1 Awo oluvannyuma lw'ebyo n'obwesigwa obwo Senakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ajja n'ayingira mu Yuda, n'asiisira okwolekera ebibuga ebiriko enkomera, n'alowooza okubyeriira.
2 Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng'amaliridde okulwana ne Yerusaalemi,
3 n'ateesa n'abakulu be n'abasajja be ab'amaanyi okuziba amazzi ag'omu nzizi ezaali ebweru w'ekibuga; ne bamuyamba.
4 Awo abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n'akagga akayita wakati mu nsi nga boogera nti Bakabaka b'e Bwasuli okujja ne basanga amazzi amangi lwaki?
5 N'aguma omwoyo n'azimba bbugwe yenna eyali amenyese n'amugulumiza okwenkana n'ebigo, ne bbugwe omulala ebweru, n'anyweza Mirro mu kibuga kya Dawudi, n'akola ebyo kulwanyisa n'engabo bingi nnyo.
6 N'assaawo abaami abalwanyi okufuga abantu, n'abakuŋŋaanyiza gy'alimu kifo ekigazi awali wankaaki w'ekibuga, n'ayogera nabo ebigambo eby'okusanyusa nti
7 Mube n'amaanyi mugume emyoyo, temutya so temukennentererwa olwa kabaka We Bwasuli newakubadde eggye lyonna eriri naye: kubanga waliwo omukulu ali naffe okusinga abali naye:
8 wamu naye waliwo omukono ogw'omubiri; naye wamu naffe waliwo Mukama Katonda waffe okutuyamba n'okulwana entalo zaffe. Abantu ne banywerera ku bigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda.
9 Oluvannyuma lw'ebyo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'atuma abaddu be e Yerusaalemi (era yali ng'ayolekedde Lakisi n'amaanyi ge gonna wamu naye,) eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n'eri Yuda yenna abaali e Yerusaalemi, ng'ayogera nti
10 Bw'atyo bw'ayogera Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli nti Mwesiga ki n'okulinda ne mulinda okuzingizibwa mu Yerusaalemi?
11 Keezeekiya tabasendasenda okubawaayo okufa enjala n'ennyonta, ng'ayogera nti Mukama Katonda waffe alituwonya mu mukono gwa kabaka We Bwasuli?
12 Keezeekiya oyo si ye yaggyawo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'alagira Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasmzizanga mu maaso g'ekyoto ekimu kyokka, era okwo kwe munaayotererezanga obubaane?
13 Temumanyi nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag'omu nsi endala? Bakatonda b'amawanga ag'omu nsi ezo baayinza n'akatono okuwonya ensi zaabwe mu mukono gwange?
14 Katonda ki ku bakatonda bonna ab'amawanga gali bajjajjange ge baazikiririza ddala, eyayinza okuwonya abantu be mu imukono gwange, Katonda wammwe ayinze okubawonya mu mukono gwange?
15 Kale nno Keezeekiya aleme okubalimba newakubadde okubasendasenda bw'atyo, so temumukkiriza: kubanga tewali katonda ow'eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange ne mu mukono gwa bajjajjange: kale okusinga ennyo Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?
16 Abaddu be ne beeyongera okuvuma Multama Katoada a'omuddu we Keezeekiya.
17 Era n'awandiika okuwoola Mukama Katonda wa Isiraeri, n'okumwogerako obubi nti Nga bakatonda b'amawanga ag'omu nsi endala abataawonya bantu baabwe mu mukono gwange, bw'atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw'ataliwonya bantu be mu mukono gwange.
18 Ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya eri abantu ab'e Yerusaalemi abaali ku bbugwe, okubatiisa, n'okubeeraliikiriza; balyoke bamenye ekibuga.
19 Ne boogera ku Katonda ow'e Yerusaalemi nga bamufaananya bakatonda ab'amawanga ag'omu nsi omulimu gw'emikono gy'abantu.
20 Keezeekiya kabaka ne Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi ne basaba olw'ekigambo ekyo ne bakaaba eri eggulu.
21 Mukama n'atuma malayika n'amalawo abasajja bonna ab'amaanyi abazira n'abakulu n'abaami mu lusiisira lwa kabaka w'e Bwasuli. Awo n'addayo mu nsi ye amaaso ge nga gakwatiddwa ensonyi: Awo bwe yatuuka mu ssabo lya katonda we, abo abaava mu ntumbwe ze ye ne bamuttira eyo n'ekitala.
22 Bw'atyo Mukama bwe yawonya Keezeekiya n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli ne mu mukono gw'abalala bonna n'abaluŋŋamya enjuyi zonna.
23 Awo bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, n'ebintu eby'omuwendo omungi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda: n'okugulumizibwa n'agulumizibwa mu maaso g'amawanga gonna okuva ku lunaku olwo.
24 Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa: n'asaba Mukama; n'ayogera naye n'amuwa akabonero.
25 Naye Keezeekiya n'atasasula nate ng'ekisa bwe kyali kye yakolwa; kubanga omutima gwe gwegulumiza: obusungu kyebwava bubeera ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi.
26 Era naye Keezeekiya ne yeetoowaza olw'amalala ag'omutima gwe, ye n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi, obusungu bwa Mukama ne butabatuukako ku mirembe gya Keezeekiya.
27 Era Keezeekiya yalina obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo nnyini: ne yeefunira amawanika aga ffeeza n'aga zaabu n'ag'amayinja ag'omuwendo omungi n'ag'eby'akaloosa n'ag'engabo n'ag'ebintu byonna ebirungi;
28 era n'ennyumba ez'okuterekeramu omwaka ogw'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta: n'ennyumba ez'ebisolo eby'engeri zonna n'amagana mu bisibo.
29 Era ne yeefunira ebibuga n'embuzi n'ente bye yalina bingi nnyo: kubanga Katonda yali amuwadde ebintu bingi nnyo nnyini.
30 Oyo Keezeekiya n'aziba oluzzi olwa waggulu olw'amazzi aga Gikoni, n'agaluŋŋamya okugaserengeseza ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'ekibuga kya Dawudi. Keezeekiya n'alaba omukisa mu mirimu gye gyonna.
31 Naye mu bigambo by'ababaka b'abakulu We Babulooni abaamutumira okubuuza eky'amagero. ekyakolebwa mu nsi, Katonda n'amuleka okumukema alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
32 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Keezeekiya n'ebirungi bye yakola, laba, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi, mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
33 Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika, awalinnyirwa mu masiro ga batabani ba Dawudi: Yuda yenna n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi ne bamussaamu ekitiibwa bwe yafa. Manage mutabani we n'amuddira mu bigere.