1 Awo Pasukuli mutabani wa Immeri kabona, eyali omwami omukulu ow'omu nnyumba ya Mukama, n’awulira Yeremiya ng'alagula ebyo.
2 Awo Pasukuli n'akuba Yeremiya nnabbi n'amusiba mu nvuba eyali mu mulyango ogw'engulu ogwa Benyamini ogwali mu nnyumba ya Mukama.
3 Awo olwatuuka enkya Pasukuli n'aggya Yeremiya mu nvuba. Awo Yeremiya n'amugamba nti Mukama takutuumye linnya lyo Pasukuli wabula Magolumissabibu.
4 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikufuula eky'entiisa eri ggwe kennyini n'eri mikwano gyo bonna: era baligwa n'ekitala eky'abalabe baabwe, n'amaaso go galikiraba: era ndiwa Yuda yenna mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, naye alibatwala e Babulooni nga basibe, era alibatta n'ekitala
5 Era nate ndiwa obugagga bwonna obw'omu kibuga kino n'amagoba gaamu gonna n'ebintu byamu byonna eby'omuwendo omungi, weewaawo, ebintu byonna ebya bassekabaka ba Yuda ndibiwa mu mukono gw'abalabe baabwe, abalibanyaga ne babakwata ne babatwala e Babulooni.
6 Naawe, Pasukuli, n'abo bonna abali mu nnyumba yo baligenda mu busibe: era olituuka e Babulooni, era olifiira eyo, era oliziikirwa eyo, ggwe ne mikwano gyo bonna be walagula eby'obulimba.
7 Ai Mukama, wannimba nze ne nnimbibwa: onsinga nze amaanyi era owangudde: nfuuse ekisekererwa okuzibya obudde, buli muntu ankudaalira.
8 Kubanga buli lwe njogera, njogerera waggulu; njogerera waggulu nti Ekyejo n'okunyaga: kubanga ekigambo kya Mukama bakifuula ekivume gye ndi n'eky'okusekererwa okuzibya obudde.
9 Era bwe njogera nti Siimwogereko so sikyayogerera mu linnya lye, kale mu mutima gwange muba ng'omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuzibiikiriza so siyinza kubeerera awo.
10 Kubanga mpulidde okulyolyoma kw'abangi, entiisa enjuyi zonna. Muloope, naffe tunaamuloopa bwe boogera mikwano gyange ennyo bonna, bo abalabirira okuwenyera kwange; mpozzi anaasendebwasendebwa, naffe tunaamuwangula, era tulimuwalanako eggwanga:
11 Naye Mukama ali nange ng'ow'amaanyi ow'entiisa: abanjigganya kyebaliva beesittala so tebaliwangula: baliswala nnyo, kubanga tebakoze bya magezi, balikwatibwa easonyi ezitaliggwaawo eziteerabirwenga ennaku zonna.
12 Naye, ai Mukama w'eggye, akema omutuukirivu, alaba emmeeme ey'omunda, ndabe eggwanga lyo ly'oliwalana ku bo; kubanga nkubikkulidde ensonga yange.
13 Muyimbire Mukama, mutendereze Mukama: kubanga awonyezza emmeeme y'oyo eyeetaaga mu mukono gw'abo abakola obubi.
14 Olunaku kwe nnazaalirwa lukolimirwe: olunaku mmange kwe yanzaalira luleme okuweebwa omukisa.
15 Akolimirwe oyo eyamuleetera kitange ebigambo nti Ozaaliddwa mwana wa bulenzi; ng'amusanyusa nnyo.
16 Era omusajja oyo abeere ng'ebibuga Mukama bye yasuula n'ateenenya: awulire okukaaba enkya, n'okwogerera wa ggulu mu ttuntu;
17 kubanga teyanzita bwe nnava mu lubuto; bw'atyo mmange yandibadde entaana yange, n'olubuto lwe lwandibadde lukulu ennaku zonna.
18 Naviira ki mu lubuto okulaba okutegana n'obuyinike, ennaku zange zimalibwewo olw'ensonyi?