Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Yeremiya Jeremiah

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52
1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Genda oyogerere waggulu mu matu ga Yerusaalemi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkujjuukirira ku kisa eky'omu buto bwo, okwagala okw'okwogerezebwa kwo; bwe wangoberera mu ddungu mu nsi etaalimu bisige.
3 Isiraeri yali butukuvu eri Mukama, ebibala ebibereberye eby'oku kyengera kye: bonna abamulya baliyitibwa abazzizza omusango: obubi bulibatuukako, bw'ayogera Mukama.
4 Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe ennyumba ya Yakobo, n'ebika byonna eby'ennyumba ya Isiraeri:
5 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Butali butuukirivu ki bajjajjammwe bwe baalaba mu nze n'okugenda bagenze wala okunvaako, ne batambula okugoberera obutaliimu ne bafuuka abataliimu?
6 So tebayogera nti Mukama ali ludda wa eyatuggya mu nsi y'e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey'amalungu n'obunnya, mu nsi ey'ennyonta n'ey'ekisiikirize eky'okufa, mu nsi omuntu yenna gy'atayitamu, so n'omuntu yenna mw'atabeera?
7 Ne mbaleeta mu nsi ey'ekyengera, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu; naye bwe mwayingira ne mwonoona ensi yange, ne mufuula obusika bwange okuba omuzizo.
8 Bakabona tebayogera nti Mukama ali ludda wa? n'abo abatogaatoga amateeka tebammanya: era n'abakungu ne bansobya, bannabbi ne balagula ku lwa Baali ne batambula nga bagoberera ebitaliiko kye bigasa.
9 Kyennaava neeyongera okuwoza nammwe, bw'ayogera Mukama, era ndiwoza n'abaana b'abaana bammwe.
10 Kubanga muwunguke mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe; mutume e Kedali, mwetegereze nnyo; mulabe oba nga waali wabaddewo ekigambo ekyenkana awo.
11 Waliwo eggwanga eryawaanyisa bakatonda baabwe, abatali bakatonda naye? naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe olw'ekyo ekitaliiko kye kigasa.
12 Samaaliririra ekyo, ggwe eggulu, otye ekitatiika, owuubaale nnyo, bw'ayogera Mukama.
13 Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri; bandese nze oluzzi olw'amazzi amalamu, ne beesimira ebidiba, ebidiba ttanka z'omu ttaka, ebitayinza kubaamu mazzi.
14 Isiraeri muddu? muddu eyazaalibwa mu nnyumba? kiki ekimufudde omuyiggo?
15 Empologoma ento zimuwulugumiddeko ne zivuuma: ne zizisa ensi ye; ebibuga bye byokereddwa ddala awatali abituulamu.
16 Era abaana ba Noofu ne Tapanesi bamenye obwezinge bwo.
17 Teweereeseeko ekya kubanga olese Mukama Katonda wo, bwe yakulur3tlamiza mu kkubo?
18 Kale nno ofaayo ki mu kkubo erigenda e Misiri okunywa amazzi ga Sikoli? oba ofaayo ki mu kkubo erigenda e Bwasuli, okunywa amazzi ag'Omugga?
19 Obubi bwo ggwe bulikubuulirira, n'okuseeseetuka kwo kulikunenya: kale manya olabe nga kigambo kibi era kya bubalagaze, kubanga olese Mukama Katonda wo, era ng'entiisa yange teri mu ggwe, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
20 Kubanga obw'edda namenya ekikoligo kyo, ne nkutula ebisiba byo; n'oyogera nti Sijja kuweereza; kubanga wakutama ku buli lusozi oluwamvu ne wansi wa buli muti omubisi nga weefuula omwenzi.
21 Era naye nali nkusimbye muzabbibu mulungi, ensigo ey'amazima ameereere: kale ofuuse otya gye ndi omuti ogwayonooneka ogw'omuzabbibu ogw'omu kibira?
22 Kubanga newakubadde ng'onaaba n'oluvu n'okozesa ne sabbuuni mungi, naye obutali butuukirivu bwo bulambiddwa mu maaso gange, bw'ayogera Mukama Katonda.
23 Oyinza otya okwogera nti Soonoonese, siigobereranga Babaali? laba ekkubo lyo mu kiwonvu, otegeere bye wakola; oli ŋŋamira ya mbiro ng'eyitaayita mu makubo gaayo;
24 entulege eyamanyiira amalungu ekonga empewo nga yeegomba; mu kiseera kyayo ani ayinza okugikyusa? zonna eziginoonya teziryekooya; zinaagirabira mu mwezi gwayo.
25 Ziyiza ekigere kyo oleme okuba atalina ngatto, n'omumiro gwo oleme okulakasira ennyonta; naye n'oyogera nti Tewali ssuubi nedda; kubanga njagadde bannaggwanga, era be ndigoberera.
26 Omubbi nga bw'akwatibwa ensonyi bw'alabika, n'ennyumba ya Isiraeri bw'ekwatibwa ensonyi bw'eti; bo ne bakabaka baabwe n'abakulu baabwe ne bakabona ne bannabbi baabwe;
27 abagamba ekikonge nti Ggwe kitange; n'ejjinja nti Ggwo onzaala: kubanga bankubye amabega so si maaso gaabwe: naye mu biro mwe balirabira ennaku balyogera nt Golokoka otulokole.
28 Naye ba katonda bo be weekoledde bali ludda wa? bo bagolokoke oba nga ayinza okukulokola mu biro mw'oibira ennaku: kubanga ebibuga yo nga bwe byenkana, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, gwe Yuda.
29 Kiki ekibaagaza okuwoza nage? mwenna munsobezza, bw'aogera Mukama.
30 Abaana baunwe mbakubidde bwereere; tebaanyizza kubuulirirwa: ekitala kyaumwe mmwe kimazeewo bannabbi ammwe ng'empologoma ezikiriza.
31 Mmwe ab'omu mirembe gino, mulabe ekigambo kya Mukama. Naabanga ddungu eri Isiraeri? oba si ya kizikiza ekikutte? abantu bange ekiboogeza ki nti Tutaaluuse; tetukyajja gy'oli nate?
32 Omurala ayinza okwerabira ebibye eby'ouyonjo, oba omugole ebyambalo ye? naye abantu bange banneeraidde ennaku nnyingi ezitabalika.
33 Ng'olongoosa ekkubo lyo oku.oonya okwagalibwa! kyovudde oyiiriza n'abakazi ababi amakubo go.
34 Era ku birenge byo kulabise musaayi gw'emmeeme z'abaavu bataliiko musango: sigulabye mu ituli ekisimibwa wabula ku bino yonna.
35 Era naye n'oyogera nti Siriiko musango; mazima obusungu bwe bukyuse okunvaako. Laba, ndiwoza naawe kubanga oyogera nti Soonoonanga.
36 Otambulirataibulira ki ennyo bw'otyo okuwaayisa ekkubo lyo? era olikwatibwa nsonyi ne ku lwa Misiri, nga bwe wakwatibwa ensonyi ku lwa Bwasuli.
37 Era ne gy'ali alivaayo nga weetisse emikono: kubanga Mukama gaanyi ebyo bye weesiga, so toliraba mukisa mu byo.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]