1 Muddukane eruuyi n'eruuyi mu nguudo ez'e Yerusaalemi, mulabe nno, mumanye, munoonyeze mu bifo byamu ebigazi oba nga munaayinza okulaba omuntu, oba nga waliwo n'omu akola eby'ensonga, anoonya amazima; kale naakisonyiwa.
2 Era ne bwe boogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, mazima balayira bya bulimba.
3 Ai Mukama, amaaso go tegatunuulira mazima? obakubye, naye ne batanakuwala; obamazeewo, naye bagaanyi okubuulirirwa: bakakanyazizza amaaso gaabwe okukira olwazi; bagaanyi okudda.
4 Awo ne njogera nti Mazima bano baavu: basirusiru; kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama newakubadde omusango gwa Katonda waabwe:
5 neegendera eri abakulu ne njogera nabo; kubanga bo bamanyi ekkubo lya Mukama, n'omusango gwa Katonda waabwe. Naye abo bamenye ekikoligo n'omwoyo gumu ne bakutula ebisiba.
6 neegendera eri abakulu ne njogera nabo; kubanga bo bamanyi ekkubo lya Mukama, n'omusango gwa Katonda waabwe. Naye abo bamenye ekikoligo n'omwoyo gumu ne bakutula ebisiba.
7 Nnyinza nrya okukusonyiwa? abaana bo banvuddeko, ne balayira abo abatali bakatonda: bwe nabaliisa okukkuta ne bayenda, ne bakuŋŋaanira ku nnyumba z'abakazi ab'enzi ebibiina.
8 Baali ng'ezbalaasi ezaaliisibwa enkya: buli nuntu ng'abebera mukazi wa munne.
9 Siribonereza olw'ebyo? bw'ayogera Mukama: era emmeeme ange teriwalana ggwanga ku ku ggwanga erifaanana bwe lityo?
10 Mulinnye ku bbugwe waakyo, zuzikirize; naye temukomekkereeza ddala: muggyeewo amatabi gaakyo: kubanga si ga Mukama.
11 Kubanga ennyumba ya Isiraeri ennyumba ya Yuda bankuusizzakuusizza nnyo nnyini, bw'ayogera Mukama.
12 Beegaanyi Mukama e boogera nti Si ye; so obubi tebulitujjira; so tetuliraba kitala ewakubadde enjala:
13 ne bannabi balifuuka mpewo, so n'ekigambo tekiri mu bo: bwe balikolebwa bwe atyo.
14 Mukama Katonda ow'egye kyava ayogera nti Kubanga mwogera ekigambo ekyo, laba, ndizula ebigambo byange mu kamwa ko okuba omuliro n'abantu bano kuba enku, era gulibookya.
15 Laba, ndireeta ku mmwe eggwaga eririva ewala, mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama: gwanga lya maanyi, ggwanga lya dda, eggwanga ly'otomanyiiko olumi lwalyo so totegeera bye boogera.
16 Omufuko gwabwe ntaana eyasaamiridde, bonna basajja ba maanyi.
17 Omufuko gwabwe ntaana eyaiamiridde, bonna basajja ba maanyi.
18 Era naye ne mu biro ebyo, bw'aogera Mukama, sirikomekkerereza dala gye muli.
19 Awo olulituuka bwe mulyogera nti Mukama Katonda waffe kiki ekimukozezza ffe byo byonna? kale n'olyoka obaamba nti Nga mmwe bwe munvuddeko ne muweerereza bakatonda bannaggwanga mu nsi yammwe, bwe mutyo bwe munaaweererezanga bannaggwanga mu nsi eteri yammwe.
20 Mubuulirire kino mu nnyumba ya Yakobo, mukirangirire mu Yuda, nti
21 Muwulire nno kino, mmwe abantu abasirusiru era abatalina kutegeera; abalina amaaso ne mutalaba; abalina amatu ne muta wulira:
22 temuntya? bw'ayogera Mukama: temuukankanire kujja kwange, eyateeka omusenyu okuba ensalo y'ennyanja olw'ekiragiro ekitaliggwaawo, n'okuyinza n'eteyinza kugusukkako? era amayengo gaayo ne bwe geesuukunda, naye tegayinza kuwangula; ne bwe gawuuma, naye tegayinza kugusukkako.
23 Naye abantu bano balina omutima omuwaganyavu era omujeemu; bajeemye bagenze.
24 So teboogera mu mutima gwabwe nti Tutye nno Mukama Katonda waffe awa enkuba, ddumbi ne ttoggo, mu ntuuko zaayo; atuterekera sabbiiti ez'ebikungulwa ezaateekebwawo.
25 Obutali butuukirivu bwammwe bwe busindise ebyo, n'ebibi byammwe bye bibaziyiriza ebirungi.
26 Kubanga mu bantu bange mulabika abasajja ababi: balabirira ng'abatezi b'ennyonyi bwe batega; batega omutego, bakwasa bantu.
27 Ng'ekiguli bwe kijjula ennyonyi, ennyumba zaabwe bwe zijjula bwe zityo obulimba: kyebavudde bafuuka abakulu ne bagaggawala.
28 Bagezze, banyiridde: weewaawo, basukkiriza ebikolwa eby'obubi: tebalowooza nsonga, ensonga y'atalina kitaawe, balyoke balabe omukisa; so tebasalira baavu musango gwabwe.
29 Siribonereza olw'ebyo? bw'ayogera Mukama: emmeeme yange teriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?
30 Ekigambo eky'ekitalo era eky'ekivve kituukiridde mu nsi;
31 bannabbi balagula bya bulimba, ne bakabona bafuga ku lw'abo; n'abantu bange baagala kibeere bwe kityo: era mulikola ki ku nkomerero y'ebyo?