eri okuzikirira nga bwe mulaba.
8 Kale mmwe temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali; naye mweweeyo eri Mukama, muyingire mu kigwa kye kye yatukuza emirembe gyonaa, muweereze Mukama Katonda wammwe, ekiruyi kye ekikambwe kikyuke kibaveeko.
9 Kubanga bwe munaakyukira nate Mukama, baganda bammwe n'abaana bammwe baliraba okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, ne bakomawo mu nsi eno: kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa, asaasira, so taakyusenga amaaso ge okubavaako, mmwe bwe munaddanga gy'ali.
10 Awo ababaka ne bayita mu nsi ya Efulayimu n'eya Manase nga babuna ebibuga ne batuuka mu Zebbulooni: naye ne babasekerera nnyo ne babaduulira.
11 Era naye abamu ku Aseri ne Manase ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bajja e Yerusaalemi.
12 Era ne mu Yuda ne muba omukono gwa Katonda okubawa omutima gumu n'okukola ekiragiro kya kabaka n'eky'abakulu olw'ekigambo kya Mukama.
13 Awo abantu bangi ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi okukwata embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa mu mwezi ogw'okubiri, ekibiina kinene nnyo nnyini.
14 Ne bagolokoka ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi n'ebyoto byonna eby'obubaane ne babiggyawo, ne babisuula mu kagga Kidulooni.
15 Awo ne balyoka batta Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'okubiri: bakabona n'Abaleevi ne bakwatibwa ensonyi, ne beetukuza ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama.
16 Ne bayimirira mu kifo kyabwe nga bwe baalagirwa ng'amateeka bwe gali aga Musa omusajja wa Katonda: bakabona na bamansira omusaayi gwe baatoolera mu mukono gw'Abaleevi.
17 Kubanga mu kibiina mwalimu bangi abateetukuzizza: Abaleevi kyebaava balagirwa omulimu ogw'okutta Okuyitako olwa buli muntu ataali mulongoofu, okubatukuza eri Mukama.
18 Kubanga ku bantu bangi nnyo nnyini, bangi ku Efulayimu ne Manase, Isakaali ne Zebbulooni, baali tebeetukuzizza, naye ne bamala galya Okuyitako naye si nga bwe kyawandiikibwa. Kubanga Keezeekiya yali abasabidde ng'ayogera nti Mukama ow'ekisa asonyiwe buli muntu
19 asimba omutima gwe okunoonya Katonda Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, newakubadde nga talongoosebwa ng'okunaazibwa okw'omu kigwa bwe kuli.
20 Awo Mukama n'awulira Keezeekiya, n'awonya abantu.
21 Abaana ba Isiraeri abaali bali awo e Yerusaalemi ne bakwatira embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ennaku musanvu n'essanyu lingi: Abaleevi ne bakabona ne batendereza Mukama buli lunaku, nga bayimba n'ebintu ebivuga ennyo eri Mukama.
22 Keezeekiya n'ayogera ebigambo eby'okusanyusa n'Abaleevi bonna abaalina amagezi mu kuweereza Mukama. Awo ne baliira ennaku omusanvu okumala embaga, nga bawaayo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe, era nga baatulira Mukama Katonda wa bajjajaabwe.
23 Awo ekibiina kyonna ne bateesa ebigambo okukwata ennaku musanvu endala: ne bakwata ennaku musanvu endala n'essanyu.
24 Kubanga Keezeekiya kabaka wa Yuda n'awa ekibiina okuba ebiweebwayo ente lukumi n'endiga kasanvu; n'abakulu ne bawa ekibiina, ente lukumi n'endiga kakumi: ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza.
25 Ekibiina kyonna ekya Yuda wamu ne bakabona n'Abaleevi n'ekibiina kyonna ekyava mu Isiraeri n'abagenyi abaava mu nsi ya Isiraeri n'abatuula mu Yuda ne basanyuka.
26 Awo ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi: kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isiraeri tewabangawo ebifaanana ebyo mu Yerusaalemi:
27 Awo bakabona Abaleevi ne bagolokoka ne basabira abantu omukisa: eddoboozi lyabwe ne liwulirwa, okusaba kwabwe ne kulinnya mu kifo ekitukuvu mw'abeera, mu ggulu.