Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Yeremiya Jeremiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52
1 Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ng'ayogera nti
2 Nkwegayiridde, tubuulize eri Mukama; kubanga Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni atutabaala: mpozzi Mukama anaatukola ng'ebikolwa bye byonna eby'ekitalo bwe biri, atuveeko.
3 Awo Yeremiya n'abagamba nti Bwe muti bwe muba mugamba Zeddekiya nti
4 Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndizza ennyuma ebyokulwanyisa ebiri mu mikono gyammwe bye mulwanyisa ne kabaka w'e Babulooni n'Abakaludaaya ababazingiza, abali ebweru wa bbugwe, era ndibakuŋŋaanyiza wakati mu kibuga kino.
5 Nange mwene ndirwana nammwe n'engalo ezigoloddwa n'omukono ogw'amaanyi, nga ndiko obusungu n'ekiruyi n'obukambwe obungi.
6 Era nditta abali mu kibuga kino, abantu era n'ensolo: balifa kawumpuli mungi.
7 Awo oluvannyuma, bw'ayogera Mukama, ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abaddu be n'abantu, abo kawumpuli n'ekitala n'enjala be byafissaawo mu kibuga muno, mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ne mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: era alibatta n'obwogi bw'ekitala; talibasonyiwa so talibakwatirwa kisa so talisaasira.
8 Era ogambanga abantu bano ati Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, nteeka miz maaso gammwe ekkubo ery'obulamu n'ekkubo ery'okufa.
9 Abeera mu kibuga muno alifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli: naye oyo avaamu n'asenga Abakaludaaya abaabazingiza ye aliba omulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali.
10 Kubanga ntadde amaaso gange ku kibuga kino okukireetako obubi so si bulungi, bw'ayogera Mukama: kirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, naye alikyokya omuliro.
11 N'eby'ennyumba ya kabaka wa Yuda, muwulire ekigambo kya Mukama:
12 Mmwe ennyumba ya Dawudi, bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mutuukirizenga emisango enkya, era muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi, ekiruyi kyange kireme okutambula ng'omuliro ne kyokya ne wataba ayinza okukizikiza, olw'obubi obw'ebikolwa byammwe.
13 Laba, ndi mulabe wo, ai ggwe abeera mu kiwonvu n'awali olwazi olw'omu lusenyi, bw'ayogera Mukama; mmwe aboogera nti Ani aliserengeta okututabaala? oba ani aliyingira mu nnyumba zaffe?
14 era ndibabonereza ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama: era ndikumira omuliro mu kibira kyakyo, era gulyokya byonna ebikyetoolodde.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]