Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Yeremiya Jeremiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52
1 Ekigambo Mukama kye yayogera ekifa ku Babulooni, eky'ensi ey'Abakaludaaya, mu Yeremiya nnabbi.
2 Mubuulire mu mawanga, mulangirire, musimbe ebendera; mulaalike, so temukisa: mwogere nti Babulooni kimenyeddwa, Beri akwatiddwa ensonyi, Merodaaki akennentereddwa; ebifaananyi byakyo bikwatiddwa ensonyi, esanamu zaakyo zikeŋŋentereddwa.
3 Kubanga mu bukiika obwa kkono evaayo eggwanga okukitabaala, erizisa ensi yaakyo, so tewaliba alibeera omwo: badduse, bagenze, abantu era n'ensolo.
4 Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, abaana ba Isiraeri balijja, bo n'abaana ba Yuda wamu; balikwata ekkubo lyabwe nga bakaaba amaziga, era balinoonya Mukama Katonda waabwe.
5 Balibuuza ebya Sayuuni, amaaso gaabwe nga gatunulayo, nga boogera nti Mujje mwegatte ne Mukama nga mulagaanye endagaano eteriggwaawo eteryerabirwa.
6 Abantu bange baabanga ndiga ezaabula: abasumba baabwe baabawabya, baabakyamiza ku nsozi: baavanga ku lusozi ne bagendanga ku kasozi, beerabidde ekifo kyabwe eky'okuwummuliramu.
7 Bonna abaabalaba babalidde: n'abalabe baabwe ne boogera nti Tetwonoona kubanga bo basobezza Mukama, omubeera obutuukirivu, Mukama essuubi lya bajjajjaabwe.
8 Mudduke muve wakati mu Babulooni, muve mu nsi ey'Abakaludaaya, mubeere ng'embuzi emmandwa mu maaso g'ebisibo.
9 Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky'amawanga amakulu ne mbatabaaza Babulooni okuva mu nsi ey'obukiika obwa kkono: era balisimba ennyiriri okulwana nakyo; kiriggibwa eyo: obusaale bwabwe buliba ng'obw'omusajja ow'amaanyi omukabakaba; tewaliba alidda obusa.
10 Kale Obukaludaaya buliba munyago: bonna ababunyaga balikkuta, bw'ayogera Mukama.
11 Kubanga musanyuse, kubanga mujaguza, mmwe abanyaga obusika bwange, kubanga muligita ng'ente enduusi ewuula, ne mufugula ng'embalaasi ez'amaanyi;
12 nnyammwe alikwatibwa ensonyi nnyingi nnyo; eyabazaala aliswala: laba, aliba wa nkomerero mu mawanga, olukoola, ensi enkalu, n'eddungu.
13 Olw'obusungu bwa Mukama kyeriva erema okutuulwamu, naye erirekerwawo ddala: buli ayita ku Babulooni alisamaalirira n'asooza ebibonoobono byakyo byonna.
14 Musimbe ennyiriri okulwana ne Babulooni enjuyi zonna, mmwe mwenna abanaanuula omutego; mukirase, temusaasira busaale: kubanga kyayonoona Mukama.
15 Mukireekaanireko enjuyi zonna; kijeemulukuse; amakomera gaakyo gagudde, babbugwe baakyo basuuliddwa: kubanga lye ggwanga Mukama ly'awalana; mukiwalaneko eggwanga; nga bwe kyakolanga mukikole bwe mutyo.
16 Mumaleewo asiga mu Babulooni, n'oyo akwata ekiwabyo mu biro eby'okukunguliramu: olw'okutya ekitala ekijooga balikyukira buli muntu eri abantu b'ewaabwe, era baliddukira buli muntu mu nsi y'ewaabwe.
17 Isiraeri ndiga ewabye; empologoma zimugobye kabaka w’e Bwasuli ye yasooka okumulya; ne Nebukadduleeza ono kabaka w’e Babulooni ye w'enkomerero, amenye emagumba ge.
18 Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n'ensi ye nga bwe nnabonereza kabaka w’e Bwasuli.
19 Era ndikomyawo Isiraeri nate mu ddundiro lye, era aliriira ltu Kalumeeri ne Basani, n'emmeeane ye erikkutira ku nsozi za Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
20 Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, obutali butuukirivu bwa Isiraeri balibunoonya so nga tewali; n'ebibi bya Yuda, stebirirabika: kubanga ndisonyiwa abo be ndireka okuba ekitundu ekifisseewo.
21 Tabaala ensi y'e Merasayimu. gy'oba otabaala, n'abo abali mu Pekodi: otte ozikiririze ddala ennyuma waabwe, bw'ayogera Mukama, okole nga byonna bwe biri bye nnakulagira.
22 Eddoboozi ery'entalo liri mu nsi n'ery'okuzikirira okunene.
23 Ennyondo ey'ensi zonna ng'etemeddwa ng'emenyese! Babulooni nga kifuuse amatongo mu mawanga!
24 Nakutegera omutego, n'okukwatibwa okwatiddwa, ai Babulooni, so tewamanyirira: olabise n'okukwatibwa okwatiddwa, kubanga wawakana ne Mukama.
25 Mukama asumuludde etterekero ly'ebyokulwanyisa bye, era aggyeemu ebyokulwanyisa eby'okunyiiga kwe: kubanga Mukama, Mukama w'eggye, alina omulimu gw'agenda okukola mu nsi ey'Abakaludaaya.
26 Mukama asumuludde etterekero ly'ebyokulwanyisa bye, era aggyeemu ebyokulwanyisa eby'okunyiiga kwe: kubanga Mukama, Mukama w'eggye, alina omulimu gw'agenda okukola mu nsi ey'Abakaludaaya.
27 Mujje mukirumbe nga muva ku nsalo ekomererayo, musumulule amawanika gaakyo: mukituume nga bifunvu, mukizikiririze ddala: waleme okubaawo ekintu ekisigala ku kyo.
28 Eddoboozi ly'abo abadduka ne bawona mu nsi y'e Babuloomi, okubuulira mu Sayuuni eggwanga Mukama Katonda waffe ly'aliwalana, ly'aliwalana olwa yeekaalu ye.
29 Muyite abalasi bakuijnaane balumbe Babulooni, abo bonna abanaanuula omutego, musiisire okukyolekera enjuyi zonna; waleme okuba aliwona ku kyo: musasule ng'omulimu gwakyo bwe gwali; nga byonna bwe biri bye kyakolanga, bwe mutyo mukikolanga: kuba.nga yabanga wa malala eri Mukama, eri Omutukuvu owa Isiraeri.
30 Abalenzi baakyo kye aliva bagwira mu nguudo zaakyo, abasajja baakyo bonna abalwanyi alisirisibwa ku lunaku olwo, bw'aogera Mukama.
31 Laba, ndi mulabe wo, ai ggwe alina amalala, bw'aogera Mukama, Mukama w'eggye: banga olunaku lwo lutuuse, ekiseera mwe nnaakujjirira
32 Alina amalala alyesittala n'agwa, so tewaliba alimuyimusa; era ndikuma omuliro mu bibuga bye, era gulyokya bonna abamwetoolodde.
33 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda babajoogera wamu: n'abo bonna abaabatwala okuba abasibe babanywezezza; bagaanyi okubata.
34 Omununuzi waabwe wa maanyi; Mukama w'eggye lye linnya lye: aliwoleza ddala ensongi yaabwe, alyoke awummuze ensi, era yeeraliikirize abo abali mu Babulooni.
35 Ekitala kiri ku Bakalu daaya, bw'ayogera Mukama, m ku abo abali mu Babulooni ne ki bakungu baamu ne ku bagezigezi baamu.
36 Ekitala kiri ku abo abeenyumiriza, era balisiruwala: eki tala kiri ku basajja baamu ab'a maanyi, era balikeŋŋentererwa.
37 Ekitala kiri ku mbalaasi zaabwe ne ku magaali gaabwe ne ku bantu bonna abaatabulwa abali wakati mi kyo, era balifuuka ng'abakazi; ekitala kiri ku bintu byamu eby'obugagga, era birinyagibwa.
38 Ekyanda kiri ku mazzi gaamu, era galikalira: kubanga nsi ya bifaananyi byole, era balalukidde esanamu.
39 Ensolo ez'omu nsiko ez'omu ddungu kyezinaavanga zibeera eyo ne bamaaya banaabeeranga omwo so tekiibeerwengamu nate ennaki zonna; so tekiituulwengamu emi rembe n'emirembe.
40 Nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo bw'ayogera Mukama; bwe kityo tewaabenga muntu anaatuulanga eyo, so tewaabenga mwana wa muntu anaabeeranga omwo.
41 Laba, eggwanga liva obukiik: obwa kkono; era ekika ekikulu, eri bakabaka bangi abaliyimusibwa okuva ku njuyi z'ensi ezikomererayo
42 Bakwata omutego n'effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liwuuma ng'ennyanja era beebagala embalaasi; buli muntu ng'atala ng'omuntu bw'atalira olu talo, okulwana naawe, ai omuwal wa Babulooni.
43 Kabaka w’e Babulooni awulidde ettutumo lyabwe emikono gye ne giddirira: obubalagaze bumukutte n'obulumi ng'omukazi alumwa okuzaala.
44 Laba, alirinnya ng'empologoma eva ku malala ga Yoludaani, okulumba ekifo eky'amaanyi eky'okubeeramu naye ndikibaddusa mangu ago; eri buli alirondebwa, oyo gwe ndikuza ku kyo: kubanga ani afaanana nze era ani alinteekerawo ekiseera? eri ani omusumba aliyimirira mu maasa gange?
45 Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw'ateeseza ku Babulooni; n'ebyo by'amaliridde eri ensi ey'Abakaludaaya: Tebalirema kubawalula okubaggyayo, abaana bato ab'omu kisibo; talirema kulekesaayo ekifo kyabwe eky'okubeeramu wamu nabo.
46 Olw'eddoboozi y'okumenya Babulooni ettaka likankana, n'okukaaba kuwuliddwa mu mawanga.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]