1 Mukama yanjolesa, era, laba, ebibbo bibiri eby'ettiini ebiteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama; Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ng'amaze okutwala nga musibe Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'abakungu ba Yuda wamu ne bafundi n'abaweesi okubaggya mu Yerusaalemi, era ng'abatutte e Babulooni.
2 Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nnungi nnyo, ng'ettiini ezisooka okwengera: n'ekibbo eky'okubiri kyalimu ettiini mbi nnyo ezitaliika, kubanga zaayinga obubi.
3 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Olaba ki, Yeremiya? Ne njogera nti Ttiini; ettiini ennungi nnungi nnyo; n'embi mbi nnyo ezitaliika, kubanga ziyinga obubi.
4 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
5 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Ng'ettiini zino ennungi, bwe ntyo bwe ndirowooza abasibe ba Yuda, be nnasindiikiriza okuva mu kifo kino okugenda mu nsi ey'Abakaludaaya, olw'obulungi.
6 Kubanga nditeeka amaaso gange ku bo olw'obulungi, era ndibakomyawo nate mu nsi eno: era ndibazimba so siribaabya; era ndibasimba so siribasimbula.
7 Era ndibawa omutima okummanya nga ndi Mukama: era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe: kubanga balikomawo gye ndi n'omutima gwabwe gwonna.
8 Era ng'ettiini embi ezitaliika, kubanga ziyinga obubi; mazima bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be n'abafikkawo ku Yerusaalemi abaasigala mu nsi eno n'abo abali mu nsi y'e Misiri:
9 ndibagabula okuyuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka bwe zenkana olw'obubi; okuba ekivume n'olugero n'ekikiino n'ekikolimo mu bifo byonna gye ndibagobera.
10 Era ndiweereza ekitala n'enjala ne kawumpuli mu bo okutuusa lwe balimalibwawo okuva ku nsi gye nnawa bo ne bajjajjaabwe.