Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Yeremiya Jeremiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52
1 Ekibi kya Yuda kyawandiikibwa n'ekkalaamu ey'ekyuma ejjinja erya alimasi essongovu: kyayolebwa ku kipande eky'omutima gwabwe, ne ku mayembe g'ebyoto byammwe;
2 abaana baabwe nga bwe bajjukira ebyoto byabwe ne Baasera baabwe awali emiti egimera ku nsozi empanvu.
3 Ai olusozi lange oluli mu nnimiro, ndigabula ebintu byo n'obugagga bwo bwonna okuba omunyago, n'ebifo byo ebigulumivu olw'okwonoona, mu nsalo zo zonna.
4 Naawe olivaamu ku bubwo wekka mu busika bwo bwe nnakuwa; era ndikuweerezesa abalabe bo mu nsi gy'otomanyi: kubanga mukumye omuliro mu busungu bwange obunaabuubuukanga emirembe gyonna.
5 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Akolimiddwa omusajja oyo eyeesiga abantu, n'afuula omubiri okuba omukono gwe, n'omutima gwe guva ku Mukama.
6 Kubanga alifaanana omwoloola oguli mu ddungu, so taliraba ebirungi bwe birijja; naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey'omuunyo so eteriimu bantu.
7 Alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, era Mukama lye ssuubi lye.
8 Kubanga aliba ng'omuti ogwasimbibwa awali amazzi, ne gulanda emmizi gyagwo awali omugga, so tegulitya musana bwe gwaka ennyo, naye amalagala gaagwo galiyera; so tegulyeraliikiririra mu mwaka ogw'ekyeya, so tegulirekayo kubala bibala.
9 Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumaaya?
10 Nze Mukama nkebera omutima, nkema emmeeme, okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa bye.
11 Ng'enkwale bw'ekuŋŋaanya obwana bw'etezaalanga, bw'atyo bw'abeera oyo afuna obugagga so si lwa mazima; ennaku ze nga zikyali za kitundu bulimuvaako, ne ku nkomerero ye aliba musirusiru.
12 Ekifo eky'awatukuvu waffe ye ntebe ey'ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.
13 Ai Mukama, essuubi lya Isiraeri, bonna abakuvaako balikwatibwa ensonyi; abansenguka baliwandiikibwa ku ttaka, kubanga bavudde ku Mukama, oluzzi olw'amazzi amalamu.
14 Mponya, ai Mukama, kale lwe nnaawona; ndokola, kale lwe nnaalokoka: kubanga ggwe oli ttendo lyange.
15 Laba, bannamba nti Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa? kijje nno.
16 Nze ku bwange seeyuna obutaba musumba ennyuma wo; so seegombanga olunaku olw'okulabiramu ennaku; ggwe omanyi: ekyava mu mimwa gyange kyabanga mu maaso go.
17 Tobeera atiisa gye ndi: ggwe oli buddukiro bwange ku lunaku olw'okulabiramu obubi.
18 Bakwatibwe ensonyi abo abanjigganya, naye nze nneme okukwatibwa ensonyi; bo baketinentererwe, naye nze nneme okukeŋŋentererwa: baleeteko olunaku olw'okulabiramu obubi, obazikirize okuzikirira okw'emirundi ebiri.
19 Bw'ati Mukama bwe yannamba nti Genda oyimirire mu mulyango ogw'abaana b'abantu, bakabaka ba Yuda. mwe bayingirira era mwe bafulumira ne mu miryango gyonna egy'e Yerusaalemi;
20 obagambe nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bakabaka ba Yuda, ne Yuda yenna ne bonna abali mu Yerusaalemi, abayingirira mu miryango gino:
21 bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mwekuume muleme okusituliranga ku lunakulwassabbiiti omugugu gwonna, so temuguyingirizanga mu miryango egy'e Yerusaalemi;
22 so temuggyanga mugugu mu nnyumba zammwe ku lunaku olwa ssabbiiti, so temukolanga mulimu gwonna : naye mutukuzanga olunaku olwa ssabbiiti nga bwe nnalagira bajjajjammwe;
23 naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe baleme okuwuIira era baleme okukkiriza okuyigirizibwa.
24 Awo olulituuka, bwe munaanyiikiranga okumpulira, bw'ayogera Mukama, obutaleetanga mugugu gwonna okuguyisa mu miryango gy'ekibuga kino ku lunaku olwa ssabbiiti, naye bwe munaatukuzanga olunaku olwa ssabbiiti obutalukolerangako mulimu gwonna;
25 kale mu miryango gy'ekibuga kino munaayingirangamu bakabaka n'abalangira abatudde ku ntebe ya Dawudi, nga bali ku magaali era nga beebagadde embalaasi, bo n'abakungu baabwe, abasajja ba Yuda n'abaliba mu Yerusaalemi: n'ekibuga kino kinaabanga kya lubeerera.
26 Era balijja nga bavudde mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemi ne mu nsi ya Benyamini ne mu nsi ey'ensenyi ne ku nsozi ne mu bukiika obwa ddyo, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka n'ebitone n'omugavu, era nga baleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama.
27 Naye bwe mutampulirenga okutukuza olunaku olwa ssabbiiti, obutatwalanga mugugu newakubadde okuyingiriranga mu miryango gy'e Yerusaalemi ku lunaku olwa sabbiiti; kale ndikumira omuliro mu miryango gyakyo, era gulyokya amayumba ag'e Yerusaalemi, so tegulizikizibwa.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]