1 Ebigambo bya Yeremiya mutabani wa Kirukiya ow'oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini:
2 eyajjirwa ekigambo kya Mukama mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ogw'okufuga kwe.
3 Era kyajjira ne mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa ku nkomerero y'omwaka ogw'ekkumi na gumu ogwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda: okutuusa ab'e Yerusaalemi lwe baatwalibwa nga basibe mu mwezi ogw'okutaano.
4 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nti
5 Bwe nnali nga sinnakubumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava mu lubuto nakutukuza; nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga.
6 Awo nze ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto.
7 Awo nze ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto.
8 Tobatyanga: kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya, bw'ayogera Mukama.
9 Awo Mukama n'agolola omukono gwe n'akoma ku kamwa kange; Mukama n'aŋŋamba nti Laba, ntadde ebigambo byange mu kamwa ko:
10 laba, leero nkutaddewo okuba omukulu w'amawanga era ow'amatwale ga bakabaka, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza n'okusuula; okuzimba n'okusimba.
11 Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti Yeremiya, olaba ki? Ne njogera nti Ndaba omuggo ogw'omulozi.
12 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Olabye bulungi: kubanga ndabirira ekigambo kyange okukituukiriza.
13 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira omulundi ogw'okubiri nga kyogera nti Olaba ki? Ne njogera nti Ndaba entamu eyeesera; n'amaaso gaayo gayima obukiika obwa kkono.
14 Awo Mukama n'annamba nti Okuyima obukiika obwa kkono obubi bulifubutukira ku bonna abali mu nsi.
15 Kubanga, laba, ndiyita ebika byonna eby'amatwale ga bakabaka b'obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama; era balijja ne basimba buli muntu entebe ye awayingirirwa mu miryango gya Yerusaalemi n'okwolekera bbugwe waayo yenna enjuyi zonna n'okwolekera ebibuga byonna ebya Yuda.
16 Era ndyatula emisango gyange eri bo olw'obubi bwabwe bwonna; kubanga bandese ne booteza obubaane eri bakatonda abalala, ne basinza emirimu egy'engalo zaabwe bo.
17 Kale nno weesibe ekimyu oyimuke obagambe byonna bye nkulagira: tokeŋŋentererwanga eri bo, nneme okukukeŋŋenterera mu maaso gaabwe.
18 Kubanga, laba, nkufudde leero ekibuga ekiriko enkomera, era empagi ey'ekyuma, era bbugwe ow'ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakulu baayo, eri bakabona baayo, n'eri abantu ab'omu nsi.
19 Era balirwana naawe; naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukuwonya.