1 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Genda ogule ensumbi ey'ebbumba ey'omubumbi, otwali ku bakadde b'abantu ne ku bakaddi ba bakabona;
2 ofulume okugenda mu kiwonvu kya mutabani wa Kino mu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangirire eyo ebigambo bye nnaakugamba:
3 oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bassekabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi; bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino, obulyamiriza amatu ga buli muntu alibuwulira.
4 Kubanga bandekawo ne bakaafuwaza ekifo kino, ne bootereza omwo bakatond abalala obubaane, be batamanyanga bo ne bajjajjaabwe ne bassekaba ka ba Yuda; era bajjuza ekifo kino omusaayi ogutaliiko musango;
5 eri baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali okwokya batabani baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali; kye ssiragira nga so saakyogera so tekyayingira mu mwoyo gwange:
6 kale, laba ennaku zijja, bw'ayogera Mukama ekifo kino lwe kitakyayitibwa nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvi kya mutabani wa Kinomu, naye nt Kiwonvu eky'okuttirwamu.
7 Era nditta okuteesa kwa Yuda ne Yerusaalemi mu kifo kino; era ndibagwisa n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, era n'omukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: n'emirambo gyabwe ndigigabula okubi eby'okulya eri ennyonyi ez'omi bbanga n'eri ensolo ez'omu nsi.
8 Era ndifuula ekibuga kino ekye wuunyo era okusoozebwanga; buli aliyitawo alyewuunya n'asooza olw'e bibonoobono byakyo byonna
9 Era ndibaliisa omubiri gwa batabani baabwe, n'omubiri gw'abawala baabwe, era balirya buli muntu omubiri gwa mukwano gwe mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe baabwe, n'abo abanoonya obulamu bwabwe kwe bali banyigiriza.
10 Awo n'olyoka omenya ensumbi eyo, abasajja abagenda taawe nga balaba,
11 n'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe ntyo bwe ndimenya abantu bano n'ekibuga kino ng'omuntu bw'amenya ekintu ky'omubumbi ekitayinzika kuyungibwa nate: era baliziikira mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu.
12 Bwe ntyo bwe ndikola ekifo kino, bw'ayogera Mukama, n'abakituulamu, nga nfuula ekibuga kino okuba nga Tofesi:
13 n'ennyumba ez'e Yerusaalemi n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda ezoonoonese ziriba ng'ekifo Tofesi, ennyumba zonna ze baayotererezangako waggulu obubaane eggye lyonna ery'eggulu, ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo ebyokunywa.
14 Awo Yeremiya n'ajja ng'ava: Tofesi Mukama gye yali amutumye okulagula; n'ayimirira mu uggya olw'ennyumba ya Mukama, n'agamba abantu bonna nti
15 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta ku kibuga kino ne ku mbuga zaakyo zonna obubi bwonna bwe nnakyogerako; kubanga bakakanyasizza ensingo yaabwe baleme okuwulira ebigambo byange.