1 Amaziya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufnga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: n'eritmya lya nnyina lyali Yekoyadaani ow'e Yerusaalemi:
2 N'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebigolokofu, naye si na mutima ogwatuukirira.
3 Awo olwatuuka obwakabaka bwe bwanywezebwa gy'ali, n'alyoka atta abaddu be abatta kabaka kitaawe.
4 Naye n'atatta baana baabwe, naye n'akola ng'ekyo bwe kiri ekyawandiikibwa mu mateeka ag'omu kitabo kya Musa nga Mukama bwe Yalagira nti Kitaabwe talangibwanga gwa baana be okumutta, so n'abaana tebalangibwanga gwa bakitaabwe okubatta; naye buli muntu alangibwenga okwonoona kwe ye okumutta.
5 Era nate Amaziya n'akuŋŋaanya Yuda, n'abateekateeka ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali nga batwalibwa abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, Yuda yenna ne Benyamini: n'ababala abaakamaze emyaka amaktmu abiri n'okukirawo, n'abalaba nga basajja abalonde obusiriivu busatu, abaayinza okutabaala, abaayinza okukwata effumu n'engabo.
6 Era n'agulirira abasajja ab'amaanyi abazira kasiriivu ng'abaggya mu Isiraeii, olwa talanta eza ffeeza kikumi.
7 Naye ne wajja gy'ali omusajja wa Katonda ng'ayogera nti Ggwe kabaka, eggye lya Isiraeri lireme okugenda naawe; kubanga Mukama taliwamu ne Isiraeri, tali wamu n'abaana bonna aba Efulayimu.
8 Naye bw'onooyagala okugenda, kola eby'obuzira, beera n'amaanyi olw'olutalo: Katonda alikumegga mu maaso g'ahalabe; kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba n'okumegga.
9 Awo Amaziya n'agamba omusajja wa Katonda nti Naye tunaakola tutya olwa talanta ekikumi ze mmaze okuwa eggye lya Isiraeri? Omusajja wa Katonda n'addamu nti Mukama ayinza okukuwa ebisinga ennyo ebyo.
10 Awo Amaziya n'abaawulamu, eggye eryali lizze gy'ali nga livudde mu Efulayimu, okuddayo ewaabwe: obusungu bwabwe kyebwava bubuubuuka ennyo eri Yuda, ne baddayo ewaabwe nga baliko ekiruyi kingi.
11 Awo Amaziya n'aguma omwoyo n'atabaaza abantu be n'agenda mu kiwonvu eky'omunnyo n'atta ku baana ab'oku Seyiri kakumi.
12 Abaana ba Yuda ne bawamba ne batwala kakumi abalala, ne babaleeta waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbanga ly'olwazi, n'okumenyeka ne bamenyeka.
13 Naye abasajja ab'omu ggye Amaziya lye yazzaayo baleme okutabaala naye, ne bagwa ku bibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne battamu enkumi ssatu, ne banyaga omunyago mungi.
14 Awo olwatuuka Amaziya bwe yakomawo ng'asse Abaedomu, n'aleeta bakatonda b'abaana ab'oku Seyiri, n'abasimba okuba bakatonda be, n'avuunama mu maaso gaabwe n'abootereza obubaane.
15 Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka ku Amaziya, n'amutumira nnabbi n'amugamba nti Wagenderanga ki eri bakatonda b'abantu abataawonya bantu baabwe bo mu mukono gwo?
16 Awo olwatuuka bwe yali ng'ayogera naye kabaka n'amugamba nti Twali tukuyingizizza ggwe mu bateesa ne kabaka? lekera awo; wandikubiddwa lwa ki? Awo nnabbi n'alekera awo n'ayogera ati Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza kubanga wakola ekyo n'otowulira kuteesa kwange.
17 Awo Amaziya, kabaka wa Yuda, n'ateesa ebigambo n'atumira Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Jjangu tulabagane n'amaaso.
18 Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Omwennyango ogwali ku Lebanooni gewatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Wa muwala wo mutabani wange amufumbirwe: awo ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni n'eyitawo n'erinnyirira omwennyango.
19 Oyogera nti Laba, okubye Edomu; n'omutima gwo gukugulumizizza okwenyumiriza: obeere nno eka; lwaki okweyingiza mu bitali bibyo n'ofiirwa, n'ogwa, ggwe ne Yuda wamu naawe?
20 Naye Amaziya n'atakkiriza kuwulira; kubanga kyava eri Katonda abagabule mu mukono gw'abalabe baabwe, kubanga baanoonyanga bakatonda ba Edomu.
21 Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atabaala; ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne balabaganira n'amaaso e Besusemesi ekya Yuda.
22 Yuda n'agobebwa mu so ga Isiraeri; ne baddukira buli muntu mu weema ye
23 Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'swambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n'amuleeta e Yerusaalemi n'amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, emikono ebikumi bina.
24 N'anyaga ezaabu n'effeeza yonna n’ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya Katonda wamu ne Obededomu, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, era n'emisingo nabo, n'addayo e Samaliya
25 Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'awangaals emyaka kkumi n'etaano Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri ng'amaze okafa.
26 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya, ebyasooka n'ebyamalirvvako, laba, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri?
27 Era okuva mu biro Amaziya lwe yakyuka obutagoberera Mukama ne bamwekobaana mu Yerusaalemi; n'addukira e Lakisi naye ne batuma e Lakisi okumugoberera ne bamuttira eyo.
28 Ne bamuleetera ku mbalaasi, ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda.