1 Omutwe gwange singa gubadde mazzi, n'amaaso gange singa luzzi lwa maziga, nkaabirenga emisana n'ekiro abo abattiddwa ab'omuwala w'abantu bange!
2 Singa mbadde n'ekisulo eky'abatambuze mu ddungu; ndeke abantu bange mbaveeko! kubanga bonna benzi, ekibiina eky'abasajja ab'enkwe.
3 Era banaanuula olulimi lwabwe ng'omutego gwabwe olw'okulimba; era bafuuse ba maanyi mu nsi, naye si lwa mazima: kubanga baava mu bubi okweyongera mu bubi, so tebammanyi nze, bw'ayogera Mukama.
4 Mwekuumenga buli muntu munne, so temwesiganga wa luganda yenna: kubanga buli ow'oluganda aliriira ddala muganda we, na buli munne alitambulatambula ng'awaayiriza.
5 Era balirimba buli muntu munne, so tebalyogera bya mazima: bayigirizza olulimi lwabwe okwogera eby'obulimba; beekooya nga bakola ebitali bya butuukirivu.
6 Ekifo ky'obeeramu kiri wakati mu bulimba; olw'obulimba kyebava bagaana okummanya, bw'ayogera Mukama.
7 Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibasaanuusa ne mbakema; kubanga nandikoze ntya olw'omuwala w'abantu bange?
8 Olulimi lwabwe kasaale akatta; lwogera eby'obulimba: wabaawo ayogera ne munne eby'emirembe n'akamwa ke, naye amuteega mu mutima gwe.
9 Siribabonereza olw'ebyo? bw'ayogera Mukama: emmeeme yange teriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?
10 Nditanula okukaaba amaziga n'okukungubaga olw'ensozi, n'okwesaasaabaga olw'amalundiro ag'omu ddungu, kubanga gookeddwa, ne wataba ayitamu; so n'abantu tebawulira kuŋooŋa kwa nte; ennyonyi ez'omu bbanga era n'ensolo zidduse, zigenze.
11 Era ndifuula Yerusaalemi okuba ebifunvu, ekisulo eky'ebibe; era ndifuula ebibuga bya Yuda okuba amatongo awatali abituulamu.
12 Omugezigezi ye ani ayinza okutegeera kino? era ani oyo akamwa ka Mukama gwe koogedde naye, akinnyonnyole? ensi ebulidde ki n'eggya ng'eddungu, ne wataba ayitamu?
13 Era Mukama ayogera nti Kubanga balese amateeka gange ge nnateeka mu masso gaabwe so tebagondedde ddoboozi lyange so tebatambulidde omwo;
14 naye ne batambula ng'obukakanyavu bwe buli obw'omutima gwabwe bo n'okugoberera Babaali bajjajjaabwe be baabayigiriza:
15 Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibaliisa abantu bano abusinso ne mbanywesa amazzi ag'omususa:
16 Era ndibasaasaanyiza mu mawanga, ge batamanyanga bo newakubadde bajjajjaabwe: era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndimala okubazikiriza.
17 Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mulowooze, muyite abakazi abakungubazi, bajje; era mutumye abakazi abakabakaba, bajje;
18 era banguwe batanule okutukubira ebiwoobe, amaaso gaffe gakulukute amaziga, n'ebikowe byaffe bitiiriike amazzi.
19 Kubanga eddoboozi ery'ebiwoobe liwulirwa nga liva mu Sayuuni nti Nga tunyagiddwa! tuswadde nnyo, kubanga twaleka ensi, kubanga basudde ennyumba zaffe.
20 Naye muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakazi, n'okutu kwammwe kukkirize ekigambo eky'omu kamwa ke, muyigirize abawala bammwe okukuba ebiwoobe, na buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
21 Kubanga okufa kulinnye mu bituli byaffe, kuyingidde mu mayu gaffe; okumalawo abaana ebweru, n'abalenzi mu nguudo.
22 Mwogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Emirambo gy'abasajja girigwa ng'obusa ku ttale ebweru, era ng'ekinywa ekiri ennyuma w'omukunguzi, so tewaliba aligironda.
23 Bw'ati bw'ayogera Mukam nti Omugezigezi teyeenyumirizang: olw'amagezi ge, so n'ow'amaany teyeenyumirizanga olw'amaanyi ge so n'omugagga teyeenyumirizanga olw'obugagga bwe:
24 naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga olwE kino, ng'ategeera era ng'amanyi nze nga ndi Mukama akola eby'ekisa n'eby'ensonga n'eby'obutuukirivu mu nsi: kubanga ebyo bye nsanyukira, bw'ayogera Mukama.
25 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndibonereza abo bonna abakomolwa mu butakomolwa bwa bwe.
26 Misiri ne Yuda ne Edomu n'abaana ba Amoni ne Mowaabu ne bonna abamwa oluge, ababeera mu ddungu: kubanga amawanga gonna si makomole, n'ennyumba yonna eya Isiraeri si bakomole mu mutima gwabwe.